Ebyabaleevi
Essuula 19
Mukama n’ayogera ne Musa nti
2 Yogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Munaabanga batukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
3 Mutyenga buli muntu nnyina ne kitaawe, era mwekuumenga ssabbiiti zange: nze Mukama Katonda wammwe.
4 Temukyukiranga bifaanaayi, so temwekoleranga bakatonda basaanuuse: nze Mukama Katonda wammwe.
5 Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, munaagiwangayo era mukkirizibwe.
6 Ku lunaku olwo lwe munaagiweerangako kwe munaagiriiranga, ne ku lw'enkya: era ekintu kyonna bwe kinaafikkangako okutuusa ku lunaku olw'okusatu, kinaayokebwanga omuliro.
7 Era bwe kinaaliibwangako n'akatono ku lunaku olw'okusatu, kiba kya muzizo; tekikkirizibwenga:
8 naye buli anaakiryangako anaabangako obutali butuukirivu bwe, kubanga avumisizza ekintu ekitukuvu ekya Mukama: era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be.
9 Era bwe munaakungulanga ebikungulwa by'ensi yammwe, tomaliranga ddala kukungula nsonda za nnimiro yo, so tokuŋŋaaayanga ebyerebwa ku bikungulwa byo.
10 So toyeranga mu lusuku lwo olw'emizabbibu, so tokuŋŋaanyanga bibala ebikunkumuka mu lusuku lwo olw'emizabbibu; onoobirekeranga omwavu n'omugenyi: nze Mukama Katonda wammwe.
11 Temubbanga; so temulyazaamaanyanga, so temulimbagananga mwekka na mwekka.
12 So temulayiriranga bwereere linnya lyange, n'okuvumisa n'ovumisa erinnya lya Katonda wo: nze Mukama.
13 Tojooganga muliraanwa wo, so tomunyaganga: empeera y'omusenze akolera empeera tosulanga ng'oli nayo okukeesa obudde.
14 Tokolimiranga muggavu wa matu, so tomuteekerangawo nkonge omuzibe w'amaaso, naye onootyanga Katonda wo: nze Mukama.
15 Temusalanga misango egitali gya nsonga: tolowoozanga maaso ga mwavu, so tossangamu kitiibwa maaso ga wa maanyi: naye onoosaliranga muliraanwa wo emisango gya nsonga.
16 Tobanga wa nnimi ng'otambulatambula mu bantu bo; so toyimiriranga kulumba musaayi gwa muliraanwa wo: nze Mukama.
17 Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo: tolemanga kunenya muliraanwa wo, oleme okubaako ekibi ku lulwe.
18 Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b'abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka: nze Mukama.
19 Mwekuumenga amateeka gange. Tozaalisanga nsolo zo ngeri ezitafaanana bumu: tosiganga mu nnimiro yo nsigo ey'engeri ebbiri: ekyambalo tekikubikkangako eky'engeri ebbiri ez'olugoye ezitabuddwa awamu.
20 Era buli anaasulanga n'omukazi, naye nga muzaana, ng'aliko bba amwogereza, era nga tanunulwanga n'akatono, so nga taweebwanga ddembe; banaabonerezebwanga, tebattibwanga, kubanga teyali wa busa.
21 Awo anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'omusango.
22 Awo kabona anaamutangirizanga endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusango mu maaso ga Mukama olw'ekibi kye yakola; kale anaasonyiyibwanga ekibi kye yakola.
23 Era bwe mubanga muyingidde mu nsi eyo, era nga mumaze okusimba emiti egy'engeri zonna egiriibwako, ne mulyoka muyita ebibala byagyo obutakomolwa bwagyo: emyaka esatu binaabanga gye muli ng'ebitali bikomole tebiriibwangako.
24 Naye mu mwaka ogw'okuna ebibala byayo byonna biriba bitukuvu, olw'okutendereza Mukama.
25 Ne mu mwaka ogw'okutaano mulirya ku bibala byayo, ebawe ekyengera kyayo: nze Mukama Katonda wammwe.
26 Temulyanga kintu kyonna wamu n'omusaayi, so temuwanga ddogo, so temulagulanga.
27 Temumwanga nkiiya, so toyonoonanga nsonda za kirevu kyo.
28 Temwesalanga ku mubiri gwammwe olw'abafu, so temwesalangako bya buyonjo byonna: nze Mukama.
29 Tovumisanga muwala wo, okumufuula omwenzi; ensi creme okugoberera obwenzi, ensi n'ejjula ekibi.
30 Mwekuumenga ssabbiiti zange, era mutyenga awatukuvu wange: nze Mukama.
31 Temukyukiranga abo abasamira emizimu, newakubadde abalogo; temubanoonyanga, okwonooneka olw'abo: nze Mukama Katonda wammwe.
32 Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g'omukadde, era otyanga Katonda wo: nze Mukama.
33 Era omugenyi bw'anaatuulanga naawe mu nsi yammwe, temumukolanga bubi.
34 Omugenyi anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng'enzaalwa mummwe, era omwagalanga nga bwe weeyagala wekka, kubanga mwali bagenyi mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe.
35 Temukolanga ebitali bya butuukirivu okusala emisango, okupima emikono, okupimira mu minzaani, newakubadde okugera.
36 Munaabanga ne minzaani ntuufu, n'ebigera bituufu, efa ntuufu, ne ini ntuufu: nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri.
37 Era mukwatenga amateeka gange gonna, n'emisango gyange gyonna, ne mubikolanga: nze Mukama.