Makko
Essuula 7
Ne bakuŋŋaanira w'ali Abafalisaayo n'abawandiisi abamu abaava e Yerusaalemi,
2 era abaalaba abayigirizwa be abamu nga balya emmere yaabwe n'engalo embi, ze zitanaabiddwa.
3 Kubanga Abafalisaayo, n'Abayudaaya bonna bwe batanaaba nnyo mu ngalo zaabwe, tebalya, kubanga bakwata obulombolombo obw'abakadde
4 era bwe bava mu katale, bwe batanaaba, tebalya: era waliwo n'ebirala bingi bye baaweebwa okukwata, okunaazanga ebikompe; n'ebibya, n'entamu ez'ebikomo.
5 Abafalisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti Kiki abayigirizwa bo ekibalobera okutambulira mu bulombolombo obw'abakadde, naye bamala galya emmere n'engalo embi?
6 N'abagamba nti Isaaya yalagula bulungi ku mmwe bannanfuusi, nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, Naye emitima gyabwe gindi wala.
7 Naye bansinziza bwereere, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata.
8 Muleka etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bw'abantu.
9 N'abagamba nti Mugaanira ddala bulungi etteeka lya Katonda, era mukwate obulombolombo bwammwe.
10 Kubanga Musa yayogera nti Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko; era nti Avumanga kitaawe Oba nnyina, bamuttanga bussi:
11 naye mmwe mwogera nti Omuntu bw'agamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa ye Kolubaani, ekitegeezebwa nti Kitone kya Katonda;
12 temukyamuganya okukolera ekintu kitaawe oba nnyina;
13 mudibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe, bwe mwayigiriza: era mukola ebigambo ebirala bingi ng'ebyo.
14 Ate n'ayita ebibiina, n'abagamba nti Mumpulire mwenna, mutegeere;
15 tewali kintu ekiri ebweru w'omuntu bwe kiyingira mu ye, ekiyinza okumwonoona, naye ebintu ebiva mu muntu, ebyo bye byonoona omuntu.
16 Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.
17 Awo bwe yayingira mu nnyumba ng'avudde mu bibiina, abayigirizwa be ne bamubuuza olugero olwo.
18 N'abagamba nti Bwe mutyo nammwe temulina magezi? Temutegeera nga kyonna ekiri ebweru bwe kiyingira mu muntu, tekiyinza kumwonoona;
19 kubanga tekiyingira mu mutima gwe; naye mu lubuto lwe, ne kiyita ne kigenda mu kiyigo? Yayogera bw'atyo ng'alongoosa ebiriibwa byonna.
20 N'agamba nti Ekiva mu muntu; kye kyonoona omuntu.
21 Kubanga munda, mu mitima gy'abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba,
22 okubba, okutta, obwenzi, kwegomba: obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusiru;
23 ebibi ebyo byonna biva munda ne byonoona omuntu:
24 N'agolokoka, n'avaayo n'agenda ku mbibi ez'e Ttuulo n'e Sidoni. N'ayingira mu nnyumba n'atayagala muntu kutegeera, so n'atayinza kwekisa.
25 Naye amangu ago omukazi eyalina muwala we eyaliko dayimooni, bwe yamuwulira n'ajja n'afukamira ku bigere bye.
26 Omukazi yali Muyonaani eggwanga lye mu Musulofoyiniiki. N'amwegayirira okugoba dayimooni ku muwala we.
27 N'amugamba nti Leka abaana bamale okukkuta kubanga si kirungi okuddira emmere y'abaana okugisuulira embwa.
28 Naye naddamu n'amugamba nti Weewaawo Mukama wange n'embwa ziriira wansi w'emmeeza obukunkumuka bw'abaana.
29 N'amugamba nti Olw'ekigambo ekyo, weddireyo; dayimooni avudde ku muwala wo.
30 N'addayo mu nnyumba ye, n'asanga omuwala ng'agalamizibbwa ku kitanda, ne dayimooni ng'amuvuddeko.
31 Ate n'ava mu mbibi ez'e Ttuulo, n'ajja n'ayita mu Sidoni ne wakati mu mbibi ez'e Dekapoli n'atuuka ku nnyanja ey'e Ggaliraaya.
32 Ne bamuleetera omuggavu w'amatu, atayogera bulungi, ne bamwegayirira okumussaako omukono gwe.
33 N'amuggya mu kibiina kyama, n'amussa engalo mu matu ge, n'awanda amalusu n'amukoma ku lulimi;
34 n'atunula waggulu mu ggulu, n'asinda n'amugamba nti Efasa, kwe kugamba nti Zibuka.
35 Amatu ge ne gazibuka n'enkolo y'olulimi lwe n'esumulukuka n'ayogera bulungi.
36 N'abakuutira baleme okubuulirako omuntu; naye nga bwe yeeyongera okubakuutira, bwe beeyongera ennyo nnyini okukibunya.
37 Ne bawuniikirira nnyo nnyini kitalo nga bagamba nti Byonna akoze bulungi: aggula abaggavu b'amatu, era ayogeza abasiru.