1 Ebyomumirembe

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29

0:00
0:00

Essuula 6

Batabani ba Leevi; Gerusoni, Kokasi, ne Merali.
2 Ne batabani ba Kokasi; AmuIaamu, Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
3 N'abaana ba Amulaamu; Alooni ne Musa ne Miryamu. Ne batabani ba Alooni; Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
4 Eriyazaali n'azaala Finekaasi, Finekaasi n'azaala Abisuwa;
5 Abisuwa n'azaala Bukki, Bukki n'azaala Uzzi;
6 Uzzi n'azaala Zerakiya, Zerakiya n'azaala Merayoosi;
7 Merayoosi n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu;
8 Akitubu n'azaala Zadooki, Zadooki n'azaala Akimaazi;
9 Akimaazi n'azaala Azaliya, Azaliya n'azaala Yokanani;
10 Yokanani n'azaala Azaliya, (oyo ye yakolanga omulimu ogw'obwakabona mu nnyumba Sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi):
11 Azaliya n'azaala Amaliya, Amaliya n'azaala Akitubu;
12 Akitubu n'azaala Zadooki, Zadooki n'azaala Sallumu;
13 Sallumu n'azaala Kirukiya, Kirukiya n'azaala Azaliya;
14 Azaliya n'azaala Seraya, Seraya n'azaala Yekozadaki;
15 Yekozadaki n'atwalibwa nga musibe, Mukama bwe yatwalira ddala Yuda ne Yerusaalemi n'omukono gwa Nebukadduneeza.
16 Batabani ba Leevi; Gerusomu, Kokasi, ne Merali.
17 Era gano ge mannya ga batabani ba Gerusomu; Libuni ne Simeeyi.
18 Ne batabani ba Kokasi ye Amulaamu ne Izukali ne Kebulooni ne Wuziyeeri.
19 Batabani ba Merali; Makuli ne Musi. Era ebyo bye bika by'Abaleevi ng'enda za bajjajjaabwe bwe zaali.
20 Abaava ku Gerusomu; Libuni mutabani we, Yakasi mutabani we, Zimma mutabani we:
21 Yowa mutabani we, Iddo mutabani we, Zeera mutabani we, Yeaserayi mutabani we.
22 Batabani ba Kokasi; Amminadaabu mutabani we, Koola mutabani we, Assiri mutabani we;
23 Erukaana Emutabani we, ne Ebiyasaafu mutabani we, ne Assiri mutabani we;
24 Takasi mutabani we, Uliyeri mutabani we, Uzziya mutabani we, ne Sawuli mutabani we.
25 Ne batabani ba Erukaana; Amasayi, ne Akimosi.
26 N'ebya Erukaana: batabani ba Erukaana; Zofayi mutabani we, ne Nakasi mutabani we;
27 Eriyaabu mutabani we, Yerokamu mutabani we, Erukaana mutabani we.
28 Ne batabani ba Samwiri; omubereberye Yoweeri, n'ow'okubiri Abiya.
29 Batabani ba Merali; Makuli, Libuni mutabani we, Simeeyi mutabani we, Uzza mutabani we;
30 Simeeya mutabani we, Kaggiya mutabani we, Asaya mutabani we.
31 Era Dawudi be yafuula abakulu b'omulimu ogw'okutimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng'emaze okuwummula, be bano.
32 Ne baweereza n'ennyimba mu maaso g'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu okutuusa Sulemaani lwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama mu Yerusaalemi: ne beesibira omulimu gwabwe ng'ebisanja byabwe bwe byali.
33 Era bano be beesibiranga ne batabani baabwe. Ku batabani b'Abakokasi: Kemani omuyimbi, mutabani wa Yoweeri, mutabani wa Samwiri;
34 mutabani wa Erukaana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eriyeri, mutabani wa Toowa;
35 mutabani wa Zufu, mutabani wa Erukaana, mutabani wa Makasi, mutabani wa Amasayi;
36 mutabani wa Erukaana, mutabani wa Yoweeri, mutabani wa Azaliya, mutabani wa Zeffaniya;
37 mutabani wa Takasi, mutabani wa Assiri, mutabani wa Ebiyasaafu, mutabani wa Koola;
38 mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isiraeri.
39 Ne muganda we Asafu, eyayimiriranga ku mukono gwe ogwa ddyo, Asafu mutabani wa Berekiya, mutabani wa Simeeya;
40 mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Baaseya, mutabani wa Malukiya;
41 mutabani wa Esuni, mutabani wa Zeera, mutabani wa Adaaya;
42 mutabani wa Esani, mutabani wa Zimma, mutabani wa Simeeyi;
43 mutabani wa Yakasi, mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Leevi.
44 Ne ku mukono gwabwe ogwa kkono baganda baabwe batabani ba Merali: Esani mutabani wa Kiisi, mutabani wa Abudi, mutabani wa Malluki;
45 mutabani wa Kasukabiya, mutabani wa Amaziya, mutabani wa Kirukiya;
46 mutabani wa Amuzi, mutabani wa Bani, mutabani wa Semeri;
