Okuva

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40

0:00
0:00

Essuula 26

Era olikola eweema n'emitanda kkumi; ne bafuta erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi oligikola.
2 Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono amakumi abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna giribeera gya kigero kimu.
3 Emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka; n'emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka.
4 Era olikola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte; era bw'otyo bw'olikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.
5 Olikola eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gumu, era olikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'omu migatte egy'okubiri; eŋŋango zirirabagana zokka na zokka.
6 Era olikola ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, ogatte emitanda gyokka na gyokka n'ebikwaso: eweema eribeera emu.
7 Era olikola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema: oligikola emitanda kkumi na gumu.
8 Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono amakumi asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda kkumi na gumu giribeera gya kigero kimu.
9 Era oligatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka, era olifunyamu mu mutanda ogw'omukaaga mu maaso g'eweema.
10 Era olikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda gumu ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.
11 Era olikola ebikwaso amakumi ataano eby'ebikomo, oliteekamu ebikwaso mu ŋŋango, oligatta eweema, ebeere emu.
12 N'ekitundu eky'emitanda gy'eweema ekifikkawo ekireebeeta, ekitundu kimu eky'omutanda ekifikkawo, kirireebeeta ku mabega g'eweema.
13 N'omukono ogw'okuluuyi luno, n'omukono ogw'oku luuyi luli, ogufikkawo mu buwanvu bw'emitanda gy'eweema, gulireebeeta ku mbiriizi z'eweema eruuyi n'eruuyi, okugibikka.
14 Era olikola ku weema n'amaliba g'endiga eza seddume amannyike amamyufu, ne kungulu ekyokugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge.
15 Era olikola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, ziyimirire.
16 Emikono kkumi bwe bulibeera obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu bwe bulibeera obugazi bwa buli lubaawo.
17 Mu buli lubaawo mulibeera ennimi bbiri, ezigattibwa zokka na zokka: bw'otyo bw'olikola ku mbaawo zonna ez'eweema.
18 Era olikola embaawo ez'eweema, embaawo amakumi abiri ez'oluuyi lw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo.
19 Era olikola ebinnya ebya ffeeza amakumi ana wansi w'embaawo amakumi abiri; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri:
20 era ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, ku luuyi lw'obukiika obwa kkono, embaawo amakumi abiri:
21 n'ebinnya byazo ebya ffeeza amakumi ana; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu; n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala.
22 N'ez'oluuyi lw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba, olikola embaawo mukaaga.
23 Era olikola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega.
24 Ziriba bbiri bbiri wansi, bwe zityo bwe ziriba ennamba waggulu waazo okutuuka empeta emu: bwe zityo bwe ziriba zombi; ziribeera ez'ensonda ebbiri.
25 Era waliba embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga; ebinnya ebibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala.
26 Era olikola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi olumu olw'eweema,
27 n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olw'eweema, ku luuyi olw'emabega, olw'ebugwanjuba.
28 N'omuti ogwa wakati w'embaawo guyitemu eruuyi n'eruuyi.
29 N'embaawo olizibikkako zaabu, era olikola empeta zaazo za zaabu omwokuteekera emiti: n'emiti oligibikkako zaabu.
30 Era olizimba eweema mu ngeri yaayo gye walagibwa ku lusozi.
31 Era olikola eggigi erya kaniki, n'ery'olugoye olw'effulungu, n'ery'olumyufu, n'erya bafuta ennungi erangiddwa: ne bakerubi omulimu ogw'abakozi ab'amagezi bwe lirikolebwa:
32 era oliriwanika ku mpagi nnya ez'omuti gwa sita ezibikkiddwako zaabu, ebikwaso byazo biribeera bya zaabu, ku binnya bina ebya ffeeza.
33 Era oliwanika eggigi wansi w'ebikwaso, n'essanduuko ey'obujulirwa oligiyingiza eri munda w'eggigi: n'eggigi liryawulamu eri mmwe awatukuvu n'awasinga obutukuvu.
34 Era oliteeka entebe ey'okusaasira ku ssanduuko ey'obujulirwa mu wasinga obutukuvu.
35 N'emmeeza oligiteeka ebweru w'eggigi, n'ekikondo mu maaso g'emmeeza ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo: n'emmeeza oligiteeka ku luuyi olw'obukiika obwa kkono.
36 Era olikola oluggi olw'omulyango ogw'eweema, olwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza.
37 Era olikola empagi ttaano ez'omuti gwa sita ez'oluggi, olizibikkako zaabu; ebikwaso byazo biribeera bya zaabu: era olizifumbira ebinnya bitaano eby'ekikomo.