Ekyabalamuzi
Essuula 13
Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi; Mukama n'abagabulira mu mukono gw'Abafirisuuti emyaka ana.
2 Era waaliwo omusajja ow’e Zola, ow’ekika ky’Abadaani, erinnya lye Manowa: ne mukazi we yali mugumba nga tazaala.
3 Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi n'amugamba nti Laba nno, oli mugumba so tozaala: naye oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi.
4 Kale nno weekuume nkwegayiridde, oleme okunywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza so tolyanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu:
5 kubanga, laba, oliba olubuto, era olizaala; omwana wa bulenzi; so akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto: era ye alitanula okulokola Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.
6 Awo omukazi n'alyoka ajja n'abuulira bba, ng'ayogera nti Omusajja wa Katonda azze gye ndi, n'amaaso ge gabadde ng'amaaso ga malayika oyo owa Katonda, ag'entiisa ennyingi; so simubuuzizza gy'avudde, so n'atambuulira linnya lye:
7 naye n'aŋŋamba nti Laba, oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; ne kaakano tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu ekitali kirongoofu: kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto okutuusa ku lunaku olw'okufa kwe.
8 Awo Manowa n'alyoka yeegayirira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma ajje gye tuli olw'okubiri, atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.
9 Katonda n'awulira eddoboozi lya Manowa; malayika wa Katonda n'ajjira omukazi olw'okubiri bwe yali atudde mu nnimiro: naye Manowa bba teyali naye.
10 Omukazi n'ayanguwa n'adduka n'abuulira bba n'amugamba nti Laba, omusajja andabikidde eyanjijira olulala.
11 Manowa n'agolokoka n'agoberera mukazi we, n'ajja eri omusajja n'amugamba nti Ggwe oli omusajja eyayogera n'omukazi? N'agamba nti Nze wuuno.
12 Manowa n'agamba nti Kale nno ebigambo byo bituukirire; omwana alifaanana atya, n'omulimu gwe (guliba ki)?
13 Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti Byonna bye nnabuulira omukazi abyekuumenga.
14 Talyanga ku kintu ekiva ku muzabbibu, so tanywanga mwenge newakubadde ekitamiiza so talyanga kintu kyonna ekitali kirongoofu; byonna bye nnamulagira abikwatenga.
15 Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti Nkwegayirira, tukulwiseewo, tukuteekereteekere omwana gw'embuzi.
16 Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti Newakubadde ng'onondwisaawo sijja kulya ku mmere yo: era bw'oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, kikugwanira okukiwa Mukama. Kubanga Manowa yali tamanyi nga Ye malayika wa Mukama.
17 Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti Erinnya lyo ggwe ani, ebigambo byo bwe birituukirira tulyoke tukuwe ekitiibwa?
18 Malayika wa Mukama n'amugamba nti Obuuliza ki erinnya lyange, kubanga lya kitalo?
19 Awo Manowa n'addira omwana gw'embuzi wamu n'ekiweebwayo eky'obutta, n'akiweerayo ku jjinja eri Mukama; ne (malayika) n'akola eby'ekitalo, Manowa ne mukazi we nga bamutunuulira.
20 Kubanga olwatuuka omuliro bwe gwava ku kyoto ne gulinnya mu ggulu, malayika wa Mukama n'ayambukira mu muliro ogw'oku kyoto: Manowa ne mukazi we nga bamutunuulira ne bavunnama amaso gaabwe.
21 Naye malayika wa Mukama n'atalabikira nate Manowa newakubadde mukazi we. Awo Manowa n'alyoka amanya nga Ye malayika wa Mukama.
22 Manowa n'agamba mukazi we nti Tetuuleme kufa, kubanga tulabye Katonda.
23 Naye mukazi we n'amugamba nti Oba nga Mukama abadde ayagala okututta, teyandikkirizza ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta eri omukono gwaffe, so teyanditulaze bigambo ebyo byonna, so teyanditubuulidde mu biro bino ebigambo ebiri bwe bityo.
24 Omukazi n’azaala omwana wa bulenzi, n’amutuuma erinnya Samusooni: omwana n'akula, Mukama n'amuwa omukisa.
25 Omwoyo gwa Mukama ne gusooka okumusindika mu Makanedani, wakati w’e Zola ne Esutaoli.