Makko

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

0:00
0:00

Essuula 8

Awo mu nnaku ezo, ebibiina bwe byayinga obungi nate, ne bataba na mmere, n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti
2 Nsaasira ebibiina, kubanga leero ennaku ssatu nga bali nange, so tebalina mmere;
3 bwe mbasiibula okuddayo nga basiibye enjala, banaazirikira mu kkubo; n’abamu bava wala.
4 Abayigirizwa be ne bamuddamu nti Omuntu anaayinza atya okukkusa abantu bano emigaati wano mu ddungu?
5 N'ababuuza nti Mulina emigaati emeka? Ne bamugamba nti Musanvu.
6 N'alagira ebibiina okutuula wansi: n'addira emigaati omusanvu, ne yeebaza, n'amenyamu, n’awa abayigirizwa be, okugissa mu maaso gaabwe; ne bagissa mu maaso g'ekibiina.
7 Era baali balina obw'ennyanja butono: n'abwebaza, n’alagira n'obwo okubussa mu maaso gaabwe.
8 Ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo ebisero musanvu.
9 Baali ng'enkumi nnya: n'abasiibula.
10 Amangu ago n'asaabala mu lyato n'abayigirizwa be, n'ajja ku njuyi ez'e Dalumanusa.
11 Abafalisaayo ne bafuluma ne bajja, ne batanula okumusokaasoka, nga banoonya gy'ali akabonero akava mu ggulu, nga bamukema.
12 N'asinda nnyo mu mwoyo gwe, n’agamba nti ab'Emirembe gino banooyeza ki akabonero? mazima mbagamba nti ab'Emirembe gino tebaliweebwa kabonero.
13 N'abaleka, n'asaabala nate n'agenda emitala w'eri.
14 Awo ne beerabira okutwala emigaati, so tebaali nagyo mu lyato wabula omugaati gumu.
15 N'abakuutira ng'agamba nti Munywere, mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n’ekizimbulukusa kya Kerode.
16 Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti Tetulina migaati.
17 Yesu bwe yategeera n'abagamba nti Kiki ekibeebuuzaganyisa olw'obutaba na migaati? temunnalaba, so temutegeera? emitima gyammwe mikakanyavu?
18 Mulina amaaso, temulaba? mulina amatu, temuwulira? so temujjukira?
19 Bwe nnameyera enkumi ettaano emigaati etaano, ebibbo bimeka ebyajjula obukunkumuka bye mwakuŋŋaanya? Ne bamugamba nti Kkumi na bibiri.
20 Era bwe nnamenyera omusanvu enkumi ennya, mwakuŋŋaanya ebisero bimeka ebyajjula obukunkumuka? Ne bamugamba nti Musanvu.
21 N'abagamba nti Temunnategeera?
22 Ne bajja ne batuuka mu Besusayida ne bamuleetera omuzibe w'amaaso, ne bamwegayirira okumukomako.
23 N'akwata omuzibe w'amaaso ku mukono, n'amufulumya ebweru w'embuga; awo bwe yawanda amalusu ku maaso ge, n'amussaako engalo, n'amubuuza nti Oliko ky'olaba?
24 N'atunula waggulu, n'agamba nti Ndaba abantu, kubanga ndaba bafaanana ng'emiti, nga batambula.
25 Ate n'amussa engalo ku maaso ge n'akanula okulaba, n'awona, n'alaba byonna bulungi.
26 N'amusindika ewuwe, ng'amugamba nti Toyingiranga mu mbuga muno.
27 Yesu n'asitula n'agenda n'abayigirizwa be mu mbuga z'e Kayisaliya ekya Firipo. Bwe baatuuka mu kkubo n'abuuza abayigirizwa be, n'abagamba nti Abantu bampita ani?
28 Ne bamugamba nti Yokaana Omubatiza: n'abalala nti Eriya: naye abalala nti Omu ku bannabbi.
29 Ye n'ababuuza nti Naye mmwe mumpita ani? Peetero n'addamu n'amugamba nti Ggwe Kristo.
30 N'abakomako baleme okubuulirako omuntu ebigambo bye.
31 N'atanula okubayigiriza nti kimugwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu, n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuyitawo ennaku essatu okuzuukira.
32 N'ayogera ekigambo ekyo mu lwatu. Peetero n'amutwala, n'atanula okumunneya.
33 Naye n'akyuka, n'alaba abayigirizwa be, n'anenya Peetero, ng'agamba nti Dda ennyuma wange, Setaani: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.
34 N'ayita ebibiina n'abayigirizwa be, n'abagamba nti Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere.
35 Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n'olw'enjiri alibulokola.
36 Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n'okufiirwa obulamu bwe?
37 Kubanga omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe?
38 Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange mu mirembe gino egy'obwenzi era emibi, n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.