1 Ebyomumirembe
Essuula 22
Awo Dawudi n'ayogera nti Eno ye nnyumba ya Mukama Katonda, era kino kye kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa eri Isiraeri.
2 Awo Dawudi n'alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu nsi ya Isiraeri; n'assaawo ab'amayinja okutema amayinja amabajje okuzimba ennyumba ya Katonda.
3 Dawudi n'ategeka ebyuma bingi olw'enninga n'enzigi ez'emizigo n'olw'ebigatta; n'ebikomo bingi ebitapimika;
4 n'emivule egitabalika: kubanga Abazidoni n'Abatuulo baaleeta emivule mingi eri Dawudi.
5 Dawudi n'ayogera nti Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto, n’ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey'ekitiibwa ekinene ennyo, okwatiikirira n'okutenderezebwa mu nsi zonna: kyendiva ngitegekera. Awo Dawudi n'ategeka bingi nnyo nga tannaba kufa.
6 Awo n'ayita Sulemaani mutabani we n'amukuutira okuzimbira ennyumba Mukama Katonda wa Isiraeri.
7 Dawudi n'agamba Sulemaani mutabani we nti Nze, kyali mu mutima gwange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba.
8 Naye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nti Wayiwa omusaayi mungi, n'olwana entalo enkulu: tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga wayiwa omusaayi mungi ku nsi mu maaso gange;
9 laba, olizaalirwa omwana wa bulenzi, aliba omusajja ow'emirembe; era ndimuwa emirembe eri abalabe be bonna enjuyi zonna: kubanga erinnya lye aliba Sulemaani, era ndiwa emirembe n'okutereera eri Isiraeri ku mirembe gye:
10 oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba; era anaabanga mwana wange, nange naabanga kitaawe; era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ku Isiraeri emirembe gyonna.
11 Kale, mwana wange, Mukama abe naawe; olabe omukisa, ozimbe ennyumba ya Mukama Katonda wo, nga bwe yakwogerako.
12 Kyokka Mukama akuwe amagezi n'okutegeera, akukuutire ebya Isiraeri; olyoke okwate amateeka ga Mukama Katonda wo.
13 Bw'otyo bw'onoolabanga omukisa, bw'oneekuumanga okukola amateeka n'emisango, Mukama bye yakuutira Musa ebya Isiraeri: ba n'amaanyi ogume omwoyo; totya so totekemuka.
14 Laba nno, mu kubonyabonyezebwa kwange ntegekedde ennyumba ya Mukama talanta eza zaabu kasiriivu ne talanta eza ffeeza kakadde; n'ebikomo n'ebyuma ebitapimika; kubanga bingi nnyo: era n'emiti n'amayinja ntegese; oyongereko ggwe.
15 Era nate waliwo naawe abakozi b'emirimu bangi nnyo, abatema n'abakola emirimu egy'amayinja n'emiti, n'abantu bonna abalina amagezi ag'omulimu gwonna;
16 zaabu ne ffeeza n'ebikomo n'ebyuma tebibalika; golokoka okole, era Mukama abeere naawe.
17 Era Dawudi n'alagira n'abakulu bonna aba Isiraeri okuyamba Sulemaani mutabani we, ng'ayogera nti
18 Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? era tabawadde mirembe enjuyi zonna? kubanga agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange; era ensi ewanguddwa mu maaso ga Mukama, ne mu maaso g'abantu be.
19 Kale munyweze omutima gwammwe n'emmeeme yammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe; kale mugolokoke muzimbe ekiggwa kya Mukama Katonda, okuleeta essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'ebintu ebitukuvu ebya Katonda okubiyingiza mu nnyumba egenda okuzimbirwa erinnya lya Mukama.