Makko
Essuula 1
Okusooka kw'enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.
2 Nga bwe kyawandiikibwa mu nnabbi Isaaya nti Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go, Alirongoosa oluguudo lwo;
3 Eddoboozi lye ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge;
4 Yokaana yajja eyabatiza mu ddungu n'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggibwako ebibi.
5 N'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'e Yerusaalemi bonna ne bavaayo ne bajja gy'ali ne babatizibwa ye mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe.
6 Ne Yokaana yayambalanga byoya bya ŋŋamira, n'olukoba lw'eddiba mu kiwato kye, ng'alya enzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.
7 N'abuulira ng'agamba nti Ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, so sisaanira kukutama kutuggulula lukoba lwa ngatto ze.
8 Nze nababatiza n'amazzi, naye oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu.
9 Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n'ava e Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya n'ajja okubatizibwa Yokaana mu Yoludaani.
10 Amangu ago bwe yava mu mazzi, n'alaba eggulu nga liyulise, n'Omwoyo ng'ali ng'ejjiba ng'akka ku ye:
11 n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu erigamba nti Ggwe Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.
12 Amangu ago Omwoyo n'amugobera mu ddungu.
13 N'amalayo mu ddungu ennaku amakumi ana ng'akemebwa Setaani; n'aba wamu n'ensolo; bamalayika ne bamuweereza.
14 Awo oluvannyuma Yokaana ng'amaze okuweebwayo, Yesu n'ajja e Ggaliraaya, ng'abuulira enjiri ya Katonda,
15 ng'agamba nti Ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde, mwenenye, mukkirize enjiri.
16 Bwe yali ng'ayita ku lubalama lw'ennyanja ey'e Ggaliraaya n'alaba Simooni ne Andereya muganda wa Simooni nga basuula omugonjo mu nnyanja, kubanga baali bavubi.
17 Yesu n'abagamba nti Mujje muyite nange, ndibafuula abavubi b'abantu.
18 Amangu ago ne baleka awo emigonjo ne bagenda naye.
19 Bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo omwana wa Zebbedaayo ne Yokaana muganda we, abo bombi baali mu lyato nga bayunga emigonjo.
20 Amangu ago n'abayita: ne baleka awo kitaabwe Zebbedaayo mu lyato ng'ali n'abo abakolera empeera, ne bamugoberera.
21 Ne bayingira e Kaperunawumu; amangu ago ku lunaku lwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayigiriza.
22 Ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe: kubanga yabayigiriza nga ye nnyini buyinza, so si ng'abawandiisi.
23 Amangu ago mu kkuŋŋaaniro lyabwe mwalimu omuntu aliko dayimooni omubi; n'akaaba
24 nga agamba nti Otuvunaana ki, Yesu ow'e Nazaaleesi? ozze kutuzikiriza? nkumanyi ggwe, ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.
25 Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti Bunira, muveeko.
26 Dayimooni n'amutaagula n'akaaba eddoboozi ddene n'amuvaako.
27 Ne beewuunya bonna, ne beebuuzaganya nga bagamba nti kiki kino? okuyigiriza kuggya! alagira n'obuyinza dayimooni ne bamuwulira.
28 Amangu ago ettutumu lye ne libuna ensi yonna eriraanye Ggaliraaya.
29 Amangu ago bwe baafuluma mu kkuŋŋaaniro ne bagenda wamu ne Yakobo ne Yokaana mu nnyumba ya Simooni ne Andereya.
30 Awo nnyina mukazi wa Simooni yali ng'agalamidde ng'alwadde omusujja; amangu ago ne bamubuulira bw'ali:
31 n'ajja n'amukwata ku mukono n'amugolokosa, omusujja ne gumuwonako, n'abaweereza.
32 Awo olweggulo, enjuba ng'egudde, ne bamuleetera abalwadde bonna, n'abo abaliko dayimooni.
33 N'ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku wankaaki.
34 N'awonya bangi abaali balwadde endwadde nnyingi, n'agoba dayimooni bangi n'atabaganya kwogera kubanga baamumanya.
35 Awo mu makya ennyo, nga bukyali kiro, n'agolokoka n'afuluma n'agenda mu ddungu, n'asabira eyo.
36 Simooni n'abo abaali naye ne bamugoberera;
37 ne bamulaba ne bamugamba nti Bonna bakunoonya.
38 N'abagamba nti Tugende awalala mu bibuga ebiri okumpi mbuulire n'eyo; kubanga ekyo kye nnajjirira.
39 N'ayingira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Ggaliraaya yonna, ng'abuulira ng'agoba dayimooni.
40 Omugenge n'ajja gy'ali, ng'amwegayirira ng'amufukaamirira ng'amugamba nti Bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.
41 N'amusaasira n'agolola omukono gwe n'amukwatako n'amugamba nti Njagala; longooka.
42 Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonako n'alongooka.
43 N'amukuutira nnyo amangu ago n'amusindika
44 n'amugamba nti Laba tobuulirako muntu; naye genda weeyoleke eri kabona, oweeyo olw'okulongooka kwo Musa bye yalagira okuba omujulirwa gye bali.
45 Naye n'afuluma, n'asooka okukibuulira ennyo n'okubunya ekigambo, n'okuyinza n'atayinza Yesu okuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye yali bweru mu malungu; ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna.