Ebyabaleevi
Essuula 15
Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2 Mugambe abaana ba Isiraeri mubabuulire nti Omusajja yenna bw’abaabanga n’enziku eva mu mubiri gwe; nga simulongoofu olw'enziku ye.
3 Era buno bwe bunaabanga obutali bulongoofu bwe obw'enziku ye: oba ng'atonnya enziku mu mubiri gwe, oba nga yaziyizibwa enziku mu mubiri gwe, buno bwe butali bulongoofu bwe.
4 Buli kitanda omuziku ky'anaasulangako kinaabanga kitali kirongoofu: era buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga kitali kirongoofu.
5 Era buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
6 N'oyo anaatuulanga ku kintu kyonna omuziku ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
7 N'oyo anaakomanga ku mubiri gw'omuziku anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8 Era omuziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu; kale anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9 N'amatandiiko gonna omuziku g'aneebagalirangako ganaabanga agatali malongoofu.
10 Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ekibadde wansi we anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'oyo anaasitulanga ebyo anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
11 Na buli omuziku gw'anaakomangako, nga tannanaaba ngalo mu mazzi, anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
12 N'ekintu ky'ebbumba omuziku ky'anaakomangako kinaayasibwanga: na buli kintu ky'omuti kinaayozebwanga mu mazzi.
13 Era omuziku bw'anaalongoosebwangako enziku ye, kale aneebaliranga ennaku musanvu olw'okulongoosebwa kwe, n'ayoza engoye ze; n'anaaba omubiri gwe mu mazzi agakulukuta, n'aba mulongoofu.
14 Era ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga ba kamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, najja mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona:
15 kale kabona anaagawangayo, erimu lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'enziku ye.
16 Era omusajja yenna bw'anaavangamu amaanyi, kale anaanaabanga omubiri gwe gwonna mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
17 Na buli kyambalo, na buli ddiba, omuli amaanyi, kinaayozebwanga n'amazzi, ne kiba ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi.
18 Era n'omukazi omusajja gw'anaasulanga naye n'amaanyi, bombi banaanaabanga mu mazzi, ne baba abatali balongoofu okutuusa akawungeezi.
19 Era omukazi bw'anaabanga n'enziku, n'enziku ye mu mubiri gwe nga ya musaayi, anaamalanga ennaku musanvu ez'okweyawula kwe: na buli anaamukomangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
20 Na buli kintu ky'anaasulangako mu biro by'okweyawula kwe kinaabanga ekitali kirongoofu: era buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
21 Na buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22 Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
23 Era bwe kinaabanga ku kitanda, oba ku kintu kyonna ky'atuddeko, bw'anaakikomangako, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
24 Era omusajja yenna bw'anaasulanga naye, n'obutali bulongoofu bwe ne buba ku ye, kale anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
25 Era omukazi bw'anaavangamu omusaayi gwe ennaku nnyingi so nga si bye biro eby'okweyawula kwe, oba bw'anaavangamu omusaayi okusukkirira ebiro eby'okweyawula kwe; ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe anaabanga nga bw'aba mu nnaku ez'okweyawula kwe: oyo nga si mulongoofu.
26 Buli kitanda ky'anaasulangako ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi kinaabanga gy'ali ng'ekitanda eky'okweyawula kwe: era buli ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ng'obutali bulongoofu obw'okweyawula kwe.
27 Era buli anaakomanga ku ebyo anaabanga atali mulongoofu, n'ayoza engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28 Naye bw'anaalongoosebwanga olw'omusaayi okumuvaamu, kale aneebaliranga ennaku musanvu, oluvannyuma n'alyoka aba omulongoofu.
29 Awo ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, n'agatwalira kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
30 Awo kabona anaawangayo erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'okuvaamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe.
31 Bwe mutyo bwe munaayawulanga abaana ba Isiraeri n'obutali bulongoofu bwabwe; baleme okufiira mu butali bulongoofu bwabwe, bwe banaayonoonanga eweema yange eri wakati mu bo.
32 Eryo lye tteeka ly'omuziku n'oyo avaamu amaanyi, n'okufuula ne gamufuula atali mulongoofu;
33 era ery'omukazi alwadde olw'okweyawula kwe, era ery'omuziku, omusaja, era ery'omukazi, era ery'oyo asula n'omukazi atali mulongoofu.