Ebyabaleevi
Essuula 27
Mukama n'agamba Musa nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omuntu bw'anaatuukirizanga obweyamo, emibiri ginaabanga gya Mukama ng'okubala kwo bwe kunaabanga.
3 N'okubala kwo okw'omusajja eyaakamaze emyaka abiri okutuusa ku myaka enkaaga, okubala kwo kunaabanga sekeri za ffeeza ataano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri.
4 Era bw'anaabanga ow'obuwala, kale okubala kwo kunaabanga sekeri asatu.
5 Era bw'anaabanga yaakamaze emyaka etaano okutuusa ku myaka abiri, kale okubala kwo okw'ow'obulenzi kunaabanga sekeri abiri, n'okw'ow'obuwala sekeri kkumi.
6 Era bw'anaabanga yaakamaze mwezi gumu okutuusa ku myaka etaano, kale okubala kwo okw'ow'obulenzi kunaabanga sekeri za ffeeza ttaano, n'okubala kwo okw'ow'obuwala kunaabanga sekeri za ffeeza ssatu.
7 Era bw'anaabanga yaakamaze emyaka enkaaga n'okukirawo; bw'anaabanga omusajja, kale okubala kwo kunaabanga sekeri kkumi na ttaano, n'okw'omukazi sekeri kkumi.
8 Naye bw'anaabanga omwavu okusinga okubala kwo, kale anaayimirizibwanga mu maaso ga kabona, kabona n'amusalira omuwendo; ng'obuyinza bw'oyo eyeeyama bwe bunaabanga, bw'atyo kabona bw'anaamusaliranga.
9 Era bw'eneebanga ensolo, abantu gye bawaayo okuba ekirabo eri Mukama, byonna omuntu yenna by'anaawangayo ku ezo eri Mukama binaabanga bitukuvu.
10 Tagikyusanga so tagiwaanyisanga, ekirungi mu kifo ky'ekibi, oba ekibi mu kifo ky'ekirungi: n'okuwaanyisa bw'anaawaanyisanga ensolo n'ensolo, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu.
11 Era bw'eneebanga ensolo yonna eteri nnongoofu, gye batawaayo okuba ekitone eri Mukama, awo anaayimirizanga ensolo mu maaso ga kabona:
12 kale kabona anaagiramulanga, oba nga nnungi oba nga mbi: nga ggwe kabona bw'onoogiramulanga, bw'eneebanga bw'etyo.
13 Naye okununula bw'anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kyayo eky'okutaano ku bintu by'olamudde.
14 Era omuntu bw'anaatukuzanga ennyumba ye okuba entukuvu eri Mukama, kale kabona anaagiramulanga, oba nga nnungi oba nga mbi: nga kabona bw'anaagiramulanga, bw'eneebanga bw'etyo.
15 Era oyo eyagitukuza bw'anaayagalanga okununula ennyumba ye, kale anaagattangako ekitundu eky'okutaano eky'ebintu by'olamudde, n'eba yiye.
16 Era omuntu bw'anaatukuzanga eri Mukama ekitundu ky'ennimiro y'obutaka bwe, kale okulamula kwo kunaabanga ng'okusigibwa kwayo bwe kunaabanga okusiga kwa komeri ogwa sayiri kunaalamulwanga sekeri eza ffeeza ataano.
17 Bw'anaatukuzanga ennimiro ye okuva ku mwaka gwa jjubiri, eneebanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga.
18 Naye bw'anaatukuzanga ennimiro ye jjubiri nga guweddeko, kale kabona anaamubaliranga ebintu ng'emyaka bwe giri egikyasigaddeyo okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, ne bakendeeza ku bintu bye walamula.
19 N'okununula oyo eyatukuza ennimiro bw'anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu eky'okutaano eky'ebintu bye walamula, n'efuukira ddala yiye.
20 Era bw'ataayagalenga kununula nnimiro, oba bw'aba ng'aguzizza ennimiro omulala, tekyanunulibwanga nate;
21 naye ennimiro bw'eneegenderanga mu jjubiri, eneebanga ntukuvu eri Mukama, ng'ennimiro eyawongebwa; eneebanga ya kabona ya nvuma.
22 Era bw'anaatukuzanga eri Mukama ennimiro gye yagula, eteri ya mu nnimiro ya butaka bwe;
23 kale kabona anaamubaliranga omuwendo gw'ebintu bye walamula okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: era anaawanga ebintu bye walamula ku lunaku olwo, ng'ekintu ekitukuvu eri Mukama.
24 Mu mwaka gwa jjubiri ennimiro eneddanga eri oyo eyagitunda, ye nannyini butaka obw'ennimiro.
25 N'okulamula kwo kwonna kunaabanga nga sekeri bw'eri ey'omu watukuvu: gera amakumi abiri zinaabanga sekeri.
26 Wabula eggula enda mu nsolo, ebeera eya Mukama eggula enda, tewabangawo anaagitukuzanga; oba nga nte, oba nga ndiga, eba ya Mukama.
27 Era bw'eneebanga ya ku nsolo eteri nnongoofu, kale anaaginunulanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga, n'agattako ekitundu kyako eky'okutaano: oba bw'eteenunulibwenga, kale eneetundibwanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga.
28 Naye tewabanga kiatu ekyawongebwa, omuntu ky'anaawongeranga Mukama ku byonna by'alina, oba nga muntu oba nga nsolo, oba nga nnimiro ya butaka bwe, ekinaatundibwanga oba ekinaanunulibwanga: buli kintu ekyawongebwa kiba kitukuvu nnyo eri Mukama.
29 Tewabanga eyawongebwa, anaawongebwanga ku bantu, anaanunulibwanga; talemanga kuttibwa.
30 Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ensi, oba nga bya nsigo za nsi, oba nga bya bibala bya muti, bya Mukama: biba bitukuvu eri Mukama.
31 Era omuntu bw'anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby'ekkumi, anaagattangako ekitundu kyabyo eky'okutaano.
32 Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ente oba eby'endiga, buli eyita wansi w'omuggo, ebitundu eby'ekkumi binaabanga bitukuvu eri Mukama.
33 Takeberanga oba nga nnungi oba nga mbi so tagiwaanyisanga: n'okuwaanyisa bw'anaagiwaanyisanga, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu: tenunulibwanga.
34 Ebyo bye biragiro, Mukama bye yalagira Musa olw'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi.