Lukka

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 18

N'abagerera olugero bwe kibagwanira okusabanga bulijjo, obutakoowanga;
2 n'agamba nti Waaliwo omulamuzi mu kibuga kimu, ataatya Katonda, era nga tassaamu muntu kitiibwa;
3 era waaliwo nnamwandu mu kibuga ekyo; n'ajjanga w'ali ng'agamba nti Nnamula n'omulabe wange.
4 N'atasooka kukkiriza; naye oluvannyuma n'ayogera munda mu ye nti Newakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa;
5 naye olw'okunteganya nnamwandu ono kw'anteganya nnamulamula, aleme okuntengezza ng'ajja olutata.
6 Mukama waffe n'agamba nti Muwulire omulamuzi oyo atali mutuukirivu ky'agamba.
7 Kale ne Katonda taliramula balondebe abamukaabirira emisana n'ekiro, ng'akyagumiikiriza?
8 Mbagamba nti Alibalamula mangu. Naye Omwana w'omuntu bw'alijja, aliraba okukkiriza ku nsi?
9 N'abalala abaali beerowooza ku bwabwe okuba abatuukirivu nga banyooma abalala bonna, n'abagamba olugero luno, nti
10 Abantu babiri baalinnya mu yeekaalu okusaba, omu Mufalisaayo, omulala muwooza.
11 Omufalisaayo n'ayimirira n'asaba yekka ebigambo bino nti Ai Katonda, nkwebaza kubanga siri nga bantu balala bonna, abanyazi, abalyazaamaanyi, abenzi, newakubadde ng'ono omuwooza.
12 Nsiiba emirundi ebiri mu ssabbiiti; mpaayo ekitundu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna.
13 Naye omuwooza n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge mu ggulu, naye ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti Ai Katonda, onsaasire nze alina ebibi.
14 Mbagamba nti Oyo yakka okuddayo mu nnyumba ye ng'aweereddwa obutuukirivu okusinga oli; kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.
15 Awo ne baleeta n'abaana abato w'ali, okubakomako: naye abayigirizwa bwe baabalaba, ne bababoggolera.
16 Naye Yesu n'abayita ng'agamba nti Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng'abo obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe.
17 Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.
18 N'omuntu omukulu omu n'amubuuza ng'agamba nti Omuyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?
19 Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda.
20 Amateeka ogamanyi nti Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.
21 N'agamba nti Ebyo byonna nnabikwatanga okuva mu buto bwange.
22 Yesu bwe yawulira n'amugamba nti Okyaweebuuseeko kimu; tunda by'oli nabyo byonna, obigabire abaavu, kale oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.
23 Naye bwe yawulira ebyo n'anakuwala nnyo; kubanga yali mugagga nnyo.
24 Awo Yesu bwe yamulaba n'agamba nti Nga kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
25 Kubanga kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
26 Abaawulira ne bagamba nti Kale ani ayinza okulokoka?
27 Naye n'agamba nti Ebitayinzika eri abantu biyinzika eri Katonda.
28 Peetero n'agamba nti Laba, ffe twaleka ebyaffe ne tukugoberera.
29 N'abagamba nti Mazima mbagamba nti Tewali muntu eyaleka ennyumba, oba mukazi, oba ba luganda, oba bazadde, oba baana, olw'obwakabaka bwa Katonda,
30 ataweebwa nate emirundi mingi mu biro bino, ne mu biro ebigenda okujja obulamu obutaggwaawo.
31 N'atwala abo ekkumi n'ababiri n'abagamba nti Laba, tulinnya e Yerusaalemi, n'ebyo byonna ebyawandiikibwa bannabbi birituukirira ku Mwana w'omuntu.
32 Kubanga aliweebwayo mu b'amawanga, aliduulirwa, aligirirwa ekyejo, aliwandirwa amalusu:
33 balimukuba enkoba, balimutta; era ku lunaku olw'okusatu alizuukira.
34 Nabo ne batategeerawo ku ebyo n'ekimu; n'ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa, ne batategeera ebyayogerwa.
35 Awo olwatuuka bwe yali ng'anaatera okutuuka e Yeriko, omuzibe w'amaaso yali ng'atudde ku kkubo ng'asabiriza;
36 awo bwe yawulira ekibiina nga kiyita, n'abuuza nti kiki ekyo:
37 Ne bamubuulira nti Yesu Omunazaaleesi ayita.
38 N'ayogerera waggulu ng'agamba nti Yesu, omwana wa Dawudi, onsassire.
39 N'abo abaali bakulembedde ne bamuboggolera okusirika; naye ye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Ggwe omwana wa Dawudi, onsaasire.
40 Yesu n'ayimirira, n'alagira okumuleeta w'ali; awo bwe yasembera okumpi, n'amubuuza nti
41 Oyagala nkukolere ki? N'agamba nti Mukama wange, njagala okuzibula.
42 Yesu n'amugamba nti Zibula: okukkiriza kwo kukulokodde.
43 Amangu ago n'azibula, n'amugoberera ng'agulumiza Katonda: n'abantu bonna bwe baalaba ne batendereza Katonda.