1 Ebyomumirembe

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29

0:00
0:00

Essuula 9

Awo Isiraeri yenna ne babalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali; era, laba, kwawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri: Yuda n'atwalibwa e Babulooni nga basibe olw'okusobya kwabwe.
2 Awo abantu abaasooka okubeera mu bifo byabwe bye baalya mu bibuga byabwe be bano, Isiraeri, bakabona, Abaleevi, n'Abanesinimu.
3 Ne mu Yerusaalemi ne mubeeramu ku baana ba Yuda, ne ku baana ba Benyamini, ne ku baana ba Efulayimu ne Manase;
4 Usayi mutabani wa Ammikudi, mutabani wa Omuli, mutabani wa Imuli, mutabani wa Bani, ow'oku baana ba Pereezi mutabani wa Yuda.
5 Ne ku Basiiro; Asaya omubereberye, ne batabani be.
6 Ne ku batabani ba Zeera; Yeweri, ne baganda baabwe, lukaaga mu kyenda.
7 Ne ku batabani ba Benyamini; Sallu mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Kodaviya, mutabani wa Kassenuwa;
8 ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu, ne Era mutabani wa Uzzi, mutabani wa Mikuli, ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, mutabani wa Leweri, mutabani wa Ibuniya;
9 ne baganda baabwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, lwenda mu ataano mu mukaaga. Abasajja abo bonna nga mitwe gya nnyumba za bajjajjaabwe, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali.
10 Ne ku bakabona; Yedaya, ne Yekoyalibu, Yakini;
11 ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, mutabani wa Mesulamu, mutabani wa Zadooki, mutabani wa Merayoosi, mutabani wa Akituubu, omukulu w'ennyumba ya Katonda;
12 ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Pasukuli, mutabani wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, mutabani wa Yazera, mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Mesiremisi, mutabani wa Immeri;
13 ne baganda baabwe emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, lukumi mu lusanvu mu nkaaga; abasajja abaayinziza ddala omulimu ogw'okuweereza mu nnyumba ya Katonda.
14 Ne ku Baleevi; Semaaya mutabani wa Kassubu, mutabani wa Azulikamu, mutabani wa Kasabiya ow'oku batabani ba Merali:
15 ne Bakubakkali, Keresi, ne Galali, ne Mattaniya mutabani wa Mikka, mutabani wa Zikuli, mutabani wa Asafu;
16 ne Obadiya mutabani wa Semaaya, mutabani wa Galali, mutabani wa Yedusuni, ne Berekiya mutabani wa Asa, mutabani wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo eby'Abanetofa.
17 N'abaggazi; Sallumu, ne Akkubu, ne Talumoni, ne Akimani, ne baganda baabwe: Sallumu ye yali omukulu;
18 edda abaalindiriranga mu mulyango gwa kabaka ebuvanjuba; be baali abaggazi ab'olusiisira lw'abaana ba Leevi.
19 Ne Sallumu mutabani wa Koole, mutabani wa Ebiyasaafu, mutabani wa Koola, ne baganda be ab'omu nnyumba ya kitaawe, Abakoola, be baalabirira omulimu ogw'okuweereza, abaggazi b'enzigi z'eweema: ne bajjajjaabwe be baabanga abakulu b'olusiisira lwa Mukama, abaggazi b'omulyango;
20 ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yabanga omukulu waabwe mu biro eby'edda, era Mukama yabanga naye.
21 Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ow'oku luggi lw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
22 Abo bonna abaalondebwa okuba abaggazi ku nzigi baali ebikumi bibiri mu kkumi mu babiri. Abo baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali mu byalo byabwe, Dawudi ne Samwiri nnabbi be baayawulira omulimu gwabwe ogwateekebwawo.
23 Awo bo n'abaana baabwe ne baba n'omulimu ogw'okulabirira enzigi z'ennyumba ya Mukama, ennyumba ey'eweema, mu bisanja.
24 Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, ebuvanjuba n'ebugwanjuba n'obukiika obwa kkono n'obukiika obwa ddyo.
25 Ne baganda baabwe mu byalo byabwe baali ba kujjanga nga wayiseewo ennaku musanvu buli kiseera okubeera awamu nabo:
26 kubanga abaggazi abana abaasinga obukulu, Abaleevi, baalina omulimu ogwateekebwawo, nga be bakulu b'enju era ab'amawanika mu nnyumba ya Katonda.
27 Ne basula okwetooloola ennyumba ya Katonda, kubanga be baakwasibwa omulimu ogw'okugikuuma, n'okugiggulawo buli nkya nga gwe mulimu gwabwe.
28 Era abamu ku bo ne bakwasibwa ebintu ebiweereza okubikuuma; kubanga bwe byayingizibwanga ne bibalibwanga, era bwe byafulumizibwanga ne bibalibwanga.
29 Era abamu ku bo ne balagirwa okulabirira ebikoza emirimu n'ebintu byonna eby'omu watukuvu, n'obutta obulungi, n'omwenge, n'amafuta, n'omugavu, n'eby'akaloosa.
30 Era abamu ku baana ba bakabona ne balongoosanga kalifuwa ow'eby'akaloosa.
31 Ne Mattisiya, omu ku Baleevi, omubereberye wa Sallumu Omukoola, ye yalina omulimu ogwateekebwawo ogw'okulabirira ebyo ebyasiikirwanga mu mmumbiro.
32 Era abamu ku baganda baabwe ku baana ba b'Abakokasi be baalabiriranga emigaati egy'okulaga, okugirongoosanga buli ssabbiiti.
33 Era bano be bayimbi, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi, abaasula mu nju era abaasonyiyibwa okuweereza okulala: kubanga baakolanga omulimu gwabwe emisana n'ekiro.
34 Abo be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi, okubuna emirembe gyabwe, abasajja abasinga obukulu: abo baabeeranga e Yerusaalemi.
35 Ne kitaawe wa Gibyoni n'abeeranga mu Gibyoni, Yeyeeri, mukazi we erinnya lye Maaka:
36 ne mutabani we omubereberye Abudoni, ne Zuuli, ne Kiisi, ne Baali, ne Neeri, ne Nadabu;
37 ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekkaliya, ne Mikuloosi.
38 Mikuloosi n'azaala Simeyamu. Era nabo ne babeeranga ne baganda baabwe e Yerusaalemi, nga boolekera baganda baabwe.
39 Neeri n'azaala Kiisi; Kiisi n'azaala Sawulo; Sawulo n'azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu, ne Esubaali.
40 Ne Meribubaali ye yali mutabani wa Yonamani; Meribubaali n'azaala Mikka.
41 Ne batabani ba Mikka; Pisoni, ne Mereki, ne Taleya, ne Akazi.
42 Akazi n'azaala Yala; Yala n'azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli; Zimuli n'azaala Moza;
43 Moza n'azaala Bineya; ne Lefaya nutabani we, Ereyaasa mutabani we, Azeri mutabani we;
44 Azeri n'azaala batabani be mukaaga, amanya gaabwe gaagano; Azulikamu, Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani: abo be baali batabani ba Azeri.