Makko
Essuula 11
Awo bwe baali banaatera okutuuka e Yerusaalemi nga batuuse e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri,
2 n'abagamba nti Mugende mu mbuga ebali mu maaso: amangu ago bwe munaayingira omwo, munaalaba omwana gw'endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu n'akatono; muguyimbule, muguleete.
3 Omuntu bw'abagamba nti Mukola ki ekyo? mugamba nti Mukama waffe ye agwetaaga; amangu ago anaaguweereza eno.
4 Ne bagenda, ne basanga omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa ku mulyango ebweru mu luguudo; ne baguyimbula.
5 Abamu ku abo abaali bayimiridde awo ne babagamba nti Mukola ki okuyimbula omwana gw'endogoyi?
6 Ne babagamba nga Yesu bwe yabagamba: ne babaleka.
7 Ne baleeta omwana gw'endogoyi eri Yesu, ne bagusuulako engoye zaabwe; n'agwebagala.
8 Bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne baaliira amalagala g'emiti, ge baatema mu nnimiro.
9 Abaali bakulembedde n'abaali bava ennyuma ne boogerera waggulu nti Ozaana; Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama:
10 Buweereddwa omukisa obwakabaka obujja, obwa jjajja ffe Dawudi: Ozaana waggulu ennyo.
11 N'atuuka ku Yerusaalemi n'ayingira mu yeekaalu; bwe yamala okwetoolooza amaaso okulaba byonna, obudde bwali nga buwungeera, n'afuluma n'agenda e Bessaniya n'ekkumi n'ababiri.
12 Awo bwe bwakya enkya, bwe baali bavudde mu Bessaniya n'alumwa enjala.
13 Awo bwe yalengera omutiini oguliko amalagala n'agutuukako, era wozzi alabeko ekintu: awo bwe yagutuukako, n'atalabako kintu wabula amalagala kubanga si bye byali ebiro by'ettiini.
14 N'addamu n'agugamba nti Okusooka leero okutuusa emirembe n'emirembe omuntu talyanga ku bibala byo. Abayigirizwa be ne bawulira.
15 Awo ne batuuka e Yerusaalemi, n'ayingira mu yeekaalu n'asooka okugoba abaali batunda n'abagulira mu yeekaalu, n'avuunika emmeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'entebe z'abo abaali batunda amayiba;
16 n'ataganya muntu okuyisa ekibya mu yeekaalu.
17 N'ayigiriza, n'abagamba nti Tekyawandiikibwa nti Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu amawanga gonna? naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.
18 Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baakiwulira, ne basala amagezi bwe banaamutta: kubanga baamutya, kubanga ebibiina byonna baawuniikirira olw'okuyigiriza kwe.
19 Awo buli kawungeezi yafulumanga mu kibuga.
20 Awo bwe bwakya enkya bwe baali nga bayita, ne balaba omutiini nga guvudde ku kikolo okukala.
21 Peetero bwe yajjukira n'amugamba nti Labbi, laba, omutiini gwe wakolimira gukaze.
22 Yesu n'addamu n'abagamba nti Mube n'okukkiriza mu Katonda.
23 Mazima mbagamba nti Buli aligamba olusozi luno nti Sigulibwa; osuulibwe mu nnyanja; nga tabuusabuusa mu mutima gwe naye ng'akkiza nga kyayogera kikolebwa, alikiweebwa.
24 Kyenva mbagamba nti Ebigambo byonna byonna bye musaba n'okwegayirira, mukkirize ga mubiweereddwa, era mulibifuna.
25 Awo bwe munaayimiriranga nga musaba, musonyiwenga, bwe mubanga n'ekigambo ku muntu; ne Kitammwe ali mu ggulu abasonyiwe ebyonoono byammwe.
26 Naye bwe mutasonyiwa, era ne Kitammwe ali mu ggulu talisonyiwa byonoono byammwe.
27 Ate ne batuuka e Yerusaalemi; awo bwe yali ng'atambula mu yeekaalu, ne bajja w'ali bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde;
28 ne bamugamba nti Buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza buno okukola bino?
29 Awo Yesu n'abagamba nti nange kambabuuze mmwe ekigambo kimu, munziremu, nange nnaabuulira mmwe obuyinza bwe buli obunkoza bino.
30 Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu, nantiki mu bantu? munziremu.
31 Ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti Bwe tunaagamba nti Kwava mu ggulu; anaagamba nti Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?
32 Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu - baatya abantu; kubanga bonna baalowooza mazima Yokaana okuba nnabbi.
33 Ne baddamu Yesu, ne bamugamba nti Tetumanyi. Yesu n'abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.