Ekyabalamuzi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 20

Awo abaana ba Isiraeri bonna ne balyoka bafuluma, ekibiina ne kikuŋŋaana ng'omuntu omu, okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba, wamu n'ensi y'e Gireyaadi, eri Mukama e Mizupa.
2 Abakungu b'abantu bonna, ab'ebika byonna ebya Isiraeri, ne beeraga mu kkuŋŋaaniro ly'abantu ba Katonda, abasajja abatambula n'ebigere abaasowolanga ebitala obusiriivu buna.
3 (Era abaana ba Benyamini baali bawulidde ng'abaana ba Isiraeri bayambuse e Mizupa.) Abaana ba Isiraeri ne boogera nti Tubuulire, obubi buno bwakolebwa butya?
4 Awo Omuleevi bba w'omukazi gwe batta, n'addamu n’ayogera nti Natuuka e Gibea, ekya Benyamini, nze n'omuzaana wange, okusulayo.
5 Abasajja ab'e Gibea ne bangolokokerako, ne bazingiza ennyumba enjuyi zonna mwe nnali ekiro; nze baali baagala okunzita, n'omuzaana wange baamukwata, era yafa.
6 Ne ntwala omuzaana wange, ne mmusalaasala ebitundu, ne mmuweereza okubunya ensi yonna ey'obusika bwa Isiraeri: kubanga baakola eky'obukaba era eky'obusirusiru mu Isiraeri.
7 Mulabe, mmwe abaana ba Isiraeri, mwenna, muleete amagezi gammwe muteese.
8 Abantu bonna ne bagolokoka ng'omuntu omu nga boogera nu Tewali muntu mu ffe aligenda mu weema ye, so tewali mu ffe alikyama okuyingira mu nnyumba ye.
9 Naye kaakano ekigambo kye tulikola e Gibea kye kino; tulyambuka okulwana nakyo nga tukubye akalulu;
10 era tuliggya abasajja kkumi ku buli kyasa okubunya ebika byonna ebya Isiraeri, era kikumi ku buli lukumi, era lukumi ku buli kakumi, okusakira abantu emmere, bwe balituuka e Gibea ekya Benyamini balyoke bakole ng'obusirusiru bwonna bwe buli bwe baakolera mu Isiraeri.
11 Awo, abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira ku kibuga, nga beegaasse ng'omuntu omu.
12 Awo ebika bya Isiraeri ne batuma abantu okubunya ekika kyonna ekya Benyamini nga boogera nti Bubi ki obwo obwakolebwa mu mmwe?
13 Kale kaakano muweeyo abasajja, abaana aba Beriali; abaali mu Gibea; tulyoke tubatte, tuggyemu obubi mu Isiraeri. Naye Benyamini n'agaana okuwulira eddoboozi lya baganda baabwe abaana ba Isiraeri.
14 Awo abaana ba Benyamini ne bava mu bibuga ne bakuŋŋanira e Gibea, okugenda okutabaala abaana ba Isiraeri.
15 Abaana ba Benyamini ne bababala ku lunaku olwo abaava mu bibuga abassajja abaasowolanga ebitala obukumi bubiri mu kakaaga, obutassaako abo abaatuula mu Gibea be baabala abasajja abalonde lusanvu.
16 Mu bantu bano bonna mwalimu abasajja abalonde aba kkono lusanvu; buli omu yayinza okuvuumuulira amayinja oluviiri, n’atasubwa:
17 Abasajja ba Isiraeri, obutassaako Benyamini, baababala abasajja abaasowolanga ebitala obusiriivu buna: abo bonna nga bazira.
18 Abaana ba Isiraeri ne bagolokoka, ne bayambuka e Beseri, ne babuuza Katonda abalagule; ne bagamba nti Ani alisooka okutwambukira okulwana: n'abaana ba Benyamini? Mukama n'ayogera nti Yuda ye alisooka.
19 Abaana ba Isiraeri ne bagolokoka enkya, ne basiisira ku Gibea.
20 Abasajja ba Isiraeri ne bafuluma okulwana ne Benyamini; abasajja ba Isiraeri ne basimba ennyiriri okulwanira nabo e Gibea.
21 Awo abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne bamegga wansi ne bazikiriza ku lunaku olwo abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri ku Baisiraeri.
22 Awo abantu, abasajja ba Isiraeri, ne beegumya emyoyo, ne basimba ennyiriri nate mu kifo mwe baali bazisimbidde ku lunaku olw'olubereberye:
23 (Era abaana ba Isiraeri ne balinnya ne bakaabira amaziga mu maaso ga Mukama okutuusa akawungeezi; ne babuuza Mukama nga boogera nti Naasembera nate okulwana n'abaana ba Benyamini muganda wange? Mukama n'ayogera nti Yambuka okulwana naye.)
24 Awo abaana ba Isiraeri ne basembera okulwana n'abaana ba Benyamini ku lunaku olw'okubiri.
25 Benyamini n'ava mu Gibea ku lunaku olw'okubiri okulwana nabo, ne bamegga wansi ne bazikiriza nate abasajja kakumi mu kanaana ku Isiraeri; abo bonna baasowolanga ebitala.
