Ekyabalamuzi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 8

Abasajja ba Efulayimu ne bamugamba nti Kiki ekikukozezza ffe bw'otyo, obutatuyita bwe wagenda okulwana ne Midiyaani? Ne bayomba nnyo naye.
2 N'abagamba nti Nze kye nkoze kaakano kiki okukyenkanyankanya nammwe? Ezabbibu Efulayimu z'akungudde ng'addamu tezisinga ezo obungi Abiyezeeri z'akungudde?
3 Katonda agabudde mu mukono gwammwe abalangira ba Midiyaani, Olebu ne Zeebu: era nze nandiyinzizza kukola ki okukyenkanyankaaya nammwe? Awo obusungu bwabwe ne bulyoka bukkakkana gy'ali, bwe yamala okwogera bw'atyo.
4 Gidyoni n'atuuka ku Yoludaani, n'asomoka, ye n'abasajja ebikumi bisatu abaali naye, nga bakooye, naye nga bakyagoberera.
5 N'agamba abasajja ab'omu Sukkosi nti Mbeegayiridde, bawe emigaati abantu abangoberera; kubanga bakooye, era ngoberera Zeba ne Zalumunna, bakabaka ba Midiyaani.
6 Abalangira b'e Sukkosi ne boogera nti Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, ffe okuwa eggye lyo emigaati?
7 Gidyoni n’ayogera nti Kale Mukama bw'alimala okugabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ne ndyoka nsika omubiri gwammwe n'amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo.
8 N'avaayo n'ayambuka e Penueri, n'abagamba bw'atyo:abasajja ab'omu Penueri ne bamuddamu ng'abasajja ab'omu Sukkosi bwe baddamu.
9 N'agamba abasajja ab'omu Penueri nabo nti Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyamenya ekigo kino.
10 Era Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli, n'eggye lyabwe awamu nabo, abasajja nga kakumi mu enkumi ttaano, bonna abaafikkawo ku ggye lyonna ery'abaana b'ebuvanjuba: kubanga abasajja abaasowolanga ebitala baali bafudde kasiriivu mu obukumi bubiri.
11 Gidyoni n'ayambukira mu kkubo lyabo abatuula mu weema ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Noba n'e Yogubeka, n'akuba eggye: kubanga eggye lyali terimanyiridde.
12 Zeba ne Zalumunna ne badduka; n'abagoberera; n'akwata bakabaka ba Midiyaani bombi, Zeba ne Zalumunna, n'atiisa eggye lyonna.
13 Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'akomawo mu ntalo awayambukirwa mu Keresi.
14 N'akwata omuvubuka ku basajja ab'omu Sukkosi, n'amubuuliriza: n'amutegeeza abalangira b'e Sukkosi bwe baafaanana n'abakadde baayo, abasajja nsanvu mu musanvu.
15 N'ajja eri abasajja ab'omu Sukkosi, n'ayogera nti Mulabe Zeba ne Zalumunna, kwe mwayima okunduulira nga mwogera nti Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, ffe okubawa emigaati abasajja bo abakooye?
16 N'atwala abakadde ab'ekibuga, n'addira amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo, n'ayigiriza nabyo abasajja ab'omu Sukkosi.
17 N'amenyamenya ekigo eky'e Penueri, n'atta abasajja ab'omu kibuga.
18 Awo n'alyoka agamba Zeba ne Zalumunna nti Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya? Ne baddamu nti Ggwe nga bw'oli nabo bwe baali; buli omu yafaanana abaana ba kabaka.
19 N'ayogera nti Baali baganda bange, abaana ba mmange: nga Mukama bw'ali omulamu, singa mwabawonya okufa, sandibasse mmwe.
20 N'agamba Yeseri omubereberye we nti Golokoka obatte. Naye omuvubuka oyo n'atasowola kitala kye: kubanga yatya, kubanga yali akyali muvubuka.
21 Zeba ne Zalumunna ne balyoka boogera nti Golokoka ggwe otugweko: kubanga omusajja nga bw'ali, n'amaanyi ge bwe gali bwe gatyo Gidyoni n'agolokoka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala emyezi egyali ku nsingo z'eŋŋamira zaabwe.
22 Abasajja ba Isiraeri ne balyoka bagamba Gidyoni nti Tufuge ggwe ne mutabani wo era n'omwana wa mutabani wo: kubanga otulokodde mu mukono gwa Midiyaani.
23 Gidyoni n'abagamba nti Nze sigenda kubafuga, so ne mutabani wange tagenda kubafuga: Mukama y'anaabafuganga.
24 Gidyoni n'abagamba nti Mbadde njagala okubasaba, mumpe buli muntu empeta ez'omu matu ze yanyaga. (Kubanga baali balina empeta ez'omu matu eza zaabu, kubanga Baisimaeri.)
25 Ne baddamu nti Tunaaziwa, si lwa mpaka. Ne baaliirawo ekyambalo, ne basuulako buli muntu empeta ez'omu matu ze yanyaga.
26 N'obuzito bw'empeta ez'omu matu eza zaabu ze yasaba bwali sekeri za zaabu lukumi mu lusanvu; obutassaako myezi, na byakulengejja, na byambalo bya fulungu bakabaka ba Midiyaani bye baali bambadde, era obutassaako mikuufu egyali mu nsingo z'eŋŋamira zaabwe.
27 Gidyoni n'abikoza ekkanzu, n'agiteeka mu kibuga kye, mu Ofula: ne Isiraeri yenna ne bagenda ne bagigoberera eyo okwenda nayo: n'efuuka kyambika eri Gidyoni n'eri ennyumba ye.
28 Awo Midiyaani n'ajeemulwa abaana ba Isiraeri, so tebaayimusa nate mitwe gyabwe. Ensi n'ewummulira emyaka ana mu mirembe gya Gidyoni.
29 Yerubbaali mutabani wa Yowaasi n'agenda n'abeera mu nnyumba ye ye.
30 Era Gidyoni yalina batabani be be yazaala abaava mu ntumbwe ze nsanvu: kubanga yawasa abakazi bangi.
31 N'omuzaana we eyali Sekemu naye yamuzaalira omwana wa bulenzi, n'amutuuma erinnya Abimereki.
32 Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'afa ng'amaze okukaddiwa obulungi, ne bamuziika, mu ntaana ya Yowaasi kitaawe, mu Ofula eky'Ababiezeri.
33 Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamala okufa amangu ago abaana ba Isiraeri ne bakyuka nate, ne bagenda bayenda okugoberera Babaali, ne bafuula Baaluberisi katonda waabwe.
34 Abaana ba Isiraeri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe, eyabawonya mu mukono gw'abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna:
35 so tebaakola bya kisa nnyumba ya Yerubbaali, ye Gidyoni, ng'obulungi bwonna bwe bwali bwe yakola eri Isiraeri.