Makko
Essuula 5
Ne batuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasene.
2 Bwe yava mu lyato, amangu ago omuntu eyaliko dayimooni eyava mu ntaana n'amusisinkana,
3 eyasulanga mu ntaana; nga tewakyali muntu ayinza kumusiba, newakubadde mu lujegere,
4 kubanga emirundi mingi yateekebwako mu masamba, ne mu njegere, enjegere n'azikutula, n'amasamba n'agamenyaamenya: ne wataba muntu wa maanyi okumusobola.
5 Naye bulijjo, ekiro n'emisana, yakaabiranga mu ntaana ne ku nsozi, ne yeesala n'amayinja.
6 Bwe yalengera Yesu ng'akyali wala, n'addukana n'amusinza; n'akaaba n'eddoboozi ddene
7 ng'agamba nti Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda, Ali waggulu ennyo? Nkulayiza Katonda, tombonereza.
8 Kubanga yamugamba nti Va ku muntu ono, ggwe dayimooni.
9 N'amubuuza nti Erinnya lyo ggwe ani? N'amugamba nti Erinnya lyange Liigyoni; kubanga tuli bangi.
10 N'amwegayirira nnyo aleme okubagoba mu nsi eyo.
11 Awo ku lusozi waaliwo eggana ly'embizzi ddene nga zirya.
12 N'amwegayirira, ng'amugamba nti Tusindike mu mbizzi tuziyingiremu.
13 N'amukkiriza, Dayimooni n'avaamu, n'ayingira mu mbizzi: eggana ne lifubutuka ne liserengetera ku bbanga mu nnyanja, zaali nga nkumi bbiri, ne zifiira mu nnyanja.
14 Awo abaali bazirunda ne badduka, ne babuulira ab'omu kibuga, n'ab'omu byalo, ne bajja okulaba ebibaddeyo bwe biri.
15 Ne batuuka awali Yesu, ne balaba eyaliko dayimooni ng'atudde, ng'ayambadde nga alina amagezi, oyo eyaliko liigyoni; ne batya.
16 Abaalaba ne babannyonnyola ebimubaddeko oyo eyaliko dayinooni, era n'eby'embizzi.
17 Ne batanula okumwegayirira okuva mu nsalo zaabwe.
18 Awo bwe yali ng'asaabala mu lyato, oyo eyaliko dayimooni n'amwegayirira abeere naye.
19 N'atamuganya, naye yamugamba nti Genda eka mu babo, obabuulire bwe biri ebikulu Katonda by'akukoledde, ne bw'akusaasidde.
20 N'agenda, n'atanula okubuulira mu Dekapoli bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera. Abantu bonna ne beewuunya.
21 Awo Yesu bwe yawunguka nate mu lyato n'atuuka emitala, bibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali; ye ng'ali kumpi n'ennyanja.
22 Omu ow'oku bakulu b'ekkuŋŋaaniro, erinnya lye Yayiro, n'ajja; bwe yamulaba, n'avuunama ku bigere bye,
23 n'amwegayirira nnyo ng'agamba nti Omuwala wange omuto ali kumpi n'okufa: nkwegayirira ojje, omusseeko emikono gyo, adde mu mbeera ye, alamuke.
24 N'agenda naye; ekibiina ekinene ne kimugoberera, ne bamunyigiriza.
25 Awo omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri,
26 eyatengejja ennyo eri abasawo abangi, n'awangayo bye yali nabyo byonna, so n'atabaako kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongezi okulwala,
27 bwe yawulira ebigambo bya Yesu, n'ajjira mu kibiina emabega we n’akoma ku kyambalo kye.
28 Kubanga yagamba nti Bwe nkomako obukomi ku byambalo bye, nnaawona.
29 Amangu ago ensulo ey'omusaayi n'ekalira, n'ategeera mu mubiri gwe ng'awonyezebbwa ekibonoobono kye.
30 Amangu ago Yesu bwe yategeera munda mu ye amaanyi agamuvuddemu, n'akyuka mu kibiina n'agamba nti Ani akomye ku byambalo byange?
31 Abayigirizwa be ne bamugamba nti Olaba ekibiina bwe bakunyigiriza, n'ogamba nti Ani ankomyeko?
32 Ne yeetoolooza amaaso okulaba oyo akoze ekigambo ekyo.
33 Naye omukazi ng'atya ng'akankana, ng'amanyi ky'abadde, n'ajja n'afukamira mu maaso ge, n'amubuulira eby'amazima byonna.
34 N'amugamba nti Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; weegendere n'emirembe, owonere ddala ekibonoobono kyo.
35 Awo bwe yali akyayogera, abaava ew'omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bajja, nga bagamba nti Omuwala wo afudde; oteganyiza ki nate Omuyigiriza?
36 Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku kigambo ekyogeddwa, n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti Totya, kkiriza bukkiriza.
37 N'ataganya muntu kugenda naye wabula Peetero ne Yakobo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo.
38 Ne batuuka ku nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'alaba okwaziirana, n'abakaaba, n'abakuba ebiwoobe ebingi.
39 Awo bwe yayingira n'abagamba nti Kiki ekibaaziiranya n'ekibakaabya? omuwala tafudde, naye yeebase bwebasi.
40 Ne bamusekerera nnyo. Naye bwe yabafulumya bonna, n'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina n'abo abaali naye, n'ayingira omuwala mw'ali.
41 Awo n'akwata omukono gw'omuwala, n'amugamba nti Talisa kumi okutegeezebwa kwakyo nti muwala, nkugamba nti Golokoka.
42 Amangu ago omuwala n'agolokoka, n'atambula; kubanga yali yaakamala emyaka kkumi n'ebiri. Amangu ago ne bawuniikirira okuwuniikirira kunene.
43 N'abakuutira nnyo buli muntu yenna aleme okukimanya ekyo: n'alagira okumuwa eky'okulya.