Lukka
Essuula 2
Awo olwatuuka mu nnaku ezo etteeka ne liva eri Kayisaali Augusito ab'ensi zonna okuwandiikibwa.
2 Okwo kwe kuwandiikibwa okwasooka okubaawo Kuleniyo bwe yali nga y'afuga Obusuuli.
3 Bonna ne bagenda okwewandiika, buli muntu mu kibuga kyabo.
4 Ne Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Ggaliraaya, n'alinnya e Buyudaaya, okugenda mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Besirekemu, kubanga yali wa mu nnyumba era wa mu kika kya Dawudi,
5 yeewandiike ne Malyamu, gwe yali ayogereza, ng'ali lubuto.
6 Awo olwatuuka baali bali eyo, ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka.
7 N'azaala omwana we omubereberye; n'amubikka mu ngoye ez'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaalaba bbanga mu kisulo ky'abagenyi.
8 Waaliwo abasumba mu nsi eyo abaatuulanga ku ttale, nga bakuuma ekisibo kyabwe ekiro mu mpalo.
9 Awo malayika wa Mukama n'ayimirira we baali, n'ekitiibwa kya Mukama ne kibeetooloola nga kimasamasa, ne batya nnyo.
10 Malayika n'abagamba nu Temutya; kubanga, laba, mbaleetera ebigambo ebirungi eby'essanyu eringi eririba eri abantu bonna:
11 kubaanga leero azaaliddwa gye muli Omulokozi mu kibuga kya Dawudi, ye Kristo Mukama waffe.
12 Kano ke kabonero gye muli; munaalaba omwana omuwere ng'abikkiddwa mu ngoye ez'obwana obuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.
13 Awo amangu ago waaliwo ne malayika oyo bangi ab'omu ggye ery'omu ggulu nga batendereza Katonda, nga bagamba nti
14 Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo; Ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.
15 Awo olwatuuka, bamalayika bwe baava gye baali okugenda mu ggulu, abasumba ne bagambagana nti Kale tugende e Besirekemu tulabe ekigambo kino ekibaddeyo, Mukama ky'atutegeezezza.
16 Ne bajja mangu, ne balaba Malyamu ne Yusufu n'omwana omuwere ng'azazikiddwa mu kisibo.
17 Awo bwe baalaba, ne bategeeza ekigambo kye baabuulirwa ku mwana oyo.
18 Bonna abaawulira ne beewuunya ebyo abasumba bye baababuulira.
19 Naye Malyamu ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna, ng'abirowooza mu mutima gwe.
20 Awo abasumba ne baddayo, nga bagulumiza nga batendereza Katonda olw'ebigambo byonna bye baawulira, bye baalaba, nga bwe baabuulirwa.
21 Awo ennaku Omunaana bwe zaatuuka ez'okumukomoleramu, n'atuumibwa erinnya lye Yesu, liri eryayogerwa malayika nga tannaba kuba mu lubuto.
22 Awo ennaku bwe zaatuuka ez'okulongooka kwabwe ng'amateeka ga Musa bwe gali, ne bamutwala ne bamwambusa e Yerusaalemi: okumwanjulira Mukama
23 (nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama nti Buli kisajja ekiggulanda kinaayitibwanga kitukuvu eri Mukama),
24 n'okuwaayo ssaddaaka nga bwe kyayogerwa mu mateeka ga Mukama, bukaamukuukulu bubiri, oba obuyiba obuto bubiri.
25 Era, laba, waaliwo omuntu mu Yerusaalemi erinnya lye Simyoni, omuntu oyo yali mutuukirivu, era atya Katonda, ng'alindirira okusanyusibwa kwa Isiraeri: era Omwoyo Omutukuvu yali ku ye.
26 Oyo yabikkulirwa Omwoyo Omutukuvu nti taliraba kufa nga tannalaba ku Kristo wa Mukama.
27 N'ajjira mu Mwoyo mu yeekaalu: abakadde be bwe baayingiza omwana Yesu okumukola nga bw'eri empisa y'amateeka,
28 awo ye n'amukwata mu mikono gye, ne yeebaza Katonda n'agamba nti
29 Mukama wange, kaakano osiibula omuddu wo Emirembe, ng'ekigambo kyo bwe kyali.
30 Kubanga amaaso gange galabye obulokozi bwo,
31 Bwe wateekateeka mu maaso g'abantu bonna:
32 Okuba omusana ogw'okumulisa amawanga, N'okuba ekitiibwa ky'abantu bo Isiraeri.
33 Kitaawe ne nnyina ne beewuunyanga ebigambo ebyo ebyamwogerwako;
34 awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'agamba Malyamu nnyina nti Laba, ono ateekeddwawo bangi mu Isiraeri bagwenga bayimirirenga, n'okuba akabonero akavumibwa;
35 era ggwe ekitala kirikufumita mu mmeeme; ebirowoozo eby'emitima emingi bityoke bibikkulwe.
36 Awo waaliwo Ana, nnabbi omukazi, omuwala wa Fanweri, ow'omu kika kya Aseri (yali Yaakamala emyaka mingi, yabeera ne bba emyaka musanvu okuva mu buto bwe,
37 naye yali nnamwandu nga yaakamala emyaka kinaana mu ena), ataavanga mu Yeekaalu, ng'asinza n'okusiibanga n'okwegayiriranga ekiro n'emisana.
38 Oyo bwe yajja mu kiseera ekyo ne yeebaza Katonda, n'abuulira ebigambo bye eri bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.
39 Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebiri mu mateeka ga Mukama, ne baddayo e Ggaliraaya mu kibuga ky'ewaabwe Nazaaleesi.
40 Awo omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi, n'ajjuzibwa amagezi: ekisa kya Katonda ne kibanga ku ye.
41 Awo bakadde be baagendanga e Yerusaalemi buli mwaka ku mbaga ey'Okuyitako.
42 Awo bwe yali Yaakamala emyaka kkumi n'ebiri, ne bayambuka nga bw'eri empisa y'embaga:
43 awo bwe baatuusa ennaku zaabwe, baali nga baddayo, omwana oyo Yesu n'asigala mu Yerusaalemi, ne bakadde be ne batamanya;
44 naye bwe baalowooza ng'ali mu kisinde kyabwe, ne batambula olugendo lwa lunaku lumu, ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe:
45 bwe bataamulaba ne baddayo e Yerusaalemi, nga bamunoonya.
46 Awo olwatuuka bwe waayitawo ennaku ssatu ne bamusanga mu yeekaalu, ng'atudde wakati mu bayigiriza, ng'abawuliriza, ng'ababuuza
47 bonna abaamuwulira ne bawunikirira olw'amagezi ge n'okuddamu kwe.
48 Awo bwe baamulaba ne basamaalirira: nnyina n'amugamba nti Mwana wange, kiki ekitukukozezza ggwe bw'otyo? laba, kitaawo nange twakunoonya nga tunakuwadde.
49 N'abagamba nti Mwannoonyeza ki? Temwamanya nga kiŋŋwanidde okubeera mu bigambo bya Kitange?
50 Ne batategeera kigambo ekyo kye yabagamba.
51 N'aserengeta nabo n'ajja e Nazaaleesi, n'abagonderanga: nnyina ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna mu mutima gwe.
52 Awo Yesu ne yeeyongerangako amagezi n'okukula, ne mu kisa eri Katonda n'eri abantu.