Ekyabalamuzi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 19

Awo olwatuuka mu nnaku ezo, nga tewali kabaka mu Isiraeri, ne wabaawo Omuleevi eyatuula emitala w'ensi ya Efulayimu ey'ensozi, eyaggya omuzaana mu Besirekemuyuda n'amuwasa.
2 Omuzaana we n'amusobyako ng'ayenda, n'amunobako n'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Besirekemuyuda, n'amalayo ebbanga lya myezi ena.
3 Bba nagolokoka n'amugoberera okumubuulira eby'ekisa, okumukomyawo, ng'alina omuddu we, n'endogoyi bbiri: n'amuyingiza mu nnyumba ya kitaawe: awo kitaawe w'omuwala bwe yamulaba, n'asanyuka okusisinkana naye.
4 Mukoddomi we, kitaawe w'omuwala, n'amulwisa; n'amalayo naye ennaku ssatu: bwe batyo ne balya ne banywa ne basula eyo.
5 Awo olwatuuka ku lunaku olw'okuna ne bagolokoka enkya mu makya, naye n'agolokoka okugenda: kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti Sanyusa omutima gwo n'akamere mulyoke mugende.
6 Awo ne batuula, ne balya ne banywa; bombi wamu: kitaawe w'omuwala n'agamba omusajja nti Nkwegayiridde, kkiriza osulewo; omutima gwo gusanyuke.
7 Omusajja n'agolokoka okugenda; naye mukoddomi we n'amwegayirira, n'asulayo nate.
8 N'agolokoka enkya mu makya ku lunaku olw'okutaano okugenda; kitaawe w'omuwala n'ayogera nti Sanyusa omutima gwo, nkwegayiridde, mubeere wano, okutuusa obudde lwe bunaawungeera; ne balya bombi.
9 Omusajja bwe yagolokoka okugenda, ye n'omuzaana we n'omuddu we, mukoddomi we kitaawe w'omuwala n'amugamba nti Laba, kaakano obudde bunaatera okuwungeera, mbeegayiridde musule: laba obudde bugenda buziba, beera wano, omutima gwo gusanyuke; enkya mukeere okutambula, oddeyo eka.
10 Naye omusajja n'atakkiriza kusulayo, naye n'agolokoka n'atambula, n'atuuka emitala w'e Yebusi ye Yerusaalemi: era ng'alina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko; era n'omuzaana we ng'ali naye.
11 Bwe baali bali kumpi ne Yebusi, obudde bwali buyitiridde nnyo; omuddu n'agamba mukama we nti Jjangu, nkwegayiridde, tukyame tuyingire mu kibuga kino eky'Abayebusi, tusule omwo.
12 Mukama we n'amugamba nti Tetuukyame kuyingira mu kibuga kya munnaggwanga, atali wa baana ba Isiraeri; naye tunaasomoka okugenda e Gibea.
13 N'agamba omuddu we nti Jjangu tusemberere ekimu ku bibuga ebyo; era tunaasula mu Gibea oba mu Laama.
14 Awo ne batambula ne bagenda; obudde ne bubazibirira nga bali kumpi ne Gibea, ekya Benyamini.
15 Ne bakyamira eyo, okuyingira okusula mu Gibea: n'ayingira n'atuula mu luguudo lw'ekibuga: kubanga tewaali muntu abayingiza mu nnyumba ye okubasuza.
16 Awo, laba, omukadde n'ajja ng'ava mu mirimu gye mu nnimiro akawungeezi; era omusajja oyo yali wa nsi ya Efulayimu ey'ensozi, yali atuula mu Gibea: naye abasajja ab'ekifo baali Babenyamini.
17 N'ayimusa amaaso ge, n'alaba omuyise oli mu luguudo lw'ekibuga; omukadde n'ayogera nti Ogenda wa? era ova wa?
18 N'amugamba nti Tuva mu Besirekemuyuda nga tugenda emitala w'ensi ya Efulayimu ey'ensozi; gye nnava ne ŋŋenda e Besirekemuyuda: ne kaakano ŋŋenda mu nnyumba ya Mukama; so tewali muntu annyingiza mu nnyumba ye.
19 Naye waliwo ebisasiro era n'ebyokulya eby'endogoyi zaffe; era waliwo emmere yange n'omwenge n'eby’omuzaana wo, n'eby'omuvubuka ali awamu n'abaddu bo: tetuliiko kye twetaaga.
20 Omukadde n'ayogera nti Emirembe gibe gy'oli; naye byonna bye weetaaga bibeere ku nze: kyokka temusula mu luguudo.
21 Awo n'amuyingiza mu nnyumba ye, n'endogoyi n’aziwa ebyokulya: ne banaaba ebigere byabwe, ne balya ne banywa.
22 Awo bwe baali nga beesanyusa emitima, laba, abasajja ab'omu kibuga, abaana ba Beriali, ne bazingiza ennyumba enjuyi zonna, nga bakoona ku luggi; ne boogera ne nannyini nnyumba, omukadde oli, nga bagamba nti Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo tulyoke tumumanye.
23 Omusajja, nannyini nnyumba, n'abafulumira n'abagamba nti Nedda, baganda bange, mbeegayirira, temukola bubi obwenkanidde wano; kubanga omusajja ono ayingidde mu nnyumba yange, temukola kya busirusiru kino.
24 Laba, muwala wange wuuno, atamanyanga musajja, n'omuzaana we; abo be nnaafulumya kaakano, nammwe mubatoowaze, mubakole nga bwe munaalaba nga kirungi: naye omusajja ono temumukola kya busirusiru kyonna ekiriŋŋanga ekyo:
25 Naye abasajja ne bagaana okumuwulira: awo omusajja n'akwata omuzaana we; n'amufulumya gye bali; ne bamumanya, ne bamwonoona okukeesa obudde: awo emmambya bwe yasala, ne bamuta.
26 Awo omukazi n'ajja obudde nga bukya, n'agwa ku luggi lw'ennyumba ey'omusajja omwali mukama we okutuusa obudde bwe bwakya.
27 Awo mukama we n'agolokoka enkya, n'aggulawo enzigi z'ennyumba, n'afuluma okwegendera: era, laba, omukazi omuzaana we yali agudde ku luggi lw'ennyumba, engalo ze nga ziri ku mulyango.
28 N'amugamba nti Golokoka tugende; naye nga tewali addamu: n'alyoka amutwalira ku ndogoyi; omusajja n'agolokoka n'agenda mu kifo kye.
29 Awo bwe yatuuka mu nnyumba ye, n'addira akambe, n'akwata omuzaana we, n'amusalamu, ng'amagumba ge bwe gali, ebitundu kkumi na bibiri, n'anmuweereza okubunya ensalo zonna eza Isiraeri:
30 Awo olwatuuka bonna abaalaba ekyo ne boogera nti Ekikolwa ekiriŋŋanga kino tekikolebwanga so tekirabwanga okuva ku lunaku abaana ba Isiraeri lwe baayambukirako okuva mu nsi y'e Misiri okutuusa leero: mukirowooze, mukiteese, mwogere: