Makko

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

0:00
0:00

Essuula 14

Awo bwe waali wakyabulayo ennaku bbiri, embaga y'Okuyitako n'emigaati egitazimbulukuswa etuuke: bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamukwata mu lukwe n'okumutta:
2 kubanga baagamba nti Si ku lunaku lwa mbaga, mpozzi waleme okubaawo akeegugungo mu bantu.
3 Awo bwe yali mu Bessaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde ku mmere, omukazi eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ogw'omuwendo omungi ennyo n'ajja, n'ayasa eccupa, amafuta n'agafuka ku mutwe gwe.
4 Naye waaliwo mu bo abamu abaasunguwala nga bagamba nti Amafuta gafudde ki bwe gatyo?
5 Kubanga amafuta gano bandiyinzizza okugatundamu eddinaali ebikumi bisatu n'okusingawo n'okugabira abaavu. Ne bamwemulugunyiza.
6 Naye Yesu n'agamba nti Mumuleke; mumunakuwaliza ki? ankoledde ekikolwa ekirungi.
7 Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; na buli lwe mwagala muyinza okubakola obulungi: naye nze temuli nange bulijjo.
8 Akoze nga bw'ayinzizza: asoose okufuka amafuta ku mubiri gwange nga bukyali okunziika.
9 Mazima mbagamba nti Enjiri buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.
10 Awo Yuda Isukalyoti, eyali omu ku kkumi n'ababiri, n'agenda eri bakabona abakulu; okumuwaayo gye bali:
11 Awo bwe baawulira, ne basanyuka, ne basuubiza okumuwa effeeza. N'asala amagezi bw'anaalaba ebbanga okumuwaayo.
12 Awo ku lunaku olwasooka olw'emigaati egitazimbulukuswa lwe batta Okuyitako, abayigirizwa be ne bamugamba nti Oyagala tugende wa tutegeke gy'onooliira Okuyitako?
13 N'atuma ab'oku bayigirizwa be babiri, n'abagamba nti Mugende mu kibuga, anaasisinkana nammwe omusajja nga yeetisse ensuwa y'amazzi: mumugoberere;
14 yonna yonna mw'anaayingira mugambe nnannyini nnyumba nti Omuyigiriza agambye nti Ennyumba eri ludda wa mwe nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange?
15 Anaabalaga ye yennyini ennyumba ennene eya waggulu eyaliiriddwa etegekeddwa: mututegekere omwo.
16 Awo abayigirizwa ne bagenda ne bajja ku kibuga, ne balaba nga bwe yabagambye: ne bategeka Okuyitako.
17 Awo bwe bwawungeera n'ajja n'ekkumi n'ababiri.
18 Awo bwe baali batudde ku mmere, Yesu n'agamba nti Mazima mbagamba nti Omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe;
19 ne batanula okunakuwala n'okumugamba kinnoomu nti Ye nze?
20 N'abagamba nti Omu ku kkumi n'ababiri akoza nange mu kibya ye wuuyo.
21 Kubanga Omwana w'omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikwako: naye zirimusanga omuntu oyo alyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi eri oyo singa teyazaalibwa omuntu oyo.
22 Awo bwe baali balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n'agumenyamu, n'abawa, n'agamba nti Mutoole; guno gwe mubiri gwange.
23 N'addira ekikompe, awo bwe yamala okweyanza, n'abawa; ne bakinywako bonna.
24 N'abagamba nti Guno gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika olw'abangi.
25 Mazima mbagamba nti Sirinywa nate ku bibala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya mu bwakabaka bwa Katonda.
26 Awo bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
27 Awo Yesu n'abagamba nti Muneesittala mwenna: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n'endiga zirisaasaana.
28 Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda mu Ggaliraaya.
29 Naye Peetero n'amugamba nti Newakubadde nga bonna baneesittala, naye si nze.
30 Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti ggwe leero, ekiro kino, enkoko eneeba tennakookolima emirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.
31 Naye ne yeeyongera nnyo okwogera nti Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono. Era bonna ne bagamba bwe batyo.
32 Awo ne bajja mu kifo erinnya lyakyo Gesusemane: n'agamba abayigirizwa be nti Mutuule wano mmale okusaba.
33 N'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana wamu naye, n'atanula okuwuniikirira n'okweraliikirira ennyo.
34 N'abagamba nti Emmeeme yange eriko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule.
35 N'atambulako katono, n'avuunama n'asaba, oba nga kiyinzika, ekiseera kimuyiteko.
36 N'agamba nti Aba, Kitange, byonna biyinzika gy'oli; nziyaako ekikompe kino; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.
37 Awo n'ajja, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti Simooni, weebase? tobadde na maanyi ag'okutunula n'essaawa emu eti?
38 Mutunule, musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala, naye omubiri gwe munafu.
39 Nate n'addayo, n'asaba, n'ayogera ebigambo bimu na biri.
40 N'akomawo nate, n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambagga nnyo; so tebaamanya bwe banaamuddamu.
41 N'ajja omulundi ogw'okusatu, n'abagamba nti Mwebakire ddala kaakano, muwummule: kinaamala; ekiseera kituuse; laba, Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abalina ebibi.
42 Muyimuke, tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.
43 Awo amangu ago, bwe yali akyayogera, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina wamu naye abaalina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu, n'abawandiisi n'abakadde.
44 Era oyo eyamulyamu olukwe yali abawadde akabonero ng'agamba nti Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.
45 Awo bwe yatuuka, amangu ago n'ajja gy'ali n'agamba nti Labbi; n'amunywegera nnyo.
46 Ne bamussaako emikono gyabwe, ne bamukwata.
47 Naye omu ku abo abaali bayimiridde awo n'asowola ekitala, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu.
48 Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Munjijiridde nga bwe mujjira omunyazi; n'ebitala n'emiggo okunkwata?
49 Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu yeekaalu nga njigiriza, nga temwankwata: naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa bituukirire.
50 Awo bonna ne bamwabulira ne badduka.
51 Awo omulenzi omu n'amugoberera, eyali yeebikkiridde olugoye olw'ekitaani lwokka ku mubiri: ne bamukwata;
52 naye n'abalekera olugoye olw'ekitaani, n'adduka bwereere.
53 Awo ne batwala Yesu eri kabona asinga obukulu: ne bamukuŋŋaanirako bakabona abakulu bonna n'abakadde n'abawandiisi.
54 Awo Peetero n'amugoberera wala, okutuuka munda mu luggya lwa kabona asinga obukulu; yali atudde n'abaweereza ng'ayota omuliro.
55 Awo bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonyeza Yesu abajulirwa ab'okumussa, so ne batabalaba:
56 Kubanga abaamuwaayiriza eby'obulimba bangi, so n'okuwaayiriza kwabwe tekwali kumu.
57 Awo abamu ne bayimuka ne bamuwaayiriza, nga bagamba nti
58 Ffe twamuwulira ng'agamba nti Ndimenya yeekaalu eno eyakolebwa n'emikono, ne mu nnaku ssatu ndizimba endala etalikolebwa na mikono.
59 So n'okuwaayiriza kwabwe okwo nakwo tekwali kumu.
60 Awo kabona asinga obukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yesu, ng'agamba nti Ggwe toyanukula n'akatono? kiki kye bakulumiriza bano?
61 Naye n'asirika busirisi, n'atayanukula n'akatono. Nate kabona asinga obukulu n'amugamba nti Ggwe Kristo, Omwana w'oyo eyeebazibwa?
62 Yesu n'agamba nti Nze nzuuno; nammwe muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajja n'ebire eby'eggulu.
63 Awo kabona asinga obukulu n'ayuza engoye ze, n'agamba nti Twetaagira ki nate abajulirwa?
64 Muwulidde obuvvoozi bwe: mulowooza mutya? Bonna ne bamusalira omusango ng'asaanira okufa.
65 Awo abamu ne batanula okumuwandira amalusu, n'okumubikka mu maaso, n'okumukuba ebikonde n'okumugamba nti Lagula: abaweereza ne bamutwala nga bamukuba empi.
66 Awo Peetero bwe yali wansi mu luggya, omu ku bazaana ba kabona asinga obukulu n'ajja;
67 awo bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amutunuulira, n'agamba nti Naawe wali n'Omunazaaleesi, Yesu.
68 Naye ye ne yeegaana ng'agamba nti Simanyi, so sitegeera ky'oyogera: n'agenda ebweru mu kisasi; enkoko n'ekookolima.
69 Awo omuzaana n'amulaba, n'atanula nate okubagamba abaali bayimiridde awo nti Ono w'ewaabwe.
70 Naye ne yeegaana nate. Awo bwe waayitawo ekiseera kitono, abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nate nti Mazima oli w'ewaabwe; kubanga oli Mugaliraaya.
71 Naye n'atanula okukolima n'okulayira nti Simanyi muntu ono, gwe mwogerako.
72 Amangu ago enkoko n'ekookolima omulundi ogw'okubiri. Awo Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu bwe yamugambye nti Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu. Kale bwe yalowooza, n'akaaba amaziga.