Okuva
Essuula 14
Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti
2 Bagambe abaana ba Isiraeri badde ennyuma basule mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n'ennyanja, mu maaso ga Baalizefoni: emitala w'eri mulisula ku mabbali g'ennyanja.
3 Falaawo aliboogerako abaana ba Isiraeri nti Bazingiziddwa mu nsi, eddungu libasibye.
4 Nange Falaawo ndimukakanyaza omutima, alibagoberera ennyuma waabwe; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna; n'Abamisiri balimanya nga nze Mukama. Bwe batyo bwe baakola.
5 Ne bamugamba kabaka w'e Misiri nti Abantu badduse: omutima gwa Falaawo n'ogw'abaddu be ne gukyukira ku bantu, ne boogera nti Kiki kino kye tukoze, okuleka Isiraeri obutatuweereza?
6 N'ateekateeka eggaali lye, n'atwala abantu be wamu naye:
7 n'atwala amagaali lukaaga amalonde, n'amagaali gonna ag'e Misiri, n'abaami okubeera ku go gonna.
8 Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo kabaka w'e Misiri, n'agoberera abaana ba Isiraeri: kubanga abaana ba Isiraeri baafuluma n'okwewaana.
9 Abamisiri ne babagoberera ennyuma, embalaasi zonna n'amagaali gonna aga Falaawo, n'ababe abeebagala embalaasi n'eggye lye, ne babatuukako nga basuze kumpi n'ennyanja, ku mabbali ga Pikakirosi, mu maaso ga Baalizefoni.
10 Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isiraeri ne bayimusa amaaso gaabwe, laba, Abamisiri nga babagoberera ennyuma waabwe: ne batya nnyo: abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama.
11 Ne bagamba Musa nti Kubanga tewali ntaana mu Misiri kyovudde otuleeta tufiire mu ddungu? Kiki ekikutukozezza bw'oti, okutuggya mu Misiri?
12 Kino si ky'ekigambo kye twakugambira mu Misiri, nga twogera nti Tuleke tuweereze Abamisiri? Kubanga kirungi okubaweereza Abamisiri okusinga okufiira mu ddungu.
13 Musa n'abagamba abantu nti Temutya, muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe obulokozi bwa Mukama bw'anaabakolera leero : kubanga Abamisiri be mulabye leero, temulibalaba nate emirembe gyonna.
14 Mukama anaabalwanirira, nammwe munaasirika.
15 Mukama n'agamba Musa nti Kiki ekikunkaabizza? Bagambe abaana ba Isiraeri bagende mu maaso.
16 Era yimusa omuggo gwo, ogolole omukono gwo ku nnyanja, ogyawulemu: n'abaana ba Isiraeri banaagenda wakati w'ennyanja ku lukalu.
17 Nange, laba, nze ndibakakanyaza emitima Abamisiri, baliyingira okubagoberera: nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo, ne ku ggye lye lyonna, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala.
18 Abamisiri balimanya nga nze Mukama bwe ndimala okwefunira ekitiibwa ku Falaawo, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala.
19 Malayika wa Katonda, eyakulembera eggye lya Isiraeri, n'avaayo n'adda ennyuma waabwe; empagi ey'ekire n'eva mu maaso gaabwe, n'eyimirira ennyuma waabwe;
20 n'ejja n'ebeera wakati w'eggye ly'e Misiri n'eggye lya Isiraeri; ne waba ekire n'ekizikiza, naye n'ereeta omusana ekiro : abo ne batabasemberera bali ekiro kyonna.
21 Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n'asindika ennyanja n'omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba obudde okukya, ennyanja n'agifuula olukalu, amazzi ne geeyawulamu.
22 Abaana ba Isiraeri ne bayingira wakati w'ennyanja ku lukalu: amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
23 Abamisiri ne bagoberera, ne bayingira ennyuma waabwe wakati w'ennyanja, embalaasi zonna eza Falaawo, amagaali ge, n'abantu be abeebagala.
24 Awo olwatuuka mu kisisimuka eky'enkya Mukama n'atunuulira eggye ery'Abamisiri mu mpagi ey'omuliro n'ekire, ne yeeraliikiriza eggye ery'Abamisiri.
25 N'aggyako bannamuziga ab'amagaali gaabwe, ne bagagoba nga gazitowa: Abamisiri ne boogera nti Tudduke mu maaso ga Isiraeri; kubanga Mukama abalwanirira ku Bamisiri.
26 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe.
27 Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n'edda mu maanyi gaayo nga bukedde; Abamisiri ne bagidduka; Mukama Abamisiri n'abakunkumulira wakati mu nnyanja.
28 Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali, n'abeebagazi, era n'eggye lya Falaawo lyonna abaayingira mu nnyanja ennyuma waabwe; tewaasigala n'omu mu bo.
29 Naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja; amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo, n'ogwa kkono.
30 Bw'atyo Mukama n'alokola Isiraeri ku lunaku luli mu mukono gw'Abamisiri; Isiraeri ne balaba Abamisiri nga bafudde ku mabbali g'ennyanja.
31 Isiraeri ne balaba omulimu omunene Mukama gwe yakola Abamisiri, abantu ne bamutya Mukama; ne bamukkiriza Mukama n'omuddu we Musa.