1 Ebyomumirembe

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29

0:00
0:00

Essuula 3

Era bano be baali batabani ba Dawudi, abaamuzaalirwa e Kebbulooni: omubereberye Amunoni, omwana wa Akinoamu Omuyezuleeri; ow'okubiri Danyeri, omwana wa Abbigayiri Omukalumeeri;
2 ow'okusatu, Abusaalomu, omwana wa Maaka muwala wa Talumayi kabaka w'e Gesuli; ow'okuna Adoniya omwana wa Kaggisi;
3 ow'okutaano Sefatiya, omwana wa Abitali; ow'omukaaga Isuleyamu, gwe yazaala mu Eggulaasi mukazi we.
4 Yazaalirwa abaana mukaaga e Kebbulooni; era yafugira eyo emyaka musanvu ko emyezi mukaaga: ne mu Yerusaalemi n'afugira emyaka amakumi asatu mu esatu.
5 Era bano be baamuzaalirwa mu Yerusaalemi: Simeeya, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, bana, abaana ba Basusuwa muwala wa Ammiyeri:
6 ne Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti;
7 ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya;
8 ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, mwenda.
9 Abo bonna baali batabani ba Dawudi, obutassaako baana ba bazaana; era Tamali yali mwannyinnaabwe.
10 Ne Lekobowaamu ye yali mutabani wa Sulemaani, mutabaai we Abiya, mutabani we Asa, mutabani we Yekosafaati;
11 mutabani we Yolaamu, mutabani we Akaziya, mutabani we Yowaasi;
12 mutabani we Amaziya, mutabani we Azaliya, mutabani we Yosamu;
13 mutabani we Akazi, mutabani we Keezeekiya, mutabani we Manase;
14 mutabani we Amoni, mutabani we Yosiya.
15 Ne batabani ba Yosiya; omubereberye Yokanani, ow'okubiri Yekoyakimu, ow'okusatu Zeddekiya, ow'okuna Sallumu.
16 Ne batabani ba Yekoyakimu: Yekoniya mutabani we, Zeddekiya mutabani we.
17 Ne batabani ba Yekoniya omusibe; Seyalutyeri mutabani we,
18 ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, Yekamiya, Kosama, ne Nedabiya.
19 Ne batabani ba Pedaya; Zerubbaberi, ne Simeeyi: ne batabani ba Zerubbaberi; Mesullamu, ne Kananiya; ne Seromisi yali mwannyinaabwe:
20 ne Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya; Yusabukesedi, bataano.
21 Ne batabani ba Kananiya; Peratiya, ne Yesukaya: batabani ba Lefaya, batabani ba Alunani, batabani ba Obadiya, batabani ba Sekaniya.
22 Ne batabani ba Sekaniya; Semaaya: ne batabani ba Semaaya; Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati, mukaaga.
23 Ne batabani ba Neyaliya; Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, basatu.
24 Ne batabani ba Eriwenayi; Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanani, ne Deraya, ne Anani, musanvu.