Makko
Essuula 6
N'avaayo; n'ajja mu nsi y'ewaabwe; abayigirizwa be ne bagenda naye.
2 Awo ssabbiiti bwe yatuuka, n'atanula okuyigiriza mu kkuŋŋaaniro: abangi bwe baamuwulira ne bawuniikirira, nga bagamba nti Ono ebyo yabiggya wa? era nti Magezi ki gano ge yaweebwa ono, era eby'amagero ebyenkanidde wano ebikolebwa mu mikono gye?
3 Si ye wuuno omubazzi, omwana wa Malyamu, muganda wa Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetuli nabo wano ewaffe? Ne bamwesittalako.
4 Yesu n'abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa wabula mu nsi yaabo, ne mu kika kye, ne mu nnyumba ye.
5 So teyayinza kukolerayo kya magero kyonna, naye yassa emikono gye ku balwadde batono, n'abawonya.
6 Ne yeewuunya olw'obutakkiriza bwabwe. Ne yeetooloola mu mbuga enjuyi zonna ng'ayigiriza.
7 N'ayita gy'ali ekkumi n'ababiri, n'atanula okubatuma kinnababirye; n'abawa obuyinza ku dayimooni;
8 n'abalagira obutatwala kintu kya mu kkubo wabula omuggo gwokka; si mmere, newakubadde ensawo, newakubadde ebikomo mu nkoba zaabwe,
9 naye nga banaanise engatto; era temwambalanga kkanzu bbiri.
10 N'abagamba nti Buli nju yonna mwe muyingiranga mubeeranga omwo okutuusa lwe mulivaayo.
11 Na buli kifo kyonna ekitalibakkiriza, obutabawulira, bwe muvangayo, mukunkumulanga enfuufu eri mu bigere byammwe okuba omujulirwa gye bali.
12 Ne bagenda ne babuulira abantu okwenenya.
13 Ne bagoba dayimooni mungi; ne basiiga amafuta ku balwadde bangi ne babawonya.
14 Awo Kerode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lye lyatiikiridde; n'agamba nti Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, amaanyi gano kyegava gakolera mu ye.
15 Naye abalala ne bagamba nti Ye Eriya. Abalala ne bagamba nti Nnabbi, ng'omu ku bannabbi.
16 Naye Kerode, bwe yawulira n'agamba nti Yokaana gwe nnatemako omutwe nze, ye azuukidde.
17 Kubanga Kerode yennyini yatuma, n'akwata Yokaana, n'amusiba n'amussa mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa muganda we Firipo: kubanga yamuwasa.
18 Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti Kya muzizo ggwe okubeera ne mukazi wa muganda wo.
19 Ne Kerodiya kyeyava amuwerera n'ayagala okumutta, n'atayinza;
20 kubanga Kerode yatya Yokaana, ng'amumanyi nga mutuukirivu mutukuvu, n'amwerinda. Yayagalanga nnyo okuwulira by'ayogera; naye ate byamulekanga nga tamanyi kya kukola.
21 Awo olunaku olulungi bwe lwatuuka, Kerode lwe yafumbira abakungu be embaga ku lunaku olw'okuzaalibwa kwe, n'abakulu ba sserikale, n'abaami ab'e Ggaliraaya:
22 awo muwala wa Kerodiya yennyini bwe yajja n'azina, Kerode n'abo abaali batudde naye nga balya ne bamusiima; awo kabaka n'agamba omuwala nti Nsaba ky'oyagala kyonna, nnaakikuwa.
23 N'amulayirira nti Kyonna kyonna ky'ononsaba, nnaakikuwa, newakubadde ekitundu eky'obwakabaka bwange.
24 Awo n'afuluma, n'agamba nnyina nti Nnaasaba ki? N'agamba nti Omutwe gwa Yokaana Omubatiza.
25 Amangu ago n'ayanguwako n'ajja eri kabaka, n'asaba, ng'agamba nti Njagala ompeere kaakano mu lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.
26 Awo kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'abo abaali batudde naye nga balya, n’atayagala kumumma.
27 Amangu ago kabaka n'atuma sserikale omumbowa, n'alagira okuleeta omutwe gwe; n'agenda n'amutemerako omutwe mu kkomera,
28 n'aleetera omutwe gwe mu lutiba, n'aguwa omuwala, n'omuwala n'aguwa nnyina.
29 Awo abayigirizwa be bwe baawulira, ne bajja ne batwala omulambo gwe, ne baguteeka mu ntaana.
30 Abatume ne bakuŋŋaanira awali Yesu; ne bamubuulira ebigambo byonna, bye baakola, ne bye baayigiriza.
31 N'abagamba nti Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono. Kubanga waaliwo bangi abajja n'abagenda, so ne bataba na bbanga newakubadde aw'okuliira.
32 Ne bagendera mu lyato kyama mu kifo eteri bantu.
33 Ne babalaba nga bagenda, bangi ne babategeera, n'abo abaava mu bibuga byonna ne baddukana ku lukalu, ne babasookayo.
34 Bwe yava mu lyato n'alaba ebibiina bingi, n'abasaasira, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba; n'atanula okubayigiriza ebigambo bingi.
35 Awo obudde bwe bwali buyise, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti Ekifo kino kya ddungu, ne kaakano obudde buyise:
36 basiibule, bagende mu byalo ne mu mbuga eby'oku njuyi zonna beegulire emmere.
37 Naye n'addamu, n'abagamba nti Mmwe mubawe emmere. Ne bamugamba nti Tugende tugule emigaati egy'eddinaali ebibiri tugibawe balye?
38 N'abagamba nti Mulina emigaati emeka? mugende mulabe. Bwe baategeera ne bagamba nti Etaano, n'ebyennyanja bibiri.
39 N'abalagira batuule bonna bibiina bibiina ku muddo.
40 Ne batuula nnyiriri nnyiriri, ekikumi, n'amakumi ataano.
41 N'akwata emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula waggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati, n'awa abayigirizwa be bagisse mu maaso ga bali; n'ebyennyanja bibiri n'abigabira bonna.
42 Ne balya bonna ne bakkuta.
43 Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri, n'ebyennyanja.
44 Abo abaalya emigaati baali abasajja enkumi ttaano.
45 Amangu ago n'abawaliriza abayigirizwa be okusaabala mu lyato basookeyo emitala w'eri e Besusayida, ye amale okusiibula ebibiina.
46 Awo bwe yamala okubasiibula n'agenda ku lusozi okusaba.
47 Awo bwe bwali buwungedde, eryato lyali mu nnyanja mu buziba, ye yali yekka ku lukalu.
48 Awo bwe yalaba nga bategana okuvuga, kubanga omuyaga gwali gubafulumye mu maaso, mu kisisimuka eky'okuna eky'ekiro n'ajja gye baali ng'atambulira ku nnyanja; yali ng'agenda kubayisa:
49 naye bo, bwe baamulaba ng'atambulira ku nnyanja, ne balowooza nti kifaananyi, ne bakaaba;
50 kubanga bonna baamulaba, ne beeraliikirira. Naye amangu ago n'ayogera nabo n'abagamba nti Mugume: nze nzuuno, temutya.
51 N'alinnya mu lyato mwe baali, omuyaga ne gufa: ne bawuniikirira nnyo munda yaabwe;
52 kubanga eby'emigaati tebaabitegeera, naye emitima gyabwe gyali mikakanyavu.
53 Awo bwe baawunguka, ne bajja mu nsi ey'e Genesaleeti, ne bagoba ettale
54 Awo bwe baava mu lyato, amangu ago ne bamutegeera,
55 ne baddukana ne beetooloola mu nsi eyo yonna, ne batanula okusitulira ku bitanda abalwadde okubaleeta we baawulira nga w'ali.
56 Ne buli gye yagendanga, mu mbuga, oba mu bibuga, oba mu byalo, bassanga abalwadde mu butale, ne bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'olugoye lwe: n'abo abaamukomangako ne bawona.