Ekyabalamuzi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 6

Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi: Mukama n'abagabula mu mukono gwa Midiyaani emyaka musanvu.
2 Omukono gwa Midiyaani ne guwangula Isiraeri: era olwa Midiyaani abaana ba Isiraeri kyebaava beekolera obuyu obuli ku nsozi n'empuku n'ebigo.
3 Awo olwatuuka Isiraeri bwe yamalanga okusiga, Abamidiyaani ne bayambukanga n'Abamaleki n'abaana ab'ebuvanjuba, nabo baabayambukirako;
4 ne basiisira ewaabwe, ne bazikiriza ebibala by'ettaka, okutuusa bw'otuuka e Gaaza so tebaaleka kya kulya mu Isiraeri, newakubadde endiga, newakubadde ente, newakubadde endogoyi.
5 Kubanga baayambukira wamu n'ente zaabwe n'eweema zaabwe, baayingiranga ng'enzige okuba abangi; bo era n'eŋŋamira zaabwe tebyabalikika ne bayingira mu nsi okugizikiriza.
6 Isiraeri n'ajeezebwa nnyo olwa Midiyaani; abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama.
7 Awo olwatuuka, abaana ba Isiraeri bwe baakaabira Mukama olwa Midiyaani,
8 Mukama n'atuma,nnabbi eri abaana ba Isiraeri: n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Nabaggya mu Misiri ne mbalinnyisa, era nabaggya mu nnyumba y'obuddu;
9 era nabawonya mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gw'abo bonna abaabajooga, ne mbagoba mu maaso gammwe, ne mbawa ensi yaabwe;
10 ne mbagamba nti Nze ndi Mukama Katonda wammwe; temutyanga bakatonda b'Abamoli, bemutuulira mu nsi yaabwe: naye temuwulidde ddoboozi lyange.
11 Malayika wa Mukama n'ajja, n'atuula wansi w'omwera, ogwali mu Ofula, kye kyali ekya Yowaasi Omwabiezeri: ne mutabani we Gidyoni yali awuula eŋŋaano mu ssogolero agikise Abamidiyaani.
12 Malayika wa Mukama n'amulabikira, n'amugamba nti Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow'amaanyi omuzira.
13 Gidyoni n'amugamba nti Ai mukama wange, oba nga Mukama ali wamu naffe, kale ekitubeesezzaako ebyo byonna kiki? era ebikolwa bye byonna eby'ekitalo biri ludda wa bajjajjaffe bye baatubuulirako, nti Mukama teyatuggya mu Misiri? naye kaakano Mukama atusudde, atugabudde mu mukono gwa Midiyaani.
14 Mukama n'amutunuulira n'ayogera nti Genda n'amaanyi go gano, olokole Isiraeri mu mukono gwa Midiyaani: si nze nkutumye?
15 N'amugamba nti Ai Mukama wange, Isiraeri ndimulokolera ku ki? laba, baganda bange be basinga okuba abaavu mu Manase, nange ndi muto mu nnyumba ya kitange.
16 Mukama n'amugamba nti Mazima ndibeera wamu naawe, era olikuba Abamidiyaani ng'omuntu omu.
17 N'amugamba nti Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, kale ndaga akabonero nga ggwe wuuyo ayogera nange.
18 Tova wano, nkwegayiridde, okutuusa lwe nnajja gy'oli, ne nfulumya ekirabo kyange, ne nkiteeka mu maaso go. N'ayogera nti Naabeera wano okutuusa lw'onookomawo.
19 Gidyoni n'ayingira, n'ateekateeka omwana gw'embuzi, n'emigaati egitazimbulukuswa ne efa ey'obutta: ennyama n'agiteeka mu kibbo, n'amazzi gaayo n'agafuka mu kibya, n'abimuleetera wansi w'omwera, n'abimuwa.
20 Malayika wa Mukama n'amugamba ati Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino, ofuke amazzi g'ennyama. N'akola bw'atyo.
21 Awo malayika wa Mukama n'agolola ekikolo ky'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa; omuliro ne guva mu jjinja ne gulinnya, ne gumalawo ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa; malayika wa Mukama n'ava mu maaso ge.
