1 Ebyomumirembe
Essuula 27
Awo abaana ba Isiraeri ng'omuwendo gwabwe bwe gwali, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe n'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi n'abakulu baabwe abaaweerezanga kabaka mu buli kigambo eky'empalo ezaayingiranga ne zifulumanga buli mwezi okumala emyezi gyonna egy'omwaka, aba buli luwalo baali obukumi bubiri mu enkumi nnya.
2 Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yali omukulu w'oluwalo olw'olubereberye olw'omu mwezi ogw'olubereberye: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
3 Oyo yali wa ku baana ba Pereezi, omukulu w'abaami bonna ab'eggye mu mwezi ogw'olubereberye.
4 Ne Dodayi Omwakowa n'oluwalo lwe ye yali omukulu w'oluwalo olw'omwezi ogw'okubiri; ne Mikuloosi omukungu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
5 Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona omukulu ye yali omwami ow'okusatu ow'eggye ow'omu mwezi ogw'okusatu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
6 Ono ye Benaya oyo eyali omusajja ow'amaanyi ow'oku abo amakumi asatu, era omukulu w'abo amakumi asatu: ne Ammizabaadi mutabani we yali wa ku luwalo lwe.
7 Asakeri muganda wa Yowaabu ye yali omwami ow'okuna ow'omu mwezi ogw'okuna, ne Zebadiya mutabani we oluvannyuma lwe: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
8 Samukusi Omuyizula ye yali omwami ow'okutaano ow'omu mwezi ogw'okutaano: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
9 Ira mutabani wa Ikesi Omutekowa ye yali omwami ow'omukaaga ow'omu mwezi ogw'omukaaga: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
10 Kerezi Omuperoni ow'oku baana ba Efulayimu ye yali omwami ow'omusanvu ow'omu mwezi ogw'omusanvu: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
11 Sibbekayi Omukusasi ow'oku Bazera ye yali omwami ow'omunaana ow'omu mwezi ogw'omunaana: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
12 Abiyezeeri Omwanasosi ow'oku Babenyamini ye yali omwami ow'omwenda ow'omu mwezi ogw'omwenda: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumii bubiri mu enkumi nnya.
13 Makalayi Omunetofa ow'oku Bazera ye yali omwami ow'ekkumi ow'omu mwezi ogw'ekkumi: ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
14 Benaya Omupirasoni ow'oku baana ba Efulayimu ye yali omwami ow'ekkumi n'omu ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu: ne mu luwalo lwe mwalimu' obukumi bubiri mu enkumi nnya.
15 Kerudayi Omunetofa, owa Osunieri, ye yali omwami ow'ekkumi n'ababiri ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri; ne mu luwalo lwe mwalimu obukumi bubiri mu enkumi nnya.
16 Nate abaafuga ebika bya Isiraeri: ku Balewubeeni Eryeza mutabani wa Zikuli afuga: ku Basimyoni Sefatiya mutabani wa Maaka:
17 ku Leevi Kasabiya mutabani wa Kemweri: ku Alooni Zadoki:
18 ku Yuda Eriku, omu ku baganda ba Dawudi: ku Isakaali Omuli mutabani wa Mikayiri;
19 ku Zebbulooni Isumaaya mutabani wa Obadiya: ku Nafutaali Yeremosi mutabani wa Azuliyeeri:
20 ku baana ba Efulayimu Koseya mutabani wa Azaziya: ku kitundu ky'ekika kya Manase Yoweeri mutabani wa Pedaya:
21 ku kitundu ky'ekika kya Manase mu Gireyaadi Iddo mutabani wa Zekkaliya; ku Benyamini Yaasiyeri mutabani wa Abuneeri:
22 ku Ddaani Azaleeri mutabani wa Yerokamu. Abo be baali abaami b'ebika bya Isiraeri.
23 Naye Dawudi n'atabala muwendo gwabo abaakamaze emyaka amakumi abiri n'abatannaba kutuusa egyo, kubanga Mukama yali ayogedde ng'alyongera Isiraeri ng'emmunyeenye ez'omu ggulu,
24 Yowaabu mutabani wa Zeruyiya yatanula okubala, naye n'atamaliriza: obusungu kyebwava bujja ku Isiraeri; so n'omuwendo tegwawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.
25 Era Azumaveesi mutabani wa Adyeri yali mukulu wa mawanika ga kabaka: ne Yonasaani mutabani wa Uzziya yali mukulu wa mawanika ag'oku ttale n'ag'omu bibuga n'ag'omu byalo n'agomu bigo:
26 ne Ezuli mutabani wa Kerubu ye yali omukulu w'abo abaakola emirimu egy'omu nnimiro olw'okulima ettaka:
27 ne Simeeyi Omulaama ye yali omukulu w'ensuku z'emizabbibu: ne Zabudi Omusifumu ye yali omukulu w'ebibala eby'ensuku olw'amasenero ag'omwenge:
28 ne Baalukanani Omugedera ye yali omukulu w'emizeyituuni n'emisukomooli egyali mu nsenyi: ne Yowaasi ye yali omukulu w'amawanika g'amafuta:
29 ne Situlayi Omusaloni ye yali omukulu w'ebisibo ebyalundibwa mu Saloni: ne Safati mutabani wa Adulayi ye yali omukulu w'ebisibo ebyali mu biwonvu:
30 ne Obiri Omuyisimaeri ye yali omukulu w'eŋŋamira: ne Yedeya Omumeronoosi ye yali omukulu w'endogoyi:
31 ne Yazizi Omukaguli ye yali omukulu w'embuzi. Abo bonna be baali abakulu b'ebintu ebya kabaka Dawudi.
32 Ne Yonasaani kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, omusajja omutegeevu era omuwandiisi: ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni yabanga wamu n'abaana ba kabaka:
33 ne Akisoferi ye yateesanga ebigambo bya kabaka: Kusaayi Omwaluki ye yali mukwano gwa kabaka:
34 Yekoyaada mutabani wa Benaya n'addirira Akisoferi, ne Abiyasaali: ne Yowaabu ye yali omwami w'eggye lya kabaka.