Lukka

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 5

Awo olwatuuka ebibiina bwe byamunyigiriza ne bawulira ekigambo kya Katonda, ye yali ng'ayimiridde ku nnyanja y'e Genesaleeti;
2 n'alaba amaato abiri nga gali ku nnyanja: naye abavubi baali bagavuddemu nga bayoza emigonjo gyabwe.
3 N'asaabalako eryato erimu, eryali erya Simooni; n'amugamba okulisembezaayo katono okuva ku ttale. N'atuula n'ayigiririza ebibiina mu lyato.
4 Bwe yali ng'amaze okwogera, n'agamba Simooni nti Sembera ebuziba, musuule emigonjo gyammwe, muvube.
5 Simooni n'addamu n'agamba nti Omwami, twategaaye okukeesa obudde ne tutakwasa kintu: naye olw'ekigambo kyo nnaasuula emigonjo.
6 Awo bwe baakola bwe batyo, ne bakwasa ebyennyanja bingi nnyo nnyini; emigonjo gyabwe ne gyagala okukutuka;
7 ne bawenya bannaabwe mu lyato eddala, bajje babayambe. Ne bajja ne bajjuza amaato gombi, n'okukka ne gaagala okukka.
8 Naye Simooni Peetero, bwe yalaba, n'avuunama ku bigere bya Yesu, n'agamba nti Ndeka; kubanga ndi muntu alina ebibi, Mukama wange.
9 Kubanga yawuniikirira ne bonna abaali naye olw'ebyennyanja ebingi bye baakwasa;
10 ne Yakobo ne Yokaana nabo bwe batyo, abaana ba Zebbedaayo, abaali bassizza ekimu ne Simooni. Yesu n'agamba Simooni nti Totya: okusooka kaakano onoovubanga abantu.
11 Awo bwe baagobya amaato gaabwe ettale, ne baleka byonna, ne bagenda naye.
12 Awo olwatuuka bwe yali mu kibuga kimu mu ebyo, laba, waaliwo omuntu eyali ajjudde ebigenge; oyo bwe yalaba Yesu, n'avuunama amaaso ge n'amwegayirira, ng'agamba nti Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.
13 N'agolola omukono gwe n'amukomako ng'agamba nti Njagala, longooka. Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonako.
14 Ye n'amukuutira obutabuulirako muntu