22 Gidyoni n'alaba nga ye malayika wa Mukama; Gidyoni n’ayogera nti Zinsanze, ai Mukama Katonda, kubanga ndabaganye n'amaaso ne malayika wa Mukama.
23 Mukama n'amugamba nti Emirembe gibe gy'oli; totya: togenda kufa.
24 Gidyoni n'alyoka azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'akiyita Yakuwasalumu: okutuusa leero kikyali mu Ofula eky'Ababiezeri.
25 Awo olwatuuka mu kiro ekyo Mukama n'amugamba nti Ddira ente ya kitaawo, ye nte ey'okubiri ey'akamaze emyaka omusanvu, osuule ekyoto kya Baali kitaawo ky'alina, otemeeteme ne Asera akiri okumpi:
26 ozimbe ekyoto eri Mukama Katonda wo waggulu ku kigo kino, ng'empisa bwe yalagirwa, oddire ente eyo ey'okubiri, oweeyo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuti gwa Asera gw'onootemaatema.
27 Awo Gidyoni n'atwala abasajja kkumi ku baddu be, n'akola nga Mukama bw'amulagidde: awo olwatuuka, kubanga yali atidde ab'ennyumba ya kitaawe n'abasajja ab'omu kibuga, n'atayinza kukola bw'atyo emisana, kyeyava akola ekiro.
28 Abasajja ab'omu kibuga bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, ekyoto kya Baali nga kimenyesemenyese, ne Asera akibadde okumpi ng'atemeddwatemeddwa, n'ente eyo ey'okubiri ng'eweereddwayo ku kyoto ekizimbiddwa.
29 Ne bagambagana nti Ani akoze kino? Awo bwe baabuuza ne bakemereza, ne boogera nti Gidyoni mutabani wa Yowaasi ye akoze kino.
30 Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti Fulumya mutabani wo afe: kubanga amenyeemenye ekyoto kya Baali, era kubanga atemyetemye Asera akibadde okumpi.
31 Yowaasi n'agamba bonna abamuyimiridde mu maaso ge nti Mwagala okuwolereza Baali? oba mwagala okumulokola? ayagala okumuwolereza, bamutte nga (bukyali) bwa nkya: oba nga ye katonda, yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye.
32 Ku luaaku olwo kyeyava amuyita Yerubbbaali, ng'ayogera nti Baali amuwawaabire kubanga amenyeemenye ekyoto kye.
33 Awo Abamidiyaani bonna n'Abamaleki n'abaana ab'ebuvanjuba ne bakuŋŋaana wamu; ne basomoka, ne basiisira mu kiwonvu eky'e Yezureeri:
34 Naye omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Gidyoni; n'afuuwa ekkondeere; Abiezeri n'akuŋŋaana wamu gy'ali.
35 N'atuma ababaka okubuna Manase yenna; era nabo ne bakuŋŋaanira wamu gy'ali: n'atuma ababaka eri Aseri n'eri Zebbulooni n'eri Nafutaali; ne bayambuka okubasisinkana.
36 Gidyoni n'agamba Katonda nti Oba nga olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera,
37 laba, naateeka ebyoya by'endiga mu gguuliro; oba ng'omusulo gunaaba ku byoya byokka, ettaka lyonna nga kkalu, ne ndyoka mmanya ng'olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera.
38 Awo bwe kyali bwe kityo: kubanga n'agolokoka enkya mu makya; n'akamula ebyoya, omusulo n'agumalamu mu byoya, amazzi ne gajjula ekibya.
39 Gidyoni n'agamba Katonda nti Obusungu bwo buleme okumbuubuukirako, era naayogera omulundi guno gwokka: nkwegayiridde, nkeme n'ebyoya omulundi guno gwokka; kaakano ebyoya byokka bibeere bikalu, omusulo gube ku ttaka lyonna.
40 Katonda n'akola bw'atyo ekiro ekyo: kubanga ebyoya byokka bye byali ebikalu, omusulo ne guba ku ttaka lyonna.