Ebyabaleevi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27

0:00
0:00

Essuula 8

Mukama n'agamba Musa nti
2 Twala Alooni n'abaana be awamu naye, n'ebyambalo, n'amafuta ag'okufukako, n'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume zombi, n'ekibbo ekirimu amigaati egitazimbulukuswa;
3 okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
4 Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
5 Musa n'agamba ekibiina nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira okukola.
6 Musa n'aleeta Alooni n'abaana be, n'abanaaza n'amazzi.
7 N'amwambaza ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amwambaza omunagiro, n'amussaako ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olwo.
8 N'amussaako eky'oku kifuba: ne mu ky'oku kifuba yateeka Ulimu ne Sumimu.
9 N'amutikkira enkuufiira ku mutwe; ne ku nkuufiira, mu maaso gaayo, n'assaako ekipande ekya zaabu, engule entukuvu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
10 Musa n'addira amafuta ag'okufukako, n'agafuka ku weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza.
11 N'amansirako ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu n'entobo yaakyo, okubitukuza.
12 N'afuka ku mafuta ag'okufukako ku mutwe gwa Alooni, n'amufukako amafuta, okumutukuza.
13 Musa n'aleeta abaana ba Alooni, n'abambaza ebizibawo, n'abasiba enkoba, n'abasibako ebiremba; nga Mukama bwe yalagira Musa.
14 N'aleeta ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi.
15 N'agitta: Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna n'engalo ye, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitukuza, okukitangirira.
16 N'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, Musa n'agookera ku kyoto.
17 Naye ente n'eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'obusa bwayo n'abyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira; nga Mukama bwe yalagira Musa.
18 N'aleeta endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
19 N'agitta: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
20 N'asala mu ndiga ebitundu, byayo; Musa n'ayokya omutwe, n'ebitundu, n'amasavu.
21 N'anaaza ebyenda n'amagulu n'amazzi Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto: yali kiweebwayo ekyokebwa olw'evvumbe eddungi: yali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa.
22 N'aleeta endiga ennume ey'okubiri, endiga ey'okwawula: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
23 N'agitta; Musa n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo,
24 N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga ku musaayi ku nsonda y'okutu kwabwe okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono gwabwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
25 N'addira amasavu, n'omukira ogwa ssava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo:
26 ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukuswa ekyali mu maaso ga Mukama n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukuswa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo:
27 n'ateeka byonna mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
28 Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa: byali bya kwawula olw'evvumbe eddungi: byali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
29 Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yalagira Musa.
30 Musa n'atoola ku mafuta ag'okufukako, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be awamu naye; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be awamu naye.
31 Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti Mufumbire ennyama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagira nga njogera nti Alooni n'abaana be banaabiryanga.
32 Era ekinafikkawo ku nnyama ne ku migaati munaakyokya n'omuliro.
33 So temufulumanga mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe zirituukirira: kubanga alibaawulira ennaku musanvu.
34 Nga bwe kikoleddwa leero, bw'atyo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira.
35 Era ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanvu emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.
36 Alooni n'abaana be ne bakola byonna Mukama bye yalagira mu mukono gwa Musa.