Ekyabalamuzi
Essuula 15
Naye olwatuuka ebbanga bwe lyayitawo, nga bakungula eŋŋaano, Samusooni n'akyalira mukazi we ng'alina omwana gw'embuzi; n'ayogera nti Naayingira eri mukazi wange mu nju. Naye kitaawe n'atamuganya kuyingira.
2 Kitaawe n'agamba nti Mazima mbadde ndowooza nga wamukyayira ddala; kyennava muwa munno: muganda we omuto tamusinga bulungi? nkwegayiridde, mutwale mu kifo kye.
3 Samusooni n'abagamba nti Omulundi guno ndiba nga siriiko musango eri Abafirisuuti, bwe ndibakolera akabi.
4 Samusooni n'agenda n'akwata ebibe ebikumi bisatu, n'addira ebitawuliro, n'abikwataganya emikira, n'ateeka ekitawuliro wakati w'emikira kinneebirye.
5 Awo bwe yamala okukoleeza ebitawuliro, n'abita okugenda mu ŋŋaano eri mu nnimiro ey'Abafirisuuti, n'ayokya ebinywa era n'eŋŋaano eri mu nnimiro, era n'ensuku z'emizeyituuni.
6 Awo Abafirisuuti ne balyoka boogera nti Akoze bw'atyo ye ani? Ne boogera nti Samusooni mukoddomi w'Omutimuna, kubanga yatwala mukazi we n'amuwa munne. Abafirisuuti ne bayambuka, ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro.
7 Samusooni n'abagamba nti Bwe mukola bwe mutyo, sirirema kubawalanako ggwanga, ne ndyoka ndekera awo.
8 N'abattira ddala nnyo nnyini bangi nnyo: n'aserengeta n'atuula mu lwatika olw'omu jjinja lya Etamu.
9 Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne basiisira mu Yuda, ne bayanjaala mu Leki.
10 Abasajja ba Yuda ne boogera nti Kiki ekibayambusizza okulwana naffe? Ne boogera nti Twambuse okusiba Samusooni, okumukola nga bwe yatukola ffe.
11 Awo abasajja enkumi ssatu aba Yuda ne balyoka baserengeta eri olwatika olw'omujjinja lya Etamu, ne bagamba Samusooni nti Tomanyi nga Abafirisuuti batufuga? kale kino kiki kye watukola? N'abagamba nti Bo nga bwe bankola, nange bwe nnabakola.
12 Ne bamugamba nti Tuserengese okukusiba, tukugabule mu mukono gw'Abafirisuuti. Samusooni n'abagamba nti Mundayirire obutangwako mmwe bennyini.
13 Ne boogera naye nga bagamba nti Nedda; naye tunaakusibira ddala, ne tukugabula mu mukono gwabwe: naye mazima tetuukutte. Ne bamusibya emigwa ebiri emiggya, ne bamulinnyisa okuva mu jjinja.
14 Bwe yatuuka e Leki, Abafirisuuti ne boogerera waggulu bwe baasisinkana naye: omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'emigwa egyali ku mikono gye ne gifuuka ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro, ebyali bimusibye ne biva ku mikono gye.
15 N'alaba oluba lw'endogoyi olubisi, n'agolola omukono gwe, n'aluddira, n'alussa abasajja lukumi.
16 Samusooni n’ayogera nti Oluba lw'endogoyi, entuumo n'entuumo, Oluba lw'endogoyi lwe nzisizza abasajja olukumi.
17 Awo olwatuuka bwe yamala okwogera n'asuula oluba okuva mu ngalo ze; ekifo ekyo ne kiyitibwa Lamasuleki:
18 Ennyonta n'emuluma nnyo, n'akaabira Mukama, n’ayogera nti Otuwadde okulokoka kuno okunene n'omukono gw'omuddu wo: ne kaakano ennyonta enenzita, ne ngwa mu mukono gw'abatali bakomole.
19 Naye Katonda n'ayasa ekinnya ekiri mu Leki, amazzi ne gavaamu; awo bwe yamala okunywa, omwoyo gwe ne gumuddamu, n'alamuka: kyerwava lutuumibwa erinnya Enkakkole, oluli mu Leki, okutuusa leero.
20 N'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu nnaku z'Abafiiisuuti.