Makko

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

0:00
0:00

Essuula 3

N'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro; mwalimu omuntu eyalina omukono ogukaze.
2 Ne bamulabirira oba anaamuwonyeza ku lunaku lwa ssabbiiti, era bamuloope.
3 N'agamba omuntu eyalina omukono ogukaze nti Yimirira wakati awo.
4 Awo n'abagamba nti Kye kirungi ku lunaku lwa ssabbiiti okukola obulungi nantiki okukola obubi? kuwonya bulamu naatiki kutta? Naye ne basirika busirisi.
5 Bwe yabeetoolooza amaaso n'obusungu, ng'anakuwadde olw'okukakaayala kw'emitima gyabwe, n'agamba omuntu ati Golola omukono gwo. N'agugolola: omukono gwe ne guwona.
6 Amangu ago Abafalisaayo ne bavaamu ne bateesa n'Abakerodiyaani ku ye, nga bwe banaamuzikiriza.
7 Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja, ebibiina bingi ne bimugoberera ebyava e Ggaliraaya n'e Buyudaaya
8 e Yerusaalemi ne Idumaya n'emitala wa Yoludaani, n'abaliraanye e Ttuulo n'e Sidoni, ekibiina kinene, bwe baawulira bye yakola, ne bajja gy'ali.
9 N'agamba abayigirizwa be eryato ettono limubeerenga kumpi ebibiina bireme okumunyigiriza;
10 kubanga yawonya bangi, n'okugwa abalwadde ne bamugwako bamukwateko, bonna abaali balina ebibonoobono.
11 Dayimooni ababi nabo bwe baamulaba ne bagwa mu maaso ge ne bakaaba nga bagamba nti Ggwe Mwana wa Katonda.
12 N'abakuutira nnyo baleme okumwatiikiriza.
13 Awo n'alinnya ku lusozi n'abayita gy'ali b'ayagala: ne bagenda gy'ali.
14 N'ayawulamu ekkumi n'ababiri okubeeranga awamu naye, era abatumenga okubuulira,
15 n'okuba n'obuyinza okugobanga emizimu:
16 Simooni n'amutuuma erinnya Peetero;
17 ne Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo; nabo n'abatuuma amannya Bowanerege, amakulu gaalyo nti Baana ba kubwatuka:
18 ne Andereya ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo, ne Simooni Omukananaayo,
19 ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe. N'ajja mu nnyumba,
20 ekibiina ne kikuŋŋaana nate, n'okuyinza ne batayinza na kulya mmere.
21 Awo ababe bwe baawulira ne bafuluma okumukwata, kubanga baagamba nti Alaluse.
22 Awo abawandiisi abaaserengeta okuva e Yerusaalemi ne bagamba nti Alina Beeruzebuli, era nti Agoba dayimooni ku bwa mukulu wa badayimooni.
23 N'abayita gy'ali, n'abagambira mu ngero nti Setaani ayinza atya okugoba Setaani?
24 Obwakabaka bwe bwawukanamu bwo bwokka, obwakabaka obwo tebuyinza kuyimirira.
25 N'ennyumba bw'eyawukanamu yo yokka, ennyumba eyo teriyinza kuyimirira.
26 Era oba Setaani yeegolokokeddeko ye yekka, n'ayawukanamu, tayinza kuyimirira, naye aggwaawo.
27 Naye tewali muntu ayinza okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi okunyaga ebintu bye, nga tasoose kusiba oyo ow'amaanyi, n'alyoka anyaga ennyumba ye.
28 Mazima mbagamba nti Abaana b'abantu balisonyiyibwa ebibi byabwe byonna, n'obuvvoozi bwabwe bwe balivvoola bwonna;
29 naye oyo yenna anavvoolanga Omwoyo Omutukuvu talina kusonyiyibwa emirembe n'emirembe, naye azzizza omusango ogw'ekibi eky'emirembe n'emirembe:
30 kubanga baayogera nti Alina dayimooni.
31 Awo nnyina ne baganda be ne bajja, ne bamutumira ne bamuyita nga bayimiridde wabweru.
32 N'ekibiina kyali kitudde nga bamwetoolodde; ne bamugamba nti Laba, nnyoko ne baganda bo bali wabweru bakunoonya.
33 N'abaddamu ng'agamba nti Mmange ye ani ne baganda bange?
34 n'abeetoolooza amaaso abaali batudde enjuyi zonna nga bamwetoolodde n'agamba nti Laba, mmange ne baganda bange!
35 Kubanga buli muntu yenna anaakolanga Katonda by'ayagala, oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.