26 Awo abaana ba Isiraeri bonna n'abantu bonna ne balyoka balinnya ne batuuka e Beseri, ne bakaaba amaziga, ne batuula eyo mu maaso ga Mukama, ne basiiba ku lunaku olwo okutuusa akawungeezi; ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama:
27 Abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama, (kubanga ssanduuko ey'endagaano ya Katonda yaliyo mu nnaku ezo,
28 ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni yayimiriranga mu maaso gaayo mu nnaku ezo) nga boogera nti Naafuluma nate omulundi ogw'okusatu okulwana n'abaana ba Benyamini muganda wange nantiki naalekera awo? Mukama n'ayogera nti Yambuka, kubanga enkya naamugabula mu mukono gwo.
29 Awo Isiraeri n'assaawo abateezi okuteega Gibea enjuyi zonna.
30 Awo abaana ba Isiraeri ne bambuka okulwana n'abaana ba Benyamini ku lunaku olw'okusatu, ne basimba ennyiriri zaabwe nga boolekera Gibea ng'olulala.
31 Abaana ba Benyamini ne bafuluma okulwana n'abantu, ne basendebwasendebwa okuva ku kibuga; ne batanula okukuba n'okutta ku bantu ng'olulala, mu nguudo, olumu lwe lwambuka e Beseri, n'olulala e Gibea, ne mu nnimiro, abasajja ba Isiraeri ng'asatu.
32 Abaana ba Benyamini ne boogera nti Bameggeddwa mu maaso gaffe ng'olubereberye. Naye abaana ba Isiraeri ne boogera nti Tudduke, tubasendesende okuva ku kibuga bagende mu nguudo.
33 Abasajja ba Isiraeri bonna ne bagolokoka ne bava mu kifo kyabwe, ne basimba ennyiriri zaabwe mu Baalutamali: n'abateezi ba Isiraeri ne bafubutuka okuva mu kifo kyabwe, okuva mu Maalegeba.
34 Ne wayita okulwana ne Gibea abasajja abaalondebwa mu Isiraeri yenna, kakumi, ne balwana nnyo: naye baali tebamanyi ng'akabi kabali kumpi.
35 Mukama n'akuba Benyamini mu maaso ga Isiraeri: abaana ba Isiraeri ku lunaku olwo ne bazikiriza ku Benyamini abasajja obukumi bubiri mu enkumi ttaano mu kikumi: abo bonna baasowolanga ebitala.
36 Awo abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa: kubanga abasajja ba Isiraeri baasegulira Benyamini, kubanga baali beesize abateezi be baali bateezezza e Gibea.
37 Awo abateezi ne banguwa ne bafubutuka ku Gibea; abateezi ne basembera enjuyi zonna, ne batta ekibuga kyonna n'obwogi bw'ekitala.
38 Era akabonero abasajja ba Isiraeri n'abateezi ke baali balagaanye ke kano, bo akunyoosa ekire ekinene eky'omukka okuva mu kibuga.
39 Abasajja ba Isiraeri ne bakyuka mu lutalo, ne Benyamini n'atanula okukuba n'okutta ku basajja ba Isiraeri abasajja ng'asatu: kubanga baayogera nti Mazima bameggeddwa mu maaso gaffe nga mu lutabaalo olw'olubereberye.
40 Naye ekire bwe kyasooka okunyooka okuva mu kibuga ng'empagi y'omukka, Ababenyamini ne batunula ennyuma, era, laba, ekibuga kyonna nga kinyooka akutuusa mu ggulu.
41 Awo abasajja ba Isiraeri ne bakyuka, abasajja ba Benyamini ne bawuniikirira: kubanga baalaba ng'akabi kabatuuseeko.
42 Awo ne bakuba amabega mu maaso g'abasajja ba Isiraeri okugenda mu kkubo eridda mu ddungu; naye olutalo ne lubagoberera kumpi; nabo abaava mu bibuga ne babazikiriza wakati mu byo.
43 Ne bazingiza Ababenyamini enjuyi zonna, ne babayigganya, ne babalinnyirira mu bisulo byabwe, okutuusa emitala w'e Gibea ku luuyi lw'ebuvanjuba.
44 Ne wagwa ku Benyamini abasajja kakumi mu kanaana; abo bonna basajja bazira.
45 Ne bakyuka ne badduka mu kkubo ly'eddungu okutuuka ku jjinja lya Limoni: ne bafuuza abaali badduse mu nguudo abasajja enkumi ttaano; ne babayigganya okutuuka e Gidomu, ne babattako abasajja enkumi bbiri.
46 Bwe batyo bonna abaagwa ku lunaku olwo ku Benyamini baali abasajja obukumi bubiri mu enkumi ttaano abaasowolanga ebitala; abo bonna basajja bazira:
47 Naye abasajja lukaaga ne bakyuka ne baddukira mu kkubo ly'eddungu ne batuuka ku jjinja lya Limoni, ne babeera mu jjinja lya Limoni okumalayo emyezi ena.
48 Abasajja ba Isiraeri ne bakyuka nate okulwana n'abaana ba Benyamini, ne babatta n'obwogi bw'ekitala, ekibuga kyonna era n'ente ne byonna bye baasanga: era n'ebibuga byonna bye baasanga ne babyokya.