Okuva

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40

0:00
0:00

Essuula 23

Tokkirizanga kigambo kya bulimba: toteekanga mukono gwo awamu n'abatali batuukirivu okubeera omujulirwa ow'obulimba.
2 Togobereranga bangi okukola obubi; so toyogeranga mu nsonga okyame eri abangu okukyusa omusango:
3 so tomusalirizanga omwavu mu nsonga ye.
4 Bw'osanganga ente ey'omulabe wo oba ndogoyi ye ng'ekyama, tolemanga kugimuleetera nate.
5 Bw'olabanga endogoyi y'oyo akukyaye ng'egalamizibbwa wansi w'omugugu gwayo, bw'oyagalanga obutamuyamba, tolemanga kumuyamba.
6 Tokyusanga musango gwa mwavu wo mu nsonga ye.
7 Weebalamanga mu kigambo eky'obulimba; so tomuttanga atalina kabi n'omutuukirivu: kubanga sirifuula omubi okubeera omutuukirivu.
8 Era toweebwanga kirabo: kubanga ekirabo kibaziba amaaso abatunula, kikyusa ebigambo by'abatuukirivu.
9 Tokolanga bubi munnaggwanga: kubanga mmwe mumanyi omutima gw'omunnaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey'e Misiri.
10 Era emyaka mukaaga osiganga ensi yo, n'okuŋŋaanyanga ebibala byayo:
11 naye omwaka ogw'omusanvu ogiwummuzanga ereme okubeera n'emirimu; abaavu ab'omu bantu bo balyoke balye : gye balekangawo ensolo ey'omu nsiko egiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga olusuku lwo olw'emizabbibu, n'olw'emizeeyituuni.
12 Ennaku omukaaga kolanga emirimu gyo, ne ku lunaku olw'omusanvu wummulanga: ente yo n'endogoyi yo ziryoke ziwummule, n'omwana ow'omuzaana wo, ne munnaggwanga bafune amaanyi.
13 Era mu bigambo byonna bye nnabagamba, mwekuumanga: so toyogeranga n'akatono erinnya lya bakatonda abalala newakubadde okuwulikika mu kamwa ko.
14 Buli mwaka emirundi esatu oneekuumiranga embaga.
15 Embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ogyekuumanga: ennaku musanvu olyanga egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu biro ebyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu (kubanga mu ogwo mwe mwaviira mu Misiri); so temulabikanga busa mu maaso gange n'omu:
16 era embaga ey'okunoga ebibala ebibereberye eby'emirimu gyo, bye wasiga mu nnimiro: era embaga ey'okukungula ku nkomerero y'omwaka, bw'okungulanga emirimu gyo mu nnimiro.
17 Buli mwaka emirundi esatu abasajja bo bonna balabikanga mu maaso ga Mukama Katonda.
18 Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'emigaati egizimbulukuswa; so n'amasavu ag'embaga yange tegasigalangawo ekiro kyonna okutuuka enkya.
19 Ebibereberye eby'ebisooka okubala eby'ensi yo obireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina wagwo.
20 Laba, ntuma malayika mu maaso go, akukuume mu kkubo, akuleete mu kifo kye nnateekateeka.
21 Mumutunuulire, mumuwulire eddoboozi lye; temumusunguwaza; kubanga talibasonyiwa okwonoona kwammwe; kubanga erinnya lyange liri mu nda ye.
22 Naye bw'onoowuliriranga ddala eddoboozi lye, n'okolanga byonna bye njogera; bwe kityo naababeereranga omulabe abalabe bo, ndibaziyiza abakuziyiza.
23 Kubanga malayika wange alikulembera mu maaso go, alikuyingiza eri Omwamoli, n'eri Omukiiti, n'eri Omuperizi, n'eri Omukanani, n'eri Omukiivi, n'eri Omuyebusi: nange ndibazikiriza.
24 Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, so tokolanga ng'ebikolwa byabwe: naye olibasuulira ddala, era olimenyaamenya empagi zaabwe.
25 Era munaaweerezanga Mukama Katonda wammwe, naye aligiwa omukisa emmere yo n'amazzi go; nange ndiggyawo endwadde wakati wammwe.
26 Tewaliba kirivaamu olubuto, newakubadde ekigumba, mu nsi yo: omuwendo gw'ennaku zo ndigutuukiriza.
27 Ndisindika entiisa yange mu maaso go, ndibateganya abantu bonna b'olituukako, ndikukyusiza amabega gaabwe abalabe bo bonna.
28 Era ndisindika ennumba mu maaso go, eribagoba Omukiivi, n'Omukanani, n'Omukiiti, mu maaso go.
29 Siribagoba mu maaso go mu mwaka ogumu; ensi ereme okuzika, so n'ensolo ey'omu nsiko ereme okweyongera ku ggwe.
30 Katono katono ndibagoba mu maaso go, okutuusa lw'olyeyongera, n'osikira ensi.
31 Era ndissaawo ensalo yo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafirisuuti, n'okuva mu ddungu okutuuka ku Mugga: kubanga ndiwaayo mu mukono gwammwe abatudde mu nsi; naawe olibagoba mu maaso go.
32 Tolagaananga ndagaano nabo, so ne bakatonda baabwe.
33 Tebatuulanga mu nsi yo, baleme okukwonoonya ku nze: kubanga bw'oliweereza bakatonda baabwe, tekirirema kukubeerera kyambika.