47 mutabani wa Makuli, mutabani wa Musi, mutabani wa Merali, mutabani wa Leevi.
48 Ne baganda baabwe Abaleevi ne bateekerwawo okuweereza kwonna okw'omu weema ey'ennyumba ya Katonda.
49 Naye Alooni ne batabani be, ne baweerangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky'okwoterezangako obubaane, olw'omulimu gwonna ogw'omu kifo ekitukuvu ennyo, n'okutangiriranga Isiraeri, nga byonna bwe biri Musa omuddu wa Katonda bye yalagira.
50 Era bano be batabani ba Alooni; Eriyazaali mutabani we, Finekaasi mutabani we, Abisuwa mutabani we;
51 Bukki mutabani we, Uzzi mutabani we, Zerakiya mutabani we;
52 Merayoosi mutabani we, Amaliya mutabani we, Akitubu mutabani we;
53 Zadooki mutabani we, Akimaazi mutabani we.
54 Era bino bye bifo byabwe eby'okubeeramu, ng'ensiisira zaabwe bwe zaali mu nsalo zaabwe: ne bawa batabani ba Alooni, ab'oku nda z'Abakokasi, kubanga abo akalulu be kaasooka okugwiira,
55 abo ne babawa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde:
56 naye ennimiro ez'oku kibuga n'ebyalo byako, ne babiwa Kalebu mutabani wa Yefune.
57 Ne batabani ba Alooni ne babawa ebibuga eby'okuddukiramu, Kebbulooni; era ne Libuna n'ebyalo byako, ne Yattiri, ne Esutemoa n'ebyalo byako;
58 ne Kireni n'ebyalo byako, Debiri n'ebyalo byako
59 ne Asani n'ebyalo byako, ne Besusemesi n'ebyalo byako;
60 n'ebyaggibwa ku kika kya Benyamini; Geba n'ebyalo byako, ne Allemesi n'ebyalo byako, ne Anasosi n'ebyalo byako. Ebibuga byabwe byonna okubuna enda zaabwe zonna byali ebibuga kkumi na bisatu.
61 Ne batabani ba Kokasi abalala ne baweebwa n'obululu ebibuga kkumi ebyaggibwa ku nda y'ekika, ku kitundu ky'ekika, ekitundu kya Manase.
62 Ne batabani ba Gerusomu ng'enda zaabwe bwe zaali ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu, ebyaggibwa ku kika kya Isakaali ne ku kika kya Aseri ne ku kika kya Nafutaali ne ku kika kya Manase mu Basani.
63 Batabani ba Merali ne baweebwa n'obululu ng'enda zaabwe bwe zaali ebibuga kkumi na bibiri, ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni ne ku kika kya Gaadi ne ku kika kya Zebbulooni.
64 Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi ebibuga n'ebyalo byabyo.
65 Ne bawa n'obululu ebibuga ebyaggibwa ku kika ky'abaana ba Yuda ne ku kika ky'abaana ba Simyoni ne ku kika ky'abaana ba Benyamini, biibino ebyatuddwa amannya gaabyo.
66 Era enda ezimu ez'oku batabani ba Kokasi baalina ebibuga eby'oku nsalo zaabwe ebyaggibwa ku kika kya Efulayimu.
67 Ne babawa ebibuga eby'okuddukiramu, Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'ebyalo byako: ne Gezeri n'ebyalo byako;
68 ne Yokumyamu n'ebyalo byako, ne Besukolooni n'ebyalo byako;
69 ne Ayalooni n'ebyalo byako, ne Gasulimmoni n'ebyalo byako:
70 n'ebyaggibwa ku kitundu ky'ekika kya Manase; Aneri n'ebyalo byako, ne Biryamu n'ebyalo byako, okuba eby'abo abasigaddewo ku nda ya batabani ba Kokasi.
71 Batabani ba Gerusomu ne baweebwa ebyaggibwa ku nda y'ekitundu ky'ekika kya Manase, Golani mu Basani n'ebyalo byako, ne Asutaloosi n'ebyalo byako:
72 n'ebyaggibwa ku kika kya Isakaali; Kedesi n'ebyalo byako, Daberasi n'ebyalo byako,
73 ne Lamosi n'ebyalo byako, ne Anemu n'ebyalo byako:
74 ne ku kika kya Aseri; Masali n'ebyalo byako, ne Abudoni n'ebyalo byako;
75 ne Kukoki n'ebyalo byako, ne Lekobu n'ebyalo byako:
76 ne ku kika kya Nafutaali; Kedesi eky'omu Ggaliraaya n'ebyalo byako, ne Kammoni n'ebyalo byako, ne Kiriyasayimu n'ebyalo byako.
77 N'Abaleevi abasigaddewo, batabani ba Merali, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Zebbulooni, Limmono n'ebyalo byako, Taboli n'ebyalo byako:
78 era emitala wa Yoludaani e Yeriko, ku luuyi lwa Yoludaani olw'ebuvanjuba, ne baweebwa ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni, Bezeri ekiri mu ddungu n'ebyalo byako, ne Yaza n'ebyalo byako,
79 ne Kedemosi n'ebyalo byako, ne Mefaasi n'ebyalo byako:
80 n'ebyaggibwa ku kika kya Gaadi; Lamosi ekiri mu Gireyaadi n'ebyalo byako, ne Makanayimu n'ebyalo byako,
81 ne Kesuboni n'ebyalo byako, ne Yazeri n'ebyalo byako.