Ebyabaleevi
Essuula 4
Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti
2 Buulira abaana ba Isiraeri ng'oyogera nti Omuntu yenna bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'amala akola kyonna ku ebyo:
3 kabona eyafukibwako amafuta bw'anaayonoonanga n'okuleeta n'aleetera abantu omusango; awo awengayo olw'ekibi kye ky'ayonoonye ente ennume envubuka eteriiko bulema eri Mukama okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
4 Awo anaaleetanga ente eri omulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ente, n'attira ente mu maaso ga Mukama.
5 Awo kabona eyafukibwako amafuta anaatoolanga ku musaayi gw'ente, n'aguleeta eri eweema ey'okusisinkanirangamu:
6 awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'amansira ku musaayi emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'eggigi ly'awatukuvu.
7 Awo kabona anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogw'ente anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
8 N'amasavu gonna ag'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi anagiggyangako; amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
9 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anabiggyangako,
10 nga bwe gaggibwa ku nte eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekiweerwako ebyokebwa.
11 N'eddiba ly'ente, n'ennyama yaayo yonna, wamu n'omutwe gwayo, n'amagulu gaayo, n'ebyenda byayo, n'obusa bwayo,
12 ente yonna anaagitwalanga ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu, evvu we lifukwa, agyokyenga n'omuliro ku nku: evvu we lifukwa eyo gy'eneeyokerwanga.
13 Era oba ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kinaasobyanga, ekigambo ne kikwekebwa mu maaso g'ekibiina, era nga bakoze ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era nga bazzizza omusango;
14 ekibi kye boonoonye bwe kinaamanyibwanga, awo ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ne bagireetanga mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu.
15 Awo abakadde b'ekibiina banaateekanga engalo zaabwe ku mutwe gw'ente mu maaso ga Mukama: ne battira ente mu maaso ga Mukama.
16 Awo kabona eyafukibwako amafuta anaaleetanga ku musaayi gw'ente eri eweema ey'okusisinkanirangamu:
17 awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'eggigi.
18 Awo anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g'ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'omusaayi gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
19 N'amasavu gaayo gonna anaagagiggyangako, n'agookera ku kyoto.
20 Bw'atyo bw'anaakolanga ente; nga bwe yakola ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, bw'atyo bw'anaakolanga eno: ne kabona anaabatangiriranga, bo ne basonyiyibwa.
21 Awo anaatwalanga ente ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bwe yayokya ente ey'olubereberye: kye kiweebwayo olw'ekibi olw'ekibiina.
22 Omukulu yenna bw'ayonoonanga, n'akola nga tamanyiridde ekigambo kyonna kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango;
23 ekibi ky'ayonoonye bw'anaakitegeezebwanga, anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, ennume eteriiko bulema;
24 awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'embuzi, n'agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo olw'ekibi.
25 Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa.
26 N'amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng'amasavu aga ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye, naye anaasonyiyibwanga.
27 Era oba ng'omuntu yenna ku bantu ab'omu nsi ayonoona nga tamanyiridde, ng'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango;
28 ekibi kye ky'ayonoonye bw'anaakitegeezebwanga, awo anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, enkazi eteriiko bulema, olw'ekibi ky'ayonoonye.
29 Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'attira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'ekiweebwayo ekyokebwa.
30 Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto.
31 N'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; era kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga.
32 Era oba ng'aleeta omwana gw'endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga enkazi eteriiko bulema.
33 Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agitta okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa.
34 Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'aguteeka ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto:
35 n'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu g'omwana gw'endiga bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona annabyokeranga ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye, naye anaasonyiyibwanga.