Ekyabalamuzi
Essuula 5
Debola ne Balaki mutabani wa Abinoamu ne balyoka bayimba ku lunaku olwo nti
2 Kubanga abakulembeze baakulembera mu Isiraeri, Kubanga abantu beegabula bokka nga baagala, Mumwebaze Mukama:
3 Muwulire, mmwe bakabaka; mutege amatu, mmwe abalangira; Nze, nze, naayimbira Mukama; Naayimba okutendereza Mukama, Katonda wa Isiraeri.
4 Mukama, bwe wafuluma mu Seyiri, Bwe wava mu nnimiro ya Edomu okutabaala: Ensi n'ekankana, era n'eggulu ne litonnya, Weewaawo, ebire ne bitonnya amazzi.
5 Ensozi ne zikulukutira mu maaso ga Mukama, Weewaawo, era ne Sinaayi oli mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isiraeri.
6 Mu mirembe gya Samugali mutabani wa Anasi, Mu mirembe gya Yayeeri, enguudo tezaalimu bantu, Abatambuze ne batambuliranga mu mpenda:
7 Abafuga baggwaawo mu Isiraeri, baggwaawo, Okutuusa nze Debola lwe nnabaawo. Lwe nnabaawo nze omukadde mu Isiraeri.
8 Baalonda bakatonda abaggya; Entalo ne ziryoka zibeera mu miryango: Waalabika engabo oba kitala; Mu basajja bukumi buna mu Isiraeri?
9 Omutima gwange gubalowooza abafuga Isiraeri, Abeegabula bokka mu bantu nga baagala: Mumwebaze Mukama.
10 Mukyogereko, mmwe abeebagala ku ndogoyi enjeru, Mmwe abatuula ku mikeeka emidalize, Nammwe abatambula mu kkubo.
11 Eddoboozi ly'abo abalasa obusaale nga libali wala, mu bifo mwe basenera amazzi, Eyo gye balyatulira ebikolwa bya Mukama eby'obutuukirivu, Ebikolwa bye eby'obutuukirivu ng'afugira mu Isiraeri. Abantu ba Mukama ne balyoka baserengeta ne bagenda ku miryango.
12 Zuukuka, zuukuka, Debola; Zuukuka, zuukuka, yatula oluyimba: Golokoka, Balaki, oyise obusibe bwo nga busibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu.
13 Ne balyoka baserengeta ekitundu ky'abakungu n'eky'abantu ekyafikkawo; Mukama yanserengetera okulwana n'ab'amaanyi.
14 Mu Efulayimu ne muva abo abalina ekikolo kyabwe mu Amaleki; Nga bakugoberera ggwe, Benyamini, mu bika byo; Mu Makiri (ne muva) abafuga ne baserengeta, Ne mu Zebbulooni abo abakwata omuggo gw'oyo asimba ennyiriri.
15 N'abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola; Nga Isakaali bwe yali, ne Balaki bwe yali bw'atyo; Baafubutuka mu kiwonvu (nga balinnya) mu bigere bye. Awali enzizi za Lewubeeni Waabaawo okuteesa kw'emitima okukulu.
16 Kiki ekyakutuuza mu bisibo byo eby'endiga, Okuwulira endere ze bafuuyira ebisibo? Awali enzizi za Lewubeeni Waabaawo okuteesa kw'emitima okukulu.
17 Gireyaadi yabeera emitala wa Yoludaani: Ne Ddaani ekyamusigaza mu byombo kiki? Aseri n'atuula ng'asirika ku mwalo gw'ennyanja, N'abeera awali ebikono bye.
18 Zebbulooni be bantu abaagabula obulamu bwabwe okutuusa okufa, Ne Nafutaali, mu bifo ebigulumivu eby'olutalo.
19 Bakabaka bajja ne balwana; Awo nga lwe baalwana bakabaka ba Kanani, Mu Taanaki ku mazzi ga Megiddo: Tebaagoba magoba ga bintu.
20 Ab'omu ggulu baalwana, Emmunyeenye mu ŋŋendo zaazo zaalwana ne Sisera.
21 Omugga Kisoni gwabatwalira ddala, Omugga ogwo ogw'edda, omugga Kisoni. Ggwe obulamu bwange, tambula n'amaanyi:
22 Ebinuulo by'embalaasi ne biryoka bisambirira Olw'okubuuka, olw'okubuuka kw'ensolo zaabwe ez'amaanyi.
23 Mukolimire Merozi, bw'ayogera malayika wa Mukama, Mukolimire nnyo abaatuula omwo; Kubanga tebadduukirira Mukama, Tebadduukirira Mukama awali ab'amaanyi.
24 Aliba n'omukisa Yayeeri okusinga abakazi, Mukazi wa Keberi Omukeeni: Aliba n'omukisa okusinga abakazi mu weema:
25 Yasaba amazzi, n'amuwa amata; N'amuleetera omuzigo mu kibya eky’ekikungu.
26 Yakwasa omukono enkondo, Yakwasa omukono gwe ogwa ddyo ennyondo ey'omukozi; N'akubya Sisera ennyondo, yakomerera omutwe, Weewaawo, yamufumita ekyenyi n’amuyisaamu.
27 Ku bigere bye n'akutama n’agwa n'agalamira: Ku bigere bye n'akutama n'agwa: We yakutamira we yagwira ddala ng'afudde.
28 Mu ddirisa yatunuulira n'ayogerera waggulu, Nnyina Sisera yayogerera waggulu mu ddirisa Nti Ekirwisizza eggaali lye okujja kiki? Ebisinde by'eggaali lye ekibirabiriza kiki?
29 Abakyala be ab'amagezi ne bamuddamu, Weewaawo, ne yeddamu yekka nti
30 Tebalabye munyago, tebagugerese? Buli musajja omuwala, abawala babiri; Sisera omunyago ogw'amabala amangi, Omunyago ogw'amabala amangi amadalize, Amabala amangi amadalize eruuyi n'eruuyi, ku nsingo z'omunyago?
31 Bwe batyo bazikirirenga abalabe bo bonna, ai Mukama: Naye abo bonna abamwagala babe ng'enjuba bw'evaayo mu maanyi gaayo. Ensi n'ewummulira emyaka amakumi ana.