Ebyabaleevi
Essuula 3
Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; bw'anaawangayo ku nte, oba nnume oba nkazi, anaawangayo eteriiko bulema mu maaso ga Mukama.
2 Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo gy'awaayo, n'agittira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni bakabona banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
3 Era anaawangayo ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu agabikka ku byenda n'amasavu gonna agali ku byenda,
4 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako.
5 Awo abaana ba Alooni banaagookeranga ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
6 Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama ku mbuzi; oba nnume oba nkazi, anaagiwangayo nga teriiko bulema.
7 Bw'anaawangayo omwana gw'endiga okuba ekitone kye, anaaguweerangayo mu maaso ga Mukama:
8 awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekitone kye, n'agittiranga mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.
9 Era anaawangayo ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu gaayo, omukira ogwa ssava omulamba, anaagusaliranga kumpi n'omugongo; n'amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
10 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako.
11 Awo kabona anaagookeranga ku kyoto: ekyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
12 Era oba ng'awaayo embuzi, anaagiweerangayo mu maaso ga Mukama:
13 awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.
14 Awo anaawangayo ku yo ekitone kye, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
15 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako.
16 Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto: kye ky'okulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro olw'evvumbe eddungi: amasavu gonna ga Mukama.
17 Lino linaabanga etteeka eritajjulukuka emirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna, obutalyanga ku masavu newakubadde omusaayi.