Okuva
Essuula 1
Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaatuuka mu Misiri; buli muntu n'ennyumba ye n'ajja awamu ne Yakobo.
2 Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda;
3 Isakaali, Zebbulooni, ne Benyamini;
4 Ddaani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri.
5 Abantu bonna abaava mu ntumbwe za Yakobo ne baba emyoyo nsanvu: naye Yusufu yali ng'amaze okubeera mu Misiri.
6 Yusufu n'afa, ne baganda be bonna, n'emirembe giri gyonna.
7 Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera nnyo, ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo; ensi n'ejjula abo.
8 Awo ne walya kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu.
9 N'abagamba abantu be nti Laba, abantu b'abaana ba Isiraeri bangi ba maanyi okusinga ffe:
10 kale tubasalire amagezi; baleme okuba abangi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe, okulwana naffe, okugolokoka okuva mu nsi.
11 Kyebaava babateekako abakoza okubabonyaabonya n'emigugu. Ne bamuzimbira Falaawo ebibuga eby'amaterekero, Pisomu ne Lamusesi.
12 Naye nga bwe beeyongera okubabonyaabonya, bwe batyo bo bwe beeyongera obungi n'okubuna. Ne banakuwala olw'abaana ba Isiraeri.
13 Abamisiri ne babakoza emirimu abaana ba Isiraeri n'amaanyi:
14 ne bakaayisa obulamu bwabwe mu buddu obuzibu, okutegana n'ebbumba n'amatoffaali, era n'obuddu bwonna obw'omu nsuku, obuddu bwonna bwe baabakoza n'amaanyi.
15 Kabaka w’e Misiri n'abagamba abazaalisa Abaebbulaniya, erinnya ly'omu Sifira, erinnya ly'ow'okubiri Puwa:
16 n'ayogera nti Bwe mubakolanga abakazi Abaebbulaniya emirimu egy'obuzaalisa, bwe mubalabanga nga bali ku ntebe; omwana bw'abanga ow'obulenzi, mumuttanga; naye bw'abanga ow'obuwala, abeeranga mulamu.
17 Naye abazaalisa ne bamutya Katonda, so tebaakola nga bwe baalagirwa kabaka w'e Misiri, naye baabakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu.
18 Kabaka w'e Misiri n'abayita abazaalisa, n'abagamba nti Kiki ekibakoza ekigambo ekyo, ne mubakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu?
19 Abazaalisa ne bamugamba Falaawo nti Kubanga abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga balamu, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga bamaze okuzaala.
20 Katonda n'akola bulungi abazaalisa: abantu ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo.
21 Awo kubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana.
22 Falaawo n'alagira abantu be bonna n'ayogera nti Buli mulenzi alizaalibwa mumusuulanga mu mugga, buli muwala mumulekanga.