1 Ebyomumirembe

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29

0:00
0:00

Essuula 25

Era nate Dawudi n'abaami b’eggye ne baawulira okuweereza okwo abamu ku batabani ba Asafu n'aba Kemani n'aba Yedusuni, ab'okulagula n'ennanga, n'entongooli, n'ebitaasa: n'omuwendo gwabo abaakola omulimu ng'okuweereza kwabwe bwe kwali gwali bwe guti:
2 ku batabani ba Asafu; Zakkuli ne Yusufu ne Nesaniya ne Asalera, batabani ba Asafu; wansi w'omukono gwa Asafu eyalagulanga ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali.
3 Ku Yedusuni: batabani ba Yedusuni; Gedaliya ne Zeri ne Yesaya ne Kasabiya ne Mattisiya, mukaaga; wansi w'emikono gya kitaabwe Yedusuni nga balina ennanga, abaalagulanga nga beebaza era nga batendereza Mukama.
4 Ku Kemani; batabani ba Kemani; Bukkiya, Mattaniya, Wuziyeeri, Sebuweri, ne Yerimoosi, Kananiya, Kanani, Eriyaasa, Giddaluti, ne Lomamutyezeri, Yosubekasa, Mallosi, Kosiri, Makaziyoosi:
5 abo bonna baali batabani ba Kemani omulabi wa kabaka mu bigambo bya Katonda, okuyimusanga ejjembe. Katonda n'awa Kemani abaana ab'obulenzi kkumi na bana n'ab'obuwala basatu.
6 Abo bonna baabanga wansi w'emikono gya kitaabwe okuyimbiranga mu nnyumba ya Mukama, n'ebitaasa, n'entongooli, n'ennanga, olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda; Asafu, Yedusuni, ne Kemani nga bali wansi w'ekiragiro kya kabaka.
7 N'omuwendo gwabo wamu ne baganda baabwe abaayigirizibwa akuyimbira Mukama, bonna abalina amagezi, gwali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana.
8 Ne bakubira ebyo bye baateresebwa obululu bonna okwenkana, abato era n'abakulu, omuyigiriza era n'omuyigirizwa.
9 Awo akalulu ak'olubereberye ne kamugwako Yusufu olwa Asafu: ak'okubiri Gedaliya; ye ne baganda be ne batabani be baali kkumi na babiri:
10 ak'okusatu Zakkuli, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
11 ak'okuna Izuli, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
12 ak'okutaano Nesaniya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
13 ak'omukaaga Bukkiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
14 ak'omusanvu Yesalera, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
15 ak'omunaana Yesaya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
16 ak'omwenda Mattaniya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
17 ak'ekkumi Simeeyi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
18 ak'ekkumi n'akamu Azaleeri, batabani be ne baganda be kkumi na babiri:
19 ak'ekkumi n'obubiri Kasabiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
20 ak'ekkumi n'obusatu, Subayeri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri :
21 ak'ekkumi n'obuna Mattisiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
22 ak'ekkumi n'obutaano Yeremoosi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
23 ak'ekkumi n'omukaaga Kananiya, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
24 ak'ekkumi n'omusanvu Yosubekasa, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
25 ak'ekkumi n'omunaana Kanani, batabani be ne baganda be kkumi na babiri:
26 ak'ekkumi n'omwenda Mallosi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
27 ak'amakumi abiri Eriyaasa, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
28 ak'abiri mu kamu Kosiri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
29 ak'abiri mu bubiri Giddaluti, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
30 ak'abiri mu busatu Makaziyoosi, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri:
31 ak'abiri mu buna Lomamutyezeri, batabani be ne baganda be, kkumi na babiri.