Lukka
Essuula 9
N'abayitira wamu abayigirizwa be ekkumi n'ababiri n'abawa amaanyi n'obuyinza ku badayimooni bonna n'okuwonya endwadde.
2 N'abatuma okubuulira obwakabaka bwa Katonda, n'okuwonya abalwadde.
3 N'abagamba nti Temutwala kintu kya mu kkubo, newakubadde omuggo, newakubadde olukoba, newakubadde emmere, newakubadde effeeza; so temuba na kkanzu bbiri.
4 Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga.
5 Era bonna abataabakkirizenga, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo, enfuufu ey'omu bigere byammwe mugikunkumulenga ebe omujulirwa eri bo.
6 Awo ne bagenda ne beetooloola mu bibuga byonna nga babuulira enjiri, nga bawonya abantu mu buli kifo.
7 Awo kabaka Kerode owessaza n'awulira byonna ebyakolebwa; n'abuusabuusa nnyo kubanga abantu baagamba nti Yokaana azuukidde mu bafu;
8 abalala nti Eriya alabise; n'abalala nti Bannabbi ab'edda omu ku bo azuukidde.
9 Kerode n'agamba nti Yokaana nze nnamutemako omutwe: naye oyo ani gwe mpulirako ebigambo ebyenkana awo? N'ayagala okumulaba.
10 Awo abatume bwe baamala okukomawo, ne bamunnyonnyola byonna bye baakola. N'abatwala ne yeeyawula n'agenda nabo kyama mu kibuga ekiyitibwa Besusayida.
11 Naye ebibiina bwe baategeera ne bamugoberera; n'abaaniriza, n'ayogera nabo ebigambo by'obwakabaka bwa Katonda, n'abaali beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya.
12 Awo enjuba yali egolooba; abo ekkumi n'ababiri ne bajja w'ali ne bamugamba nti Siibula ekibiina bagende mu mbuga ne mu byalo eby'okumpi basule, banoonye eby'okulya; kubanga wano tuli mu ttale jjereere.
13 N'abagamba nti Mmwe mubawe eby'okulya. Ne bagamba nti Tetulina kintu wabula emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri; kyokka tugende tubagulire eby'okulya abantu bano bonna.
14 Kubanga baali abasajja ng'enkumi ttaano. N'agamba abayigirizwa be nti Mubatuuze nnyiriri ng'ataano ataano.
15 Ne bakola bwe batyo, ne babatuuza bonna.
16 N'addira emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso mu ggulu, n'abyebaza n'abimenyamu, n'awa abayigirizwa be okubissa mu maaso g'ekibiina.
17 Ne balya ne bakkuta bonna; ne bulondebwa obukunkumuka bwe baalemwa, ebibbo kkumi na bibiri.
18 Awo olwatuuka bwe yali ng'asaba yekka, abayigirizwa be baali naye wamu. N'ababuuza ng'agamba nti Ebibiina bimpita ani?
19 Ne baddamu ne bagamba nti Yokaana Omubatiza; naye abalala nti Eriya; n'abalala nti Ku bannabbi ab'edda omu ku abo azuukidde.
20 N'abagamba nti Naye mmwe mumpita ani? Peetero n'addamu n'agamba nti Ggwe Kristo wa Katonda.
21 Naye n'abakuutira n'abalagira baleme okubuulirako omuntu ekigambo ekyo;
22 ng'agamba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, era ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa.
23 N'abagamba bonna nti Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikkenga omusalaba gwe buli lunaku, angoberere.
24 Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe ku lwange oyo alibulokola.
25 Kubanga kulimugasa ki omuntu okulya ensi yonna nga yeebuzizza oba nga yeetunze?
26 Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange, oyo n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi, lw'alijjira mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.
27 Naye mbagamba mazima nti Waliwo abayimiridde wano abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda.
28 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebigambo ebyo nga wayiseewo ennaku munaana, n'atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusaba.
29 Awo bwe yali ng'asaba, ekifaananyi ky'amaaso ge ne kiba kirala, n'ekyambalo kye ne kiba kyeru nga kimasamasa.
30 Kale, laba, abantu babiri ne boogera naye, abo baali Musa ne Eriya;
31 abaalabika nga balina ekitiibwa, ne boogera ku kufa kwe kw'agenda okutuukiririza mu Yerusaalemi.
32 Awo Peetero ne be yali nabo baali bakwatiddwa otulo: naye bwe baatunula, ne balaba ekitiibwa kye n'abantu ababiri abayimiridde w'ali.
