Ebyabaleevi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27

0:00
0:00

Essuula 21

Mukama n'agamba Musa nti Yogera ne bakabona batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabangawo muntu eyeeyonoona olw'abo abaafa ku bantu be;
2 wabula olwa baganda be, abamuli okumpi mu luganda, nnyina ne kitaawe ne mutabani we ne muwala we ne muganda we;
3 n'olwa mwannyina atamanyanga musajja, amuli okumpi mu luganda, atalina bba, olw'oyo ayinza okweyonoona.
4 Tayonoonanga, bw'aba omukulu mu bantu be, okwevumisa.
5 Tebamwanga kiwalaata ku mutwe gwabwe, so tebamwanga nsonda za kirevu kyabwe, so tebeesalanga n'akatono ku mubiri gwabwe.
6 Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga linnya lya Katonda waabwe: kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, gwe mugaati gwa Katonda waabwe: kyebanaavanga babeera abatukuvu.
7 Tebawasanga mukazi mwenzi,oba aliko empitambi; so tebawasanga mukazi eyagobebwa bba: kubanga mutukuvu eri Katonda we.
8 Kyonoovanga omutukuza; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo: anaabanga mutukuvu gy'oli: kubanga nze Mukama abatukuza ndi mutukuvu.
9 Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe: anaayokebwaaga omuliro.
10 N'oyo anaabanga kabona asinga obukulu mu baganda be, afukibwako ku mutwe amafuta agafukibwako, era ayawulibwa okwambala ebyambalo ebyo, tasumululanga nviiri za ku mutwe gwe, so tayuzanga ngoye ze;
11 so tayingiranga eri omulambo gwonna, so teyeeyonoonanga olwa kitaawe, newakubadde olwa nnyina;
12 so tafulumanga mu watukuvu, so tavumisanga watukuvu wa Katonda we; kubanga engule ey'amafuta agafukibwako aga Katonda wegali ku ye: nze Mukama.
13 Era anaawasanga omukazi nga tannamanya musajja.
14 Nnamwandu oba eyagobebwa oba aliko empitambi, omwenzi, abo tabawasanga: naye omuwala atamanyanga musajja ow'oku bantu be gw'anaawasanga.
15 So tavumisanga zzadde lye mu bantu be: kubanga nze ndi Mukama amutukuza.
16 Mukama n’agamba Musa nti
17 Gamba Alooni nti Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyo mu mirembe gyabwe gyonna anaabangako obulema, tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we.
18 Kubanga buli muntu yenna anaabangako obulema tasemberanga: omuzibe w'amaaso oba awenyera oba eyayonooneka ennyindo, oba aliko ekintu kyonna ekisukkirira,
19 oba eyamenyeka okugulu, oba eyamenyeka omukono,
20 oba alina ebbango, oba mututuuli, oba aliko obulema ku liiso lye, oba alina obuwere, oba mubootongo, oba eyayatika enjagi;
21 tewabangawo muntu wa ku zzadde lya Alooni kabona, aliko obulema, anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: ng'aliko obulema; tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we.
22 Anaalyanga ku mugaati gwa Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, era ne ku mutukuvu.
23 Kyokka tayingiranga awali eggigi, so tasembereranga kyoto, kubanga aliko obulema; alemenga okuvumisa awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama atukuzaawo.
24 Awo Musa n'agamba Alooni bw'atyo ne batabani be n'abaana bonna aba Isiraeri.