Lukka
Essuula 21
Awo n'ayimusa amaaso, n'alaba abagagga abaali basuula ebirabo byabwe mu ggwanika.
2 N'alaba nnamwandu omu omwavu ng'asuula omwo ebitundu by'eppeesa bibiri.
3 N'agamba nti Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna:
4 kubanga abo bonna basuddemu ku bibafikkiridde mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.
5 Era abamu bwe baali boogera ku yeekaalu, bwe yayonjebwa n'amayinja amalungi n'ebiweebwayo, n'agamba nti
6 Bino bye mulaba, ennaku zigenda kujja, lwe watalirekebwa jjinja eriri ku jjinja wano eritalisuulibwa.
7 Ne bamubuuza nga bagamba nti Omuyigiriza, kale ebyo biribaawo ddi? Kabonero ki akalibaawo ebyo bwe biriba nga bigenda okubaawo?
8 N'agamba nti Mutunule muleme okukyamizibwa; kubanga bangi abalijja n'erinnya lyange, nga boogera nti Nze nzuuno; era nti Obudde bunaatera okutuuka: temubagobereranga.
9 Era bwe muwuliranga entalo n'ebikankano, temwekanga: kubanga ebyo kibigwanira okusooka okujja; naye enkomerero terituuka mangu ago.
10 N'alyoka abagamba nti Eggwanga lirirumba eggwanga, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka;
11 walibaawo n'ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene obuva mu ggulu.
12 Naye ebyo byonna nga tebinnabaawo, balibassaako emikono, balibayigganya, nga babawaayo mu makuŋŋaaniro ne mu makomera nga babatwala eri bakabaka n'abaamasaza olw'erinnya lyange.
13 Kiriba mujulirwa gye muli.
14 Kale mukiteeke mu mitima gyammwe, obutasookanga kulowooza bye muliddamu:
15 kubanga nze ndibawa akamwa n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakana nabyo newakubadde okubigaana.
16 Naye muliweebwayo abazadde bammwe, n'ab'oluganda, n'ab'ekika, n'ab'omukwano; n'abamu ku mmwe balibassa.
17 Nammwe mulikyayibwa bonna olw'erinnya lyange.
18 N'oluviiri olw'oku mitwe gyammwe terulibula n'akatono.
19 Mu kugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu bwammwe.
20 Naye bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka.
21 Mu biro ebyo ababanga mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n'ababanga wakati mu kyo bakifulumangamu; n'ababanga mu byalo tebakiyingirangamu.
22 Kubanga ezo ze nnaku ez'okuwalana eggwanga, ebyawandiikibwa byonna biryoke bituukirire.
23 Ziribasanga abaliba n'embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! kubanga waliba okulaba ennaku ennyingi ku nsi n'obusungu eri abantu abo.
24 Balittibwa n'obwogi bw'ekitala, balinyagibwa okutwalibwa mu mawanga gonna; ne Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab'amawanga okutuusa ebiro by'ab'amawanga lwe birituukirira.
25 Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'ennyanja n'amayengo;
26 abantu nga bazirika olw'entiisa n'olw'okutunuulira ebyo ebijja ku nsi: kubanga amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa.
27 Ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu kire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene.
28 Naye ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.
29 N'abagamba olugero; nti Mulabe omutiini n'emiti gyonna;
30 kale bwe gitojjera, mulaba ne mutegeera mwekka, nti kaakano okukungula kuli kumpi.
31 Era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo mumanyanga, nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi:
32 Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono okutuusa ebyo byonna lwe biribaawo.
33 Eggulu n'ensi biriggwaawo; naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.
34 Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng'ekyambika;
35 kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna.
36 Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu.
37 Awo buli lunaku yayigirizanga mu yeekaalu; bwe bwazibanga n'afuluma n'asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni.
38 Abantu bonna ne bakeeranga enkya okugenda gy'ali mu yeekaalu okumuwulira.