Makko

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

0:00
0:00

Essuula 4

Ate n'atanula okuyigiriza ku lubalama lw'ennyanja. Ekibiina kinene nnyo ne kikuŋŋaanira w'ali, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula mu nnyanja; ekibiina kyonna ne kibeera ku nnyanja ku ttale.
2 N'abayigiriza bingi mu ngero, n'abagamba mu kuyigiriza kwe nti
3 Muwulire; laba, omusizi yafuluma okusiga:
4 awo olwatuuka bwe yali ng'asiga, ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya.
5 N'endala ne zigwa awali enjazi awatali ttaka lingi; amangu ago ne zimera, kubanga ettaka teryali ggwanvu:
6 enjuba bwe yayaka, ne ziwotookerera; era kubanga tezaalina mmizi, ne zikala.
7 Endala ne zigwa awali amaggwa, amaggwa ne galoka, ne gazizisa ne zitabala bibala.
8 Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala ebibala ne bikula ne byeyongera; ne zizaala okutuusa amakumi asatu, era okutuusa enkaaga, era okutuusa ekikumi.
9 N'agamba nti Alina amatu ag'okuwulira, awulire:
10 Awo bwe yali yekka, abo abaali bamwetoolodde n'ekkumi n'ababiri ne bamubuuza ku ngero ezo.
11 N'abagamba nti Mmwe mwaweebwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda: naye bali ab'ebweru, byonna bibabeerera mu ngero:
12 bwe balaba balabe, ne bateetegereza; era bwe bawulira bawulire, ne batategeera; mpozzi baleme okukyuka nate, okusonyiyibwa.
13 N'abagamba nti Temumanyi lugero luno? kale mulitegeera mutya engero zonna?
14 Omusizi asiga kigambo.
15 Bano be b'oku mabbali g'ekkubo, ekigambo we kisigibwa; awo bwe bawulira, amangu ago Setaani n'ajja n'aggyamu ekigambo ekyasigibwa mu bo.
16 Ne bano bwe batyo be bali abasigibwa awali enjazi, abo, bwe bawulira ekigambo, amangu ago bakikkiriza n'essanyu;
17 ne bataba na mmizi mu bo, naye bamala ekiseera kitono; awo bwe wabaawo okulaba ennaku oba kuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago beesittala.
18 N'abalala be bali abasigibwa awali amaggwa; abo, bwe bawulira ekigambo,
19 awo emitawaana gy'ensi n'obulimba bw'obugagga, n'okwegomba kw'ebirala byonna bwe biyingira bizisa ekigambo, ne kitabala;
20 n'abo be bali abasigibwa awali ettaka eddungi; abawulira ekigambo, abakikkiriza, ababala ebibala amakumi asatu, n'enkaaga, n'ekikumi.
21 N'abagamba nti Ettabaaza ereetebwa okuteekebwa munda w'ekibbo, nantiki munda w'ekitanda, n'eteteekebwa waggulu ku kikondo?
22 Kubanga tewali kikwekebwa, naye kirimanyibwa; newakubadde ekyakisibwa, naye kirirabika lwatu.
23 Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.
24 N'abagamba nti Mwekuume kye muwulira: mu kigera mwe mugera nammwe mwe muligererwa: era mulyongerwako.
25 Kubanga, alina aliweebwa: n'atalina aliggibwako n'ekyo ky'ali nakyo.
26 N'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwe buti, ng'omuntu bw'amansa ensigo ku ttaka;
27 ne yeebaka n'agolokoka ekiro n'emisana, n'ensigo n'emeruka n'ekula, ye nga tamanyi bw'emeruse.
28 Ensi ebala yokka, okusooka kalagala, ate kirimba, ate ŋŋaano enkulu mu kirimba.
29 Naye emmere bw'eyengera, amangu ago assaako ekiwabyo, kubanga okukungula kutuuse.
30 N'agamba nti Tunaabufaananya tutya obwakabaka bwa Katonda? Nantiki tunaabunnyonnyolera ku kifaananyi ki?
31 Bufaanana ng'akaweke aka kaladaali, ako, bwe kasigibwa mu ttaka, newakubadde nga ke katono okukira ensigo zonna eziri mu nsi,
32 naye bwe kasigibwa kakula, kaba kanene okukira enva zonna, kasuula amatabi amanene kale era ennyonyi ez'omu bbanga ne ziyinza okutuula wansi w'ekisiikirize kyagwo.
33 N'abagamba ekigambo mu ngeri nnyingi ng'ezo, nga bwe bayinza okukiwulira:
34 teyayogera nabo awatali lugero: naye n'ategeezanga abayigirizwa be ye byonna mu kyama.
35 Awo ku lunaku olwo bwe bwali buwungedde, n'abagamba nti Tuwunguke tutuuke emitala w'eri,
36 Bwe baaleka ekibiina, ne bamutwalira mu lyato, nga bwe yali, Era n'amaato amalala gaali naye.
37 Awo omuyaga mungi ne gujja, amayengo ne gayiika mu lyato, n'eryato lyali nga ligenda okujjula.
38 Ye yennyini yali yeebase mu kiwenda ku kigugu, ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti Omuyigiriza, tofaayo nga tufa?
39 N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, n'agamba ennyanja nti Sirika, teeka. Omuyaga ne gukkakkana, n'eba nteefu nnyo.
40 N'abagamba nti Kiki ekibatiisa? Temunnaba kuba na kukkiriza?
41 Ne batya entiisa nnene, ne bagambagana nti Kale ono ye ani, kubanga omuyaga n'ennyanja bimuwulira?