1 Ebyomumirembe
Essuula 28
Dawudi n'akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isiraeri, abakungu b'ebika n'abaami b'ebitongole abaaweerezanga kabaka mu mpalo, n'abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi n'abakulu b'ebintu byonna n'obugagga ebya kabaka ne batabani be, wamu n'abaami n'abasajja ab'amaanyi, abasajja bonna ab'amaanyi abazira, e Yerusaalemi.
2 Awo Dawudi kabaka n'ayimirira ku bigere bye n'ayogera nti Mumpulire, baganda bange era abantu bange: nze kyali mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'entebe y'ebigere eya Katonda waffe ennyumba ey'okuwummuliramu; era nali ntegese okuzimba.
3 Naye Katonda n'aŋŋamba nti Tozimbira linnya lyange nnyumba, kubanga ggwe oli musajja wa ntalo, era wayiwa omusaayi.
4 Naye Mukama Katonda wa Isiraeri yannonda ng'anziya mu nnyumba yonna eya kitange okuba kabaka wa Isiraeri emirembe gyonna: kubanga yalonda Yuda okuba omulangira; ne mu nnyumba ya Yuda n'alondamu ennyumba ya kitange; ne mu baana ba kitange n'ansanyukira nze okunfuula kabaka wa Isiraeri yenna:
5 ne ku batabani bange bonna (kubanga Mukama ampadde abaana bangi) n'alondamu Sulemaani mutabani wange okutuula ku ntebe ey'obwakabaka bwa Mukama okufuga Isiraeri.
6 N'aŋŋamba nti Sulemaani mutabani wo ye alizimba ennyumba yange n'empya zange: kubanga namulonda okuba mutabani wange, nange naabanga kitaawe.
7 Era naanywezanga obwakabaka bwe emirembe gyonna, bw'anaanyiikiranga okukola ebiragiro byange n'emisango gyange nga leero.
8 Kale nno mu maaso ga Isiraeri yenna, ekkuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng'awulira, mukwatenga munoonyenga ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda wammwe: mulye ensi eno ennungi mugirekere abaana bammwe okuba obusika emirembe gyonna abanaabangawo oluvannyuma lwammwe.
9 Naawe, Sulemaani, mutabani wange, tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n'omutima ogutuukiridde n'emmeeme esanyuka: kubanga Mukama akebera emitima gyonna, era ategeera okufumiitiriza kwonna okw'ebirowoozo: bw'onoomunoonyanga, anaalabikanga gy'oli; naye bw'onoomuvangako, anaakugobanga emirembe gyonna.
10 Weekuume nno; kubanga Mukama alonze ggwe okuzimba ennyumba ey'ekiggwa: ba n'amaanyi, okikolanga.
11 Awo Dawudi n'awa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky'ekisasi kya yeekaalu n'ennyumba zaako n'amawanika gaako n'enju zaako eza waggulu n'ebisenge byako eby'omunda n'ekifo eky'entebe ey'okusaasira;
12 n'ekyokulabirako ekya byonna bye yalina olw'omwoyo, eby'empya ez'ennyumba ya Mukama n'ebisenge byonna ebyetoolodde n'amawanika g'ennyumba ya Katonda n'amawanika g'ebintu ebiwongebwa:
13 era eby'empalo za bakabona n'Abaleevi n'eby'omulimu gwonna ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama, n'eby'ebintu byonna ebiweereza mu nnyumba ya Mukama:
14 zaabu epimibwa olw'ebintu ebya zaabu, olw'ebintu byonna ebiweereza okuweereza kwonna; ffeeza epimibwa olw'ebintu byonna ebya ffeeza, olw'ebintu byonna ebiweereza okuweereza kwonna:
15 era eby'ettabaaza eza zaabu ebipimibwa, n'eby'ettabaaza zaakyo, zaabu epimibwa ya buli kikondo era ya tabaaza zaakyo: era ya bikondo ebya ffeeza, ffeeza epimibwa ya buli kikondo era ya ttabaaza zaakyo, ng'okuweereza okwa buli kikondo:
16 ne zaabu eyapimibwa ey'emmeeza ez'emigaati egy'okulaga, eya buli mmeeza; ne ffeeza ey'emmeeza ez'effeeza:
17 n'eby'okukwasa ennyama n'ebibya n'ebikompe bya zaabu ennungi: era ya bbakuli za zaabu, zaabu eyapimibwa eya buli bbakuli: era ya bbakuli eza ffeeza, ffeeza eyapimibwa eya buli bbakuli:
18 era ey'ekyoto eky'obubaane, zaabu ennongoofu eyapimibwa; era zaabu ya kyakulabirako eky'eggaali, be bakerubi abayanjala ebiwawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey'endagaano ya Mukama.
19 Ebyo byonna, bwe yayogera Dawudi, nabitegeezebwa mu biwandiike ebiva eri omukono gwa Mukama, gye mirimu gyonna egy'omutindo guno.
20 Dawudi n'agamba Sulemaani mutabani we nti Ba n'amaanyi ogume omwoyo, okikolenga: totyanga so totekemukanga: kubanga Mukama Katonda, Katonda wange, ali naawe: taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama lwe gulituukirira.
21 Era, laba, waliwo empalo za bakabona n'Abaleevi olw'okuweereza kwonna okw'omu nnyumba ya Katonda: era waliba naawe mu mulimu ogw'engeri zonna buli musajja ayagala ku bubwe alina amagezi ag'okuweereza kwonna: era n'abaami n'abantu bonna banaagondereranga ddala okulagira kwo.