Okuva
Essuula 16
Ne bava Erimu nga batambula, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri.
2 Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni mu ddungu:
3 abaana ba Isiraeri ne babagamba nti Waakiri twandifiiridde olw'omukono gwa Mukama mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatufulumya mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala.
4 Mukama n'alyoka agamba Musa nti Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu.
5 Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omukaaga banaateekateekanga gye baliyingiza, era eneesinganga emirundi ebiri gye bakuŋŋaanya buli lunaku.
6 Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isiraeri bonna nti Olweggulo lwe mulimanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri:
7 era enkya lwe muliraba ekitiibwa kya Mukama; kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe ku Mukama: naffe ffe baani, n'okwemulugunya ne mwemulugunyiza ffe?
8 Musa n'ayogera nti Kino kinaabaawo, Mukama bw'anaabawa olweggulo ennyama okulya, n'enkya emmere okukkuta; kubanga Mukama awulidde okwemulugunya kwammwe kwe mumwemulugunyiza: naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.
9 Musa n'agamba Alooni nti Bagambe ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti Musembere mu maaso ga Mukama: kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.
10 Awo, Alooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ne batunuulira mu ddungu; laba, ekitiibwa kya Mu kama ne kirabika mu kire.
11 Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti
12 Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri: obagambe, ng'oyogera nti Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munakkuta emmere; nammwe munaamanya nga nze Mukama Katonda wammwe.
13 Awo olweggulo obugubi ne bulyoka bulinnya ne busaanikira olusiisira: enkya olufu ne lugwa ne lwetooloola olusiisira.
14 Olufu olwagwa bwe lwaggwaako, laba, ne wabaawo kungulu w'eddungu akantu akatono akeekulungirivu, akatono ng'omusulo omukwafu oguba ku nsi,
15 Abaana ba Isiraeri bwe baakiraba ne bagambagana bokka na bokka nti Kiki kino? kubanga tebaamanya bwe kyali. Musa n'abagamba nti Eyo ye mmere Mukama gy'abawadde okulya.
16 Ekyo kye kigambo ky'alagidde Mukama nti Mukuŋŋaanyeeko buli muntu nga bw'alya; buli muntu kkomero emu, ng'omuwendo gw'abantu bammwe bwe guli, mulikitwala, buli muntu alibatwalira ab'omu weema ye.
17 Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne bakuŋŋaanya abalala nnyingi, abalala ntono.
18 Awo bwe baageranga mu kkomero, eyakuŋŋaanya ennyingi n'atafissaawo, era eyakuŋŋaanya entono n'ateetaaga; baakuŋŋaanya buli muntu nga bw'alya.
19 Musa n'abagamba nti Omuntu talekaawo okutuusa enkya.
20 Naye Musa ne batamuwulira; naye abamu mu bo ne balekawo okutuusa enkya, n'ezaala envunyu, n'ewunya: Musa n'abakwatirwa obusungu.
21 Ne bakuŋŋaanya buli nkya, buli muntu nga bw'alya: era omusana bwe gwayakanga n'ekereketa.
22 Awo olunaku olw'omukaaga bwe lwatuukanga, ne bakuŋŋaanya emirundi ebiri emmere, buli muntu kkomeri bbiri: abakulu bonna ab'ekibiina ne bajja ne bamugamba Musa
23 N'abagamba nti Ekyo Mukama kye yayogera nti Enkya kye kiwummulo ekikulu, ssabiiti entukuvu eri Mukama: mwokye bye mwagala okwokya; mufumbe bye mwagala okufumba; yonna esigalawo mweterekere ensibo okutuusa enkya.
24 Ne beeterekera okutuusa enkya, Musa nga bwe yalagira: n'etewunya, so ne mutaba na nvunyu.
25 Musa n'ayogera nti Mulye eno leero; kubanga leero ye ssabbiiti eri Mukama; leero temuugirabe mu ttale.
26 Mukuŋŋaanye mu nnaku mukaaga; naye ku lunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti, okwo teribeerawo.
27 Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bagenda abamu ku bantu okukuŋŋaanya, ne batagiraba.
28 Mukama n'amugamba Musa nti Mulituusa wa okugaana okukwata amateeka gange n'ebiragiro byange?
29 Mulabe, kubanga Mukama abawadde ssabbiiti, kyava abawa ku lunaku olw'omukaaga emmere ey’ennaku ebbiri; mutuule buli muntu mu kifo kye, tavanga omuntu yenna mu kifo kye ku lunaku olw'omusanvu.
30 Ne bawummulanga abantu ku lunaku olw'omusanvu.
31 Ennyumba ya Isiraeri ne bagiyita erinnya lyayo Manu: n'efaanana ng'ensigo za jada, enjeru; n'obuwoomerevu bwayo bufaanana ng'emigaati egy'omubisi gw'enjuki.
32 Musa n'ayogera nti Ekyo kye kigambo Mukama kye yalagira nti Kkomero ejjudde eterekerwe emirembe gyammwe; balyoke balabe emmere gye nnabaliisa mu ddungu bwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri.
33 Musa n'amugamba Alooni nti Twala ekibya osse munda kkomero ejjudde manu, okiteeke mu maaso ga Mukama, ensibo y'emirembe gyammwe.
34 Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo Alooni n'akiteeka mu maaso g'obujulirwa, okubeera ensibo.
35 Abaana ba Isiraeri ne baliira manu emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ey'abantu; ne balya manu okutuuka mu nsalo ez'ensi ya Kanani.
36 Era kkomero kye kitundu eky'ekkumi ekya efa.