Ekyabalamuzi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 14

Samusooni n'aserengeta e Timuna, n'alaba mu Timuna omukazi ow'oku bawala ab'Abafirisuuti.
2 N'ayambuka okuvaayo, n'abuulira kitaawe ne nnyina n'abagamba nti Nalaba mu Timuna omukazi ow'oku bawala ab'Abafirisuuti: kale nno mumpasize oyo.
3 Awo kitaawe ne nnyina ne balyoka bamugamba nti Tewali mukazi n'omu mu bawala ba baganda bo, newakubadde mu bantu bange bonna, naawe kyova ogenda okuwasa omukazi ku Bafirisuuti abatali bakomole? Samusooni n'agamba kitaawe nti Mpasiza oyo; kubanga mmusiima nnyo.
4 Naye kitaawe ne nnyina baali tebamanyi nga kyava eri Mukama; kubanga yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Era mu biro ebyo Abafirisuuti baali bafuga Isiraeri.
5 Awo Samusooni n'alyoka aserengeta e Timuna, ne kitaawe ne nnyina, ne batuuka mu nsuku z'emizabbibu ez'e Timuna: era, laba, empologoma envubuka n'emuwulugumirako.
6 Omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'agitaagulataagula nga bwe yanditaaguddetaagudde omwana gw'embuzi, so nga talina kintu mu ngalo ze: naye n'atabuulira kitaawe newakubadde nnyina ky'akoze.
7 N'aserengeta n'anyumya n'omukazi, Samusooni n'amusiima nnyo.
8 Ebbanga bwe lyayitaawo n'addayo okumutwala, n'akyama okulaba omulambo gw'empologoma: era, laba, enjuki nga ziri mu mulambo gw'empologoma n'omubisi gw'enjuki.
9 N'agutwala n'engalo ze, n'agenda ng'alya atambula, n'ajjira kitaawe ne nnyina, n'abawaako, ne balya: naye n'atababuulira ng'omubisi aguggye mu mulambo gw'empologoma.
10 Kitaawe n'aserengeta eri omukazi: Samusooni n'afumbayo embaga; kubanga bwe baayisanga okukola bwe batyo.
11 Awo olwatuuka bwe baamulaba ne baleeta bannaabwe asatu okubeera naye.
12 Samusooni n'abagamba nti Kaakano ka mbakokkolere ekikokko: bwe muliyinza okukinzivuunula ennaku omusanvu ez'embaga nga tezinnaggwaawo, ne mukitegeera, ne ndyoka mbawa ebyambalo ebya bafuta asatu n'emiteeko gy'engoye asatu:
13 naye bwe muliremwa okukimbuulira, mmwe ne mulyoka mumpa ebyambalo ebya bafuta asatu n'emiteeko gy'engoye asatu. Ne bamugamba nti Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.
14 N'abagamba nti Mu mulyi mwavaamu emmere, Ne mu w'amaanyi mwavaamu obuwoomerevu. Ennaku ssatu ne ziyitawo ne balemwa okuvvuunula ekikokko.
15 Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu ne bagamba mukazi wa Samusooni nti Sendasenda balo atuvvuunule ekikokko, tuleme okukwokya omuliro ggwe n'ennyumba ya kitaawo: mwatuyita okutwavuwaza? si bwe kiri?
16 Mukazi wa Samusooni n'akaaba amaziga mu maaso ge n'agamba nti Onkyawa bukyayi, so tonjagala: wakokkolera ekikokko abaana b'abantu bange n'otokimbuulirako nze. N'amugamba nti Laba, sikibuuliranga kitange newakubadde mmange, ggwe nnaakibuulirako?
17 N'akaabira amaziga mu maaso ge ennaku musanvu embaga ng'ekyaliwo: awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu n'amubuulira kubanga yamutayirira nnyo: n'abuulira abaana b'abantu be ekikokko kye yakokkola.
18 Abasajja ab'omu kibuga ne bamugamba ku lunaku olw'omusanvu enjuba nga tennagwa nti Ekisinga omubisi gw'enjuki obuwoomerevu kiki? era ekisinga empologoma amaanyi kiki? N'agamba nti Singa temwalimya nte yange, Temwandivvuunudde kikokko kyange.
19 Awo omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'aserengeta e Asukulooni, n'abattamu abasajja asatu, n'anyaga omunyago gwabwe, n'abawa emiteeko (gy'engoye) abo abavvuunula ekikokko. Obusungu bwe ne bubuubuuka, n'ayambuka eri ennyumba ya kitaawe.
20 Naye mukazi wa Samusooni ne bamuwa munne, gwe yabanga naye nga ba mukwano.