Okuva
Essuula 34
Mukama n'agamba Musa nti Weebajjire ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye: nange ndiwandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye, bye wamenya.
2 Era enkya obe nga weeteeseteese, olinnye enkya ku lusozi Sinaayi, weeragire okwo gye ndi ku ntikko y'olusozi.
3 So tewaabe muntu alinnya naawe, so n'omuntu yenna aleme okulabikira ku lusozi lwonna lwonna; newakubadde endiga newakubadde ente bireme okuliira mu maaso g'olusozi olwo.
4 N'abajja ebipande bibiri ebifaanana ng'eby'olubereberye; Musa n'agolokoka enkya mu makya, n'alinnya ku lusozi Sinaayi, Mukama nga bwe yamulagidde, n'atwala mu ngalo ze ebipande bibiri eby'amayinja.
5 Mukama n'akkira mu kire, n'ayimirira eyo wamu naye, n'atendera erinnya lya Mukama.
6 Mukama n'ayita mu maaso ge, n'atendera nti Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n'amazima amangi;
7 ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okwonoona n'ekibi: era atalimuggyako omusango n'akatono oyo aligubaako; awalana obutali butuukirivu bwa bakitaabwe ku baana baabwe, ne ku baana b'abaana baabwe, ku mirembe egya bannakasatwe n'egya bannakana.
8 Musa n'ayanguwa, n'avuunamya omutwe, n'asinza.
9 N'ayogera nti Bwe mba kaakano nga naalaba ekisa mu maaso go, ai Mukama, Mukama; atambulenga wakati mu ffe, nkwegayiridde; kubanga lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; era otusonyiwe obutali butuukirivu bwaffe n'okwonoona kwaffe, era otutwale okuba obusika bwo.
10 N'ayogera nti Laba, ndagaana endagaano: mu maaso g'abantu bo bonna naakolanga eby'amagero, ebitakolebwanga mu nsi zonna, newakubadde mu ggwanga lyonna lyonna: n'abantu bonna b'olimu banaalabanga omulimu gwa Mukama, kubanga kye ndikukoza kya ntiisa.
11 Lowooza kino kye nkulagira leero: laba, ngoba mu maaso go Omwamoli, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi.
12 Weekuume wekka, tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi gy'ogenda, ereme okuba ng'ekyambika wakati mu ggwe:
13 naye mulimenyaamenya ebyoto byabwe, era mulyasayasa empagi zaabwe, era mulitemaatema Baasera baabwe:
14 kubanga toosinzenga Katonda mulala yenna: kubanga Mukama, erinnya lye Waabuggya, ye Katonda ow'obuggya:
15 tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi, baleme okwenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babawa ssaddaaka bakatonda baabwe, ne wabaawo akuyita n'olya ku ssaddaaka ye;
16 n'otwalira abaana bo abasajja ku bawala baabwe, abawala baabwe ne bayenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babayenza abaana bo nga bagoberera bakatonda baabwe,
17 Teweekoleranga bakatonda abasaanuuse.
18 Oneekuumanga embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa. Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu kiseera ekyalagirwa mu mwezi Abibu: kubanga mu mwezi Abibu mwe waviira mu Misiri.
19 Buli ekinaggulanga enda kyange; n'ensolo zo zonna ennume, eby'olubereberye eby'ente n'eby'endiga.
20 N'omwana omubereberye ogw'endogoyi onoomununulanga n'omwana gw'endiga: era bw'onoobanga toyagala kumununula, onoomenyanga obulago bwayo. Onoonunulanga ababereberye bonna mu baana bo. So tewaabenga eyeeraga eri nze nga taleese kintu.
21 Ennaku omukaaga onookolerangamu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu onoowummulanga: mu nnaku ze balimirangamu ne mu nnaku ze bakungulirangamu onoowummulanga.
22 Era oneekuumanga embaga eya ssabbiiti, ye y'omwaka omubereberye ogw'eŋŋaano, n'embaga ey'okutereka omwaka nga guweddeko.
23 Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna baneeraganga mu maaso ga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri.
24 Kubanga ndigobamu amawanga mu maaso go, ne ngaziya ensalo zo: so tewaabenga muntu alyegomba ensi yo, bw'onoogendanga okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo emirundi esatu buli mwaka.
25 Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'omugaati oguzimbulukuswa; newakubadde ssaddaaka ey'embaga ey'Okuyitako tesigalangako okutuusa enkya.
26 Eby'olubereberye eby'ensi yo ebisooka onoobireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina waagwo.
27 Mukama n'agamba Musa nti Ggwe wandiika ebigambo ebyo: kuba ebigambo ebyo nga bwe biri bwe ndagaanye bwe ntyo endagaano naawe ne Isiraeri.
28 N'amala eyo wamu ne Mukama ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; nga talya mmere so nga tanywa mazzi. N'awandiika ku bipande ebigambo eby'endagaano, amateeka ekkumi.
29 Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, ebipande bibiri eby'obujulirwa nga biri mu ngalo za Musa, bwe yakka okuva ku lusozi, Musa n'atamanya ng'omubiri ogw'amaaso ge gumasamasa olw'okwogera naye.
30 Alooni n'abaana bonna aba Isiraeri bwe baalaba Musa, laba, omubiri ogw'amaaso ge ne gumasamasa; ne batya okumusemberera.
31 Musa n'abayita; Alooni n'abakulu bonna ab'ekibiina ne badda gy'ali: Musa n'ayogera nabo.
32 Oluvannyuma abaana bonna aba Isiraeri ne basembera: n'abalagira byonna Mukama by'ayogeredde naye ku lusozi Sinaayi.
33 Musa bwe yamala okwogera nabo, n'ateeka eky'okubikka ku maaso ge.
34 Naye Musa bwe yayingiranga mu maaso ga Mukama okwogera naye, n'aggyako eky'okubikka, okutuusa lwe yafulumanga; n'afulumanga n'ayogera n'abaana ba Isiraeri bwe yalagirwanga;
35 abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, omubiri ogw'amaaso ge nga gumasamasa : Musa n'azzanga eky'okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera naye.