Okuva

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40

0:00
0:00

Essuula 13

Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti
2 Onterekeranga abaana ababereberye bonna, buli aggula enda mu baana ba Isiraeri, oba wa muntu oba wa nsolo: ye wange.
3 Musa n'abagamba abantu nti Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu: kubanga mu maanyi g'omukono Mukama mwe yabaggya mu kifo ekyo: tebalyanga ku migaati egizimbulukuswa.
4 Ku lunaku luno bwe munaavaamu mu mwezi ogwa Abibu.
5 Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajja bo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno.
6 Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, era ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga embaga eri Mukama.
7 Emigaati egitazimbulukuswa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukuswa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna.
8 Era onoomugambanga omwana wo olunaku luli, ng'oyogera nti Olw'ebigambo Mukama bye yankolera bwe nnava mu Misiri.
9 Era ginaakubeereranga akabonero ku mukono gwo, era ekijjukizo wakati w'amaaso go, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko: kubanga mu mukono ogw'amaanyi Mukama mwe yakuggira mu Misiri.
10 Kyonoovanga weekuuma etteeka lino mu biro byalyo buli mwaka, buli mwaka.
11 Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi ey'omu Kanani, nga bwe yakulayirira ggwe ne bajjajjaabo, bw'aligikuwa,
12 onoomuterekeranga Mukama buli kiggulanda, na buli kibereberye ky'olina ekiva mu nsolo; abasajja banaabanga ba Mukama.
13 Era onoonunulanga buli mbereberye y'endogoyi n'omwana gw'endiga; era oba nga tooyagalenga kuginunula, onoogimenyanga obulago: era ababereberye bonna mu baana bo onoobanunulanga.
14 Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti Kiki kino? onoomugambanga nti Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu:
15 awo alwatuuka Falaawo bw'ataatuleka wabula olw'empaka, Mukama n'atta ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, ababereberye ab'abantu, era n'embereberye ez'ensolo: kyenva mmuwa Mukama buli kiggulanda ekisajja, okuba ssaddaaka; naye ababereberye bonna ab'abaana bange mbanunula.
16 N'ekyo kinaabanga akabonero ku mukono gwo, n'ebiteekebwa wakati w'amaaso go: kubanga mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri.
17 Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri:
18 naye Katonda n'abeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu: abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina ebyokulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri.
19 Musa n'atwala amagumba ga Yusufu wamu naye: kubanga yabalayiza ddala abaana ba Isiraeri, ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira; nammwe mulitwala amagumba gange okuva wano wamu nammwe.
20 Ne bava mu Sukkosi okutambula, ne basula mu Yesamu ku nsalo y'eddungu.
21 Mukama n'agenda mu maaso gaabwe emisana mu mpagi ey'ekire okubakulembera, mu kkubo; era ekiro mu mpagi ey'omuliro, okubaakira: balyoke batambule emisana n'ekiro;
22 empagi ey'ekire emisana, n'empagi ey'omuliro ekiro, tezaggwaawo mu maaso g'abantu.