33 Awo olwatuuka bwe baali bagenda okwawukana naye, Peetero n'agamba Yesu nti Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano; tukole ensiisira ssatu, emu yiyo, emu ya Musa, emu ya Eriya; nga tamanyi ky'ayogera.
34 Awo yali ng'akyayogera ebyo, ekire ne kijja ne kibasiikiriza: bwe baayingira mu kire ne batya.
35 Eddoboozi ne lifuluma mu kire ne ligamba nti Oyo ye Mwana wange gwe nneeroboza: mumuwulire ye.
36 N'eddoboozi eryo bwe lyajja, Yesu n'alabika yekka. Nabo ne basirika busirisi, ennaku ezo ne batabuulirako muntu kigambo na kimu ku ebyo bye baalaba.
37 Awo olwatuuka ku lunaku olw'okubiri bwe baava ku lusozi, ekibiina kinene ne kimusisinkana.
38 Era, laba, omuntu ow'omu kibiina n'ayogerera waggulu n'agamba nti Omuyigiriza, nkwegayirira okulaba ku mwana wange, kubanga nnamuzaala omu:
39 era, laba, dayimooni amukwata n'akaaba amangu ago; n'amutaagula n'okubimba n'abimba ejjovu, era amuvaako lwa mpaka, nga amumenyeemenye nnyo.
40 Nange nneegayiridde abayigirizwa bo okumugobako; ne batayinza.
41 Yesu n'addamu n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza era egyakyama, ndituusa wa okubeera nammwe n'okubagumiikiriza? leeta wano omwana wo.
42 Awo yali ng'akyajja, dayimooni n'amusuula n'amutaagula nnyo. Naye Yesu n'aboggolera dayimooni n'awonya omulenzi n'amuzza eri kitaawe.
43 Bonna ne bawuniikirira olw'obukulu bwa Katonda. Naye bonna bwe baali nga beewuunya byonna bye yakola, n'agamba abayigirizwa be nti
44 Ebigambo ebyo mubisse mu matu gammwe: kubanga Omwana w'omuntu agenda okuweebwayo mu mikono gy'abantu.
45 Naye bo ne batategeera kigambo ekyo, era kyali kibakwekeddwa baleme okukitegeera : ne batya okumubuuza ekigambo ekyo bwe kiri.
46 Awo ne wabaawo okuwakana mu bo aliba omukulu mu bo bw'ali.
47 Naye Yesu bwe yalaba okuwakana mu mitima gyabwe, n'atwala omwana omuto, n'amussa ku lusegere lwe,
48 n'abagamba nti Buli anaasembezanga omwana omuto ono mu linnya lyange, ng'asembezza nze, na buli anaasembezanga nze, ng'asembezza eyantuma: kubanga asinga obuto mu mmwe mwenna oyo ye mukulu.
49 Yokaana n'addamu n'agamba nti Mukama waffe, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo: ne tumugaana, kubanga tayita naffe.
50 Naye Yesu n'amugamba nti Temumugaana; kubanga atali mulabe wammwe, ali ku lwammwe.
51 Awo olwatuuka ennaku ze ez'okutwalibwa waggulu bwe zaali zinaatera okutuuka, n'asimbira ddala amaaso ge okugenda e Yerusaalemi,
52 n'atuma ababaka mu maaso ge; ne bagenda ne bayingira mu mbuga y'Abasamaliya, okumutegekera.
53 Ne batamusembeza kubanga amaaso ge gaali galaze kugenda Yerusaalemi.
54 Abayigirizwa be Yakobo ne Yokaana bwe baalaba ne bagamba nti Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu okubazikiriza, nga Eriya bwe yakola?
55 Naye n'akyuka n'abanenya n'ayogera nti Temumanyi omwoyo bwe guli gwe mulina. Kubanga Omwana w'omuntu teyajja kuzikiriza bulamu bwa bantu, wabula okubulokola.
56 Awo ne bagenda mu mbuga endala.
57 Awo bwe baali nga bagenda mu kkubo, omuntu n'amugamba nti Nnaakugobereranga w'onoogendanga wonna.
58 Yesu n'amugamba nti Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe.
59 N'agamba omulala nti Ngoberera. Naye ye n'agamba nti Mukama wange, ndeka mmale okugenda okuziika kitange.
60 Naye n'amugamba nti Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda obuulire obwakabaka bwa Katonda.
61 N'omulala n'agamba nti Nnaakugobereranga, Mukama wange; naye sooka ondeke mmale okusiibula ab'omu nnyumba yange.
62 Naye Yesu n'amugamba nti Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n'atunula ennyuma asaanira obwakabaka bwa Katonda.