Ebyabaleevi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27

0:00
0:00

Essuula 11

Mukama n'ayogera ne Musa ne Alooni ng'abagamba nti
2 Mugambe abaana ba Isiraeri nti Bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi.
3 Buli ekyawulamu ekinuulo, era ekirina ekigere ekyaseemu, era ekizza obwenkulumu, mu nsolo, ekyo kye munalyanga.
4 Naye bino bye mutalyanga ku ebyo ebizza obwenkulumu oba ku ebyo ebyawulamu ekinuulo: eŋŋamira, kubanga ezza obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo si nnongoofu gye muli.
5 N'omusu kubanga guzza obwenkulumu naye tegwawulamu kinuulo, ogwo si mulongoofu gye muli.
6 N'akamyu, kubanga kazza obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako si kalongoofu gye muli.
7 N'embizzi kubanga eyawulamu ekinuulo era erina ekigere ekyaseemu, naye tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli.
8 Ku nnyama yaazo temulyangako, so n'emirambo gyazo temugikomangako; si nnongoofu gye muli.
9 Bino bye munaalyanga ku byonna ebiri mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba mu mazzi, mu nnyanja ne mu migga, ebyo bye munaalyanga.
10 Era buli ekitalina maggwa na magamba mu nnyanja ne mu migga, ku byonna ebitambulira mu mazzi ne ku biramu byonna ebiri mu mazzi, bya muzizo gye muli,
11 era binaabanga bya muzizo gye muli; temulyanga ku nnyama yaabyo, n'emirambo gyabyo munaagiyitanga gya muzizo.
12 Buli ekitalina maggwa newakubadde amagamba mu mazzi, ekyo kya muzizo gye muli.
13 Na bino bye munaayitanga eby'omuzizo ku nnyonyi; tebiriibwanga, bya muzizo: ennunda, n'empungu, ne makwanzi;
14 ne kamunye, n'eddiirawamu n'engeri yaalyo;
15 buli namuŋŋoona n'engeri yaabo;
16 ne maaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo n'engeri yaayo;
17 n'ekiwuugulu, n'enkobyokkoobyo, n'ekkufufu;
18 n'ekiwuugulu eky'amatu, ne kimbala, n'ensega;
19 ne kasida, ne mpaabaana n'engeri ye, n'ekkookootezi, n'ekinyira.
20 Ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana bya muzizo gye muli.
21 Naye bino bye muyinza okulya ku byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana, ebirina amagulu waggulu ku bigere byabyo, okugabuusa ku nsi;
22 bino bye muyinza okulya ku ebyo enzige n'engeri yaayo, n'enseenene n'engeri yaayo, n'akanyeenyenkule n'engeri yaako, n'ejjanzi n'engeri yaalyo.
23 Naye ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro, ebirina amagulu ana, bya muzizo gye muli.
24 Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaakomanga ku mulambo gwabyo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi
25 era buli asitula ku mulambo gwabyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
26 Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, so nga terina kigere kyaseemu, so tezza bwenkulumu, si noongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu.
27 Era buli etambuza ebibatu byayo ku nsolo zonna ezitambuza amagulu ana, ezo si nnongoofu gye muli: buli anaakomanga ku mulambo gwazo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28 Era oyo asitula omulambo gwazo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: ezo si nnongoofu gye muli.
29 Na bino bye bitali birongoofu gye muli ku byewalula ebyewalula ku nsi; eggunju, n'emmese, n'ekkonkomi eddene n'engeri yaalyo,
30 ne anaka, n'enswaswa, n'omunya, n'ekkonkomi, ne nnawolovu.
31 Ebyo bye bitali birongoofu gye muli ku ebyo byonna ebyewalula: buli anaabikomangako, nga bifudde, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
32 Era ekintu kyonna ekinaagwibwangako kyonna kyonna ku byo, nga bifudde, kinaabanga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo, oba kintu kyonna kyonna, ekikoza omulimu gwonna, kikigwaniranga okuteekebwa mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu.
33 Na buli kintu eky'ebbumba, ekinaagwibwangamu kyonna kyonna ku byo, ekibanga mu kyo kyonna kinaabanga ekitali kirongoofu, nakyo munaakyasanga.
34 Eky'okulya kyonna ekirimu ekiriika, ekiyinza okufukibwako amazzi, kinaabanga ekitali kirongoofu: na buli kya kunywa ekinaaywebwanga mu buli kintu (ekiri bwe kityo) kinaabanga ekitali kirongoofu.
35 Era buli kintu ekinaagwibwangako ekitundu kyonna eky'omulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu; oba kabiga, oba amasiga g'entamu, kinaamenyebwamenyebwanga: si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli.
36 Naye oluzzi oba obunnya omuli amazzi agakuŋŋaanyizibwa kinaabanga ekirongoofu: naye ekinaakomanga ku mulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu.
37 Era oba nga ku mulambo gwabyo kugwa ku nsigo yonna ey'okusiga egenda okusigibwa, yo eneebanga nnongoofu.
38 Naye oba ng'amazzi gafukibwa ku nsigo, ne ku mulambo gwabyo ne kugwa okwo, nga si nnongoofu gye muli.
39 Era oba ng'ensolo yonna, gye muyinza okulyako, efa; akoma ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
40 N'oyo anaalyanga ku mulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era n'oyo anaasitulanga omulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
41 Na buli ekyewalula ekyewalula ku nsi kya muzizo; tekiriibwanga.
42 Buli ekitambuza olubuto, na buli ekitambuza amagulu ana, oba buli ekirina amagulu amangi, buli ebyewalula ku nsi, ebyo temubiryanga; kubanga bya muzizo.
43 Temwegwagwawazanga na kyewalula kyonna, so temwefuulanga nabyo abatali balongoofu, mubeere n'empitambi bwe mutyo.
44 Kubanga nze Mukama Katonda wammwe: kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu: so temwereeteranga mpitambi olw'engeri yonna ey'ekyewalula ekitambula ku nsi.
45 Kubanga nze ndi Mukama eyabalinnyisa okuva mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga abatukuvu: kubanga nze ndi mutukuvu.
46 Eryo lye tteeka ery'ensolo n'ery'ennyonyi n'erya buli kitonde ekiramu ekitambula mu mazzi, n'erya buli kitonde ekyewalula ku nsi:
47 okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, n'ekiramu ekiriika n'ekiramu ekitaliika.