Ekyabalamuzi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 9

Abimereki mutabani wa Yerubbaali n'agenda e Sekemu eri baganda ba nnyina n'ayogera nabo n'ab'oluganda bonna ab'ennyumba ya kitaawe wa nnyina nti
2 Mbeegayiridde, mwogerere mu matu g'abasajja bonna ab'e Sekemu nti Ekisinga obulungi gye muli kiruwa batabani ba Yerubbaali bonna, be bantu ensanvu, okubafuganga, nantiki omu okubafuganga? era mujjukire nga nze ndi wa ku magumba gammwe n'omubiri gwammwe.
3 Awo baganda ba nnyina ne bamwogerera ebigambo ebyo byonna mu matu g'abasajja ab'e Sekemu: emitima gyabwe ne gyagala okugoberera Abimereki; kubanga baagamba nti Ye muganda waffe.
4 Ne bamuwa (ebitundu) ebya ffeeza nsanvu bye baggya mu nnyumba ya Baaluberisi. Abimereki n'abiweera abasajja abataliiko kye bagasa abatali banywevu, ne bamugobereranga.
5 N'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula, n'attira baganda be batabani ba Yerubbaali, be bantu ensanvu, ku jjinja limu: naye Yosamu mutabani wa Yerubbaali omuto n'afikkawo; kubanga yeekweka.
6 N'abasajja bonna ab'omu Sekemu ne bakuŋŋaana n'ennyumba yonna eya Mmiiro, ne bagenda ne bafuula Abimereki kabaka, awali omwera oguliraanye empagi eyali mu Sekemu.
7 Awo bwe baakibuulira Yosamu, n'agenda n'ayimirira ku ntikko y'olusozi Gerizimu, n'ayimusa eddoboozi lye, n'ayogerera waggulu, n'abagamba nti Mumpulire, mmwe abasajja ab'omu Sekemu, Katonda alyoke abawulire mmwe.
8 Olwatuuka emiti ne gifuluma okufuka amafuta ku kabaka anaagifuganga; ne gigamba omuzeyituuni nti Tufuge ggwe.
9 Naye omuzeyituuni ne gugigamba nti Nandirese obugimu bwange mwe bayima okussaamu ekitiibwa Katonda n'abantu ku bwange, ne ŋŋenda okuyuuguuma ku miti?
10 Emiti ne gigamba omutiini nti Jjangu ggwe otufuge,
11 Naye omutiini ne gugigamba nti Nandirese obuwoomerevu bwange n'ebibala byange ebirungi, ne ŋŋenda okuyuuguuma ku miti?
12 Emiti ne gigamba omuzabbibu nti Jjangu ggwe otufuge.
13 Omuzabbibu ne gugigamba nti Nandirese omwenge gwange, ogusanyusa Katonda n’abantu, ne ŋŋenda okuyuuguuma ku miti?
14 Awo emiti gyonna ne giryoka gigamba omweramannyo nti Jjangu ggwe otufuge.
15 Omweramannyo ne gugamba emiti nti Oba nga munfukako amafuta okuba kabaka mazima ddala, kale mujje mwesige ekisiikirize kyange: naye oba nga si bwe kiri, omuliro guve mu mweramannyo gumalewo emivule egy'oku Lebanooni.
16 Kale nno, oba nga mwakola eby'amazima n'eby'obutuukirivu, okufuula Abimereki kabaka, era oba nga mwakola bulungi Yerubbaali n'ennyumba ye, ne mumukola ng'emikono gye bwe gyasaanira (okumukola);
17 (kubanga kitange yabalwanirira, n'asingawo obulamu bwe, n'abawonya mu mukono gwa Midiyaani:
18 nammwe mugolokose leero ku nnyumba ya kitange, era mwattira batabani be, abantu nsanvu, ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki, mutabani w'omuzaana we, kabaka w'abasajja ab'omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe;)
19 kale oba nga mumukoze leero eby'amazima n'eby'obutuukirivu Yerubbaali n'ennyumba ye, kale musanyukire Abimereki, era naye abasanyukire mmwe:
20 naye oba nga si bwe kiri, omuliro guve mu Abimereki, gumalewo abasajja ab'omu Sekemu n'ennyumba ya Mmiiro, era omuliro guve mu basajja ab'omu Sekemu ne mu nnyumba ya Mmiiro gumalewo Abimereki.
21 Yosamu n'agenda mbiro n'adduka, n'atuuka e Beseri, n'abeera eyo, olw'okutya Abimereki muganda we.
22 Abimereki n'amala emyaka esatu nga ye mukulu wa Isiraeri.
23 Katonda n’atuma omuzimu omubi okwawukanya Abimereki n'abasajja ab'omu Sekemu; abasajja ab'omu Sekemu ne basalira Abimereki enkwe:
24 ekyejo kye baakolera batabani ba Yerubbaali ensanvu kiryoke kijje, n'omusaayi gwabwe guteekebwe ku Abimereki muganda waabwe, eyabatta, ne ku basajja ab'omu Sekemu, abaawa emikono gye amaanyi okutta baganda be.
25 Abasajja ab'omu Sekemu ne bassaawo abateezi okumuteegeranga ku ntikko z'ensozi, ne banyaga bonna abaayitanga mu kkubo eryo gye baali: ne babuulira Abimereki.
26 Awo Gaali mutabani wa Ebedi n'ajja ne baganda be, n'agenda e Sekemu: abasajja ab'omu Sekemu ne bamwesiga.
27 Ne bafuluma mu nnimiro, ne bafumba embaga, ne bayingira mu nnyumba ya lubaale waabwe, ne balya ne banywa, ne bakolimira Abimereki.
28 Gaali mutabani wa Ebedi n'ayogera nti Abimereki ye ani, ne Sekemu ye ani, ffe okumuweereza? si ye mutabani wa Yerubbaali? ne Zebbuli omumyuka we (ye ani)? muweereze abasajja ba Kamoli kitaawe wa Sekemu: naye ffe kiki ekyandituweerezesezza oyo?
29 Era singa abantu bano baali wansi w'omukono gwange! nandiggyeewo Abimereki. N'agamba Abimereki nti Yongera eggye lyo ofulume.
30 Awo Zebbuli omukulu w'ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, obusungu bwe ne bubuubuuka.
31 N'atuma ababaka eri Abimereki mu kyama, ng'ayogera nti Laba, Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be batuuse mu Sekemu; era, laba, bawaliriza ekibuga okukulwanyisa.
32 Kale nno, golokoka kiro, ggwe n'abantu abali naawe, muteegere mu nnimiro:
33 awo olulituuka mu makya enjuba nga kyejje eveeyo, oligolokoka mu makya n'olumba ekibuga: era, laba, ye n'abantu abali naye bwe balifuluma okulwana naawe, oliyinza okubakola nga bw'oliraba ebbanga.
34 Abimereki n'agolokoka, n'abantu bonna abaali naye, kiro, ne bateega Sekemu nga beeyawuddemu ebisinde bina.
35 Gaali mutabani wa Ebedi n'afuluma, n’ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga: Abimereki n'agolokoka n'abantu abaali naye we baali bateegedde.
36 Awo Gaali bwe yalaba abantu, n’agamba Zebbuli nti Laba, abantu baserengeta nga bava ku ntikko z'ensozi: Zebbuli n'amugamba nti Olaba ekisiikirize ky'ensozi nga kifaanana ng'abantu.
37 Gaali n'ayogera nate n'agamba nti Laba, waliwo abafuluma (mu kkubo eriri) wakati mu nsi, n'ekibiina ekimu kifuluma mu kkubo ery'omwera ogw'abafumu.
38 Awo Zebbuli n'alyoka amugamba nti Akamwa ko kaakano kali ludda wa kubanga wayogera nti Abimereki ye ani, ffe okumuweereza? bano si be bantu be wanyooma? kaakano, nkwegayiridde, fuluma olwane nabo.
39 Gaali n'akulembera abasajja ab'omu Sekemu n'afuluma, n'alwana ne Abimereki.
40 Abimereki n'amugoba, n'adduka mu maaso ge, ne bagwa bangi nga bafumitiddwa, okutuusa mu mulyango gwa wankaaki.
41 Abimereki n'abeera mu Aluma: Zebbuli n'agobamu Gaali ne baganda be, baleme okubeera mu Sekemu.
42 Awo olwatuuka enkya abantu ne bafuluma mu nnimiro; ne babuulira Abimereki.
43 Awo n'atwala abantu n'abaawulamu ebisinde bisatu, n'ateegera mu nnimiro: n'atunula, era, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga; n'abagolokokerako, n'abakuba:
44 Abimereki n'ebisinde ebyali naye ne bafubutuka, ne bayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga: ebisinde ebibiri ne bafubutukira ku bonna abaali mu nnimiro ne babakuba.
45 Abimereki n'azibya obudde ku lunaku olwo ng'alwana n'ekibuga; ekibuga n'akikuba, n'atta abantu abaali omwo: n'amenyamenya ekibuga, n'akisiga omunnyo.
46 Abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bwe baawulira ekyo ne bayingira mu kinnya eky'omu nnyumba ya Eruberisi.
47 Ne babuulira Abimereki ng'abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bakuŋŋaanye.
48 Awo Abimereki n'alinnya ku lusozi Zalumoni, ye n'abantu bonna abaali naye; Abimereki n'addira embazzi mu ngalo ze, n'atema ettabi ku miti, n'alironda, n'aliteeka ku kibegabega kye: n'agamba abantu abaali naye nti Kye mulabye nga nze nkikoze, mwanguwe mukole nga bwe nkoze
49 Abantu bonna nabo bwe batyo ne batema buli muntu ettabi lye, ne bagoberera Abimereki, ne bagassa ku kinnya kiri, ne bookya ekinnya nago; n'okufa ne bafa abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu nabo, abasajja n'abakazi nga lukumi.
50 Awo Abimereki n'agenda e Sebezi, n'asiisira olusiisira ku Sebezi, n'akimenya.
51 Naye mu kibuga mwalimu ekigo eky'amaanyi, omwo mwe baddukira abasajja bonna n'abakazi, ne bonna ab'ekibuga, ne beggalira, ne balinnya ku kasolya k'ekigo.
52 Abimereki n'ajja eri ekigo, n'alwana nakyo, n'asemberera oluggi lw'ekigo okulwokya n'omuliro.
53 N'omukazi omu n'akasuka olubengo ku mutwe gwa Abimereki, n'amwasa omutwe.
54 Awo n'ayanguwa okuyita omulenzi eyatwalanga ebyokulwanyisa bye, n'amugamba nti Sowola ekitala kyo, onzite, abantu balemenga okunjogerako nti Omukazi ye yamutta. Omulenzi we n'amufumita, n'afa.
55 Abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga Abimereki afudde, ne baddayo buli muntu mu kifo kye.
56 Katonda bwe yawalana bw'atyo obubi bwa Abimereki, bwe yakola kitaawe, kubanga yatta baganda be nsanvu:
57 n'obubi bwonna obw'abasajja ab'omu Sekemu Katonda n'abuwalana ku mitwe gyabwe: n'okukolima kwa Yosamu mutabani wa Yerubbaali ne kujja ku bo.