1 Ebyomumirembe
Essuula 7
N'ebyaggibwa ku batabani ba Isakaali; Tola, ne Puwa, Yasubu, ne Simuloni, bina.
2 Ne batabani ba Tola; Uzzi ne Lefaya, ne Yeryeri, ne Yamayi, ne Ibusamu, ne Semweri, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, aba Tola; abasajja ab'amaanyi abazira mu mirembe gyabwe: ku mirembe gya Dawudi omuwendo gwabwe gwali obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu lukaaga.
3 Ne batabani ba Uzzi; Izulakiya: ne batabani ba Izulakiya; Mikayiri, ne Obadiya, ne Yoweeri, Issiya, bataano; bonna basajja bakulu.
4 Era ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali, ebibiina by'omu ggye byali wamu nabo olw'okulwana, obukumi busatu mu kakaaga: kubanga baalina abakazi bangi n'abaana bangi.
5 Ne baganda baabwe bonna, ab'omu luggya lwa Isakaali, nga babalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, abasajja ab'amaanyi abazira, baali obukumi munaana mu kasanvu.
6 Batabani ba Benyamini; Bera, ne Bekeri, ne Yediyayeri, basatu.
7 Ne batabani ba Bera; Ezuboni, ne Uzzi, ne Wuziyeeri, ne Yerimosi, ne Iri, bataano; emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja ab'amaanyi abazira; era baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, obukumi bubiri mu enkumi bbiri mu amakumi asatu mu bana.
8 Ne batabani ba Bekeri; Zemira, ne Yowaasi, ne Eryeza, ne Eriwenayi, ne Omuli, ne Yeremosi, ne Abiya, ne Anasosi, ne Alemesi. Abo bonna baali batabani ba Bekeri.
9 Era baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, nga bwe baaliraana, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, obukumi bubiri mu ebikumi bibiri.
10 Ne batabani ba Yediyayeri; Birukani; ne batabani ba Birukani; Yewusi, ne Benyamini, ne Ekudi, ne Kenaana, ne Zesani, ne Talusiisi, ne Akisakali.
11 Abo bonna baali baana ba Yediyayeri, ng'emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe bwe gyali, abasajja ab'amaanyi abazira, kakumi mu kasanvu mu ebikumi bibiri, abayinza okutabaala mu ggye okulwana.
12 Suppimu naye, ne Kuppimu, batabani ba Iri, Kusimu, batabani ba Akeri.
13 Batabani ba Nafutaali; Yaziyeri, ne Guni, ne Yazeri, ne Sallumu, batabani ba Biruka.
14 Batabani ba Manase; Asuliyeri mukazi we gwe yazaala: (muzaana we Omwalamu yazaala Makiri kitaawe wa Gireyaadi:
15 Makiri n'awasa omukazi ow'oku Kuppimu ne Suppimu, erinnya lya muganda we Maaka;) n'erinnya ly'ow'okubiri lyali Zerofekadi: Zerofekadi n'azaala abaana ba buwala.
16 Maaka muka Makiri n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Peresi; n'erinnya lya muganda we lyali Seresi; ne batabani be Ulamu ne Lakemu.
17 Ne batabani ba Ulamu; Bedani. Abo be baali batabani ba Gireyaadi mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase.
18 Ne mwannyina Kammolekesi n'azaala Isukodi, ne Abiezeri, ne Makula.
19 Ne batabani ba Semida ye Akyani, ne Sekemu, ne Liki, ne Aniyamu.
20 Ne batabani ba Efulayimu; Susera, ne Beredi mutabani we, ne Takasi mutabani we, ne Ereyadda mutabani we, ne Takasi mutabani we,
21 ne Zabadi mutabani we, ne Susera mutabani we, ne Ezeri, ne Ereyaddi, abasajja ab'e Gaasi abaazaalibwa mu nsi be batta, kubanga baaserengeta okubaggyako ebisibo byabwe.
22 Efulayimu kitaabwe n'akungubagira ennaku nnyingi, baganda be ne bajja okumukubagiza.
23 N'ayingira eri mukazi we n'aba olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Beriya, kubanga ab'omu nnyumba ye baalaba akabi.
24 Ne muwala we yali Seera, eyazimba Besukoloni, ekya wansi n'eky'engulu, ne Uzzenuseera.
25 Ne Leefa ye yali mutabani we, ne Lesefu, ne Teera mutabani we, ne Takani mutabani we;
26 Ladani mutabani we, Ammikudi mutabani we, Erisaama mutabani we;
27 Nuni mutabani we, Yoswa mutabani we.
28 N'ebifo byabwe bye baalya era bye baabeerangamu bye bino; Beseri n'ebibuga byako, n'ebuvanjuba Naalani, n'ebugwanjuba Gezeri, n'ebibuga byako; era ne Sekemu n'ebibuga byako, okutuusa ku Azza n'ebibuga byako:
29 n'awali ensalo ez'abaana ba Manase Besuseyani n'ebibuga byako, Taanaki n'ebibuga byako, Megiddo n'ebibuga byako, Doli n'ebibuga byako. Omwo abaana ba Yusufu mutabani wa Isiraeri mwe baabeeranga.
30 Batabani ba Aseri; Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya; ne Seera mwannyinaabwe.
31 Ne batabani ba Beriya; Keberi, ne Malukiyeeri, ye kitaawe wa Biruzayisi.
32 Keberi n'azaala Yafuleti, ne Somera, ne Kosamu, ne Suwa, mwannyinaabwe.
33 Ne batabani ba Yafuleti; Pasaki, ne Bimukali, ne Asuvasi. Abo be baana ba Yafuleti.
34 Ne batabani ba Semeri: Aki, ne Loga, Yekubba, ne Alamu.
35 Ne batabani ba Keremu muganda we; Zofa, ne Imuna, ne Seresi, ne Amali.
36 Batabani ba Zofa; Suwa, ne Kaluneferi; ne Swali, ne Beri, ne Imula;
37 Bezeri, ne Kodi, ne Samma, ne Sirusa, ne Isulani, ne Beera.
38 Ne batabani ba Yeseri; Yefune, Pisupa, ne Ala.
39 Ne batabani ba Ulla; Ala, ne Kanyeri, ne Liziya.
40 Abo bonna baali baana ba Aseri, emitwe gy'ennyumba za bajjajja baabwe, abasajja abazira abalonde ab'amaanyi, ab'olubereberye mu bakulu. N'omuwendo gwabwe ogwabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, olw'okukola omulimu ogw'okulwana, gwali abasajja obukumi bubiri mu kakaaga.