1 Ebyomumirembe

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29

0:00
0:00

Essuula 1

Adamu, Seezi, Enosi;
2 Kenani, Makalaleri, Yaledi;
3 Enoki, Mesuseera, Lameka;
4 Nuuwa, Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.
5 Batabani ba Yafeesi; Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi.
6 Ne batabani ba Gomeri; Asukenaazi, ne Difasi, ne Togaluma.
7 Ne batabani ba Yavani; Erisa, ne Talusiisi, Kittimu, ne Lodanimu.
8 Batabani ba Kaamu; Kuusi, ne Mizulayimu, Puti, ne Kanani.
9 Ne batabani ba Kuusi; Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka. Ne batabani ba Laama; Seeba, ne Dedani.
10 Kuusi n'azaala Nimuloodi: n'atanula okuba ow'amaanyi mu nsi.
11 Mizulayimu n'azaala Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu,
12 ne Pasulusimu, ne Kasulukimu Abafirisuuti gye baava, ne Kafutolimu.
13 Kanani n'azaala Sidoni omubereberye we, ne Keesi;
14 n'Omuyebusi n'Omwamoli n'Omugirugaasi;
15 n'Omukiivi n'Omwaluki n'Omusiini;
16 n'Omwaluvadi n'Omuzemali n'Omukamasi.
17 Batabani ba Seemu: Eramu; ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Luddi, ne Alamu, ne Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki.
18 Alupakusaadi n'azaala Seera, Seera n'azaala Eberi.
19 Eberi n'azaalirwa abaana babiri ab'obulenzi: erinnya ly'omu Peregi; kubanga mu nnaku ze ensi mwe yagabanirwa; n'erinnya lya muganda we Yokutaani,
20 Yokutaani n'azaala Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumavesi, ne Yera;
21 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula;
22 ne Ebali, ne Abimayeeri, ne Seeba;
23 ne Ofiri, ne Kavira, ne Yobabu. Abo bonna baali batabani ba Yokutaani,
24 Seemu, Alupakusaadi, Seera;
25 Eberi, Peregi, Lewu;
26 Serugi, Nakoli, Teera;
27 Ibulaamu ye Ibulayimu.
28 Batabani ba Ibulayimu; Isaaka ne Isimaeri.
29 Okwo kwe kuzaalibwa kwabwe: omubereberye wa Isimaeri, Nebayoosi; awo Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu,
30 Misuma, ne Duma, Massa; Kadadi, ne Tema,
31 Yetuli, Nafisi, ne Kedema. Abo be baana ba Isimaeri.
32 Ne batabani ba Ketula, omuzaana wa Ibulayimu; oyo n'azaala Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki, ne Suwa. Ne batabani ba Yokusaani; Seeba, ne Dedani.
33 Ne batabani ba Midiyaani; Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida, ne Erudaa. Abo bonna baali batabani ba Ketula.
34 Ibulayimu n'azaala Isaaka. Batabani ba Isaaka; Esawu ne Isiraeri.
35 Batabani ba Esawu; Erifaazi, Leweri; ne Yewusi, ne Yalamu, ne Koola.
36 Batabani ba Erifaazi; Temani, ne Omali, Zeefi, ne Gatamu, Kenazi, ne Timuna, ne Amaleki.
37 Batabani ba Leweri; Nakasi, Zeera, Samma, ne Mizza.
38 Ne batabani ba Seyiri; Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri, ne Disani.
39 Ne batabani ba Lotani; Koli ne Komamu: ne Timuna yali mwannyina Lotani.
40 Batabani ba Sobali; Aliyani ne Manakasi ne Ebali, Seefi ne Onamu. Ne batabani ba Zibyoni; Aya ne Ana.
41 Batabani ba Ana; Disoni. Ne batabani ba Disoni; Kamulani ne Esubani ne Isulani ne Kerani,
42 Batabani ba Ezeri; Birukani ne Zaavani, Yaakani. Batabani ba Disani; Uzi ne Alani.
43 Kale abo be bakabaka abaafuga mu nsi ya Edomu, kabaka yenna nga tannafuga baana ba Isiraeri: Bera mutabani wa Byoli; n'erinnya ly'e kibuga kye lyali Dinukaba.
44 Bera bwe yafa, Yobabu mutabani wa Zeera ow'e Bozula n'afuga mu kifo kye.
45 Yobabu bwe yafa, Kusamu ow'ensi y'Abatemani n'afuga mu kifo kye.
46 Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi eyakuba Midiyaani mu ttale lya Mowaabu n'afuga mu kifo kye: n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Avisi.
47 Kadadi n'afa, Samula ow'e Masuleka n'afuga mu kifo kye.
48 Samula bwe yafa, Sawuli ow'e Lekobosi ekiri ku Mugga n'afuga mu kifo kye.
49 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n'afuga mu kifo kye.
50 Baalukanani bwe yafa, Kadadi n'afuga mu kifo kye; n'erinnya ly'ekibuga kye lyali Payi: ne mukazi we erinnya lye yali Meketaberi muwala wa Matuledi, muwala wa Mezakabu.
51 Kadadi bwe yafa. N'abakungu ba Edomu be bano; omukungu Timuna, omukungu Aliya, omukungu Yesesi;
52 omukungu Okolibama, omukungu Era, omukungu Pinoni;
53 omukungu Kenazi, omukungu Temani, omukungu Mibuzali;
54 omukungu Magudyeri, omukungu Iramu. Abo be bakungu ba Edomu.