Ebyabaleevi
Essuula 2
Era omuntu yenna bw'awangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo eri Mukama ekitone kye kinaabanga kya butta bulungi: era anaabufukangako amafuta n'abuteekako omugavu:
2 awo anaakireeteranga abaana ba Alooni bakabona: naye anaakiggyangamu olubatu lwe olw'obutta obulungi bwakyo n'olw'amafuta gaakyo, awamu n'omugavu gwakyo gwonna; awo kabona anaabwokyanga okuba ekijjukizo kyakyo ku kyoto, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama:
3 n'ekyo ekifikkawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro.
4 Era bw'owangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo obwokeddwa mu kabiga, kinaabanga emigaati egitazimbulukuswa egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, oba egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibwako amafuta.
5 Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta eky'omu kikalango, kinaabanga kya butta bulungi obutazimbulukuswa obutabuddwamu amafuta.
6 Onookyawulangamu ebitundu, obufukeko amafuta: kye kiweebwayo eky'obutta.
7 Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta eky'omu kikalango, kinaakolebwanga n'obutta obulungi wamu n'amafuta.
8 Awo onooleetanga ekiweebwayo eky'obutta ekikolebwa n'ebyo eri Mukama: awo kinaaleeterwanga kabona, naye anaakitwalanga eri ekyoto.
9 Awo kabona anaalobolanga ku kiweebwayo eky'obutta ekijjukizo kyakyo, anaakyokeranga ku kyoto: ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
10 N'ekyo ekinaafikkangawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro.
11 Tewabangawo kiweebwayo kya butta, kye munaawangayo eri Mukama, ekikolebwa n'ekizimbulukusa: kubanga temwokyanga ekizimbulukusa kyonna, newakubadde omubisi gw'enjuki gwonna, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
12 Ebyo munaabiwangayo eri Mukama okuba ekitone eky'ebibereberye: naye tebirinnyisibwanga ku kyoto okuba evvumbe eddungi.
13 Era buli kitone eky'obutta bw'onoowangayo onookirungangamu omunnyo; so tokkirizanga ky'owaayo eky'obutta okubulwa omunnyo ogw'endagaano ya Katonda wo: awamu n'ebitone byo byonna onoowangayo omunnyo.
14 Era oba ng'owaayo ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye eri Mukama, onoowangayo okuba ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye byo eŋŋaano ng'ekyali ku birimba eyokebwa n'omuliro, eŋŋaano embetentere ku birimba ebibisi.
15 Awo onoogifukangako amafuta, era onoogiteekangako omugavu: ekyo kye kiweebwayo eky'obutta.
16 Era kabona anaayokyanga ekijjukizo kyakyo, ekitundu ky'eŋŋano yaakyo embetente, n'ekitundu ky'amafuta gaakyo, wamu n'omugavu gwakyo gwonna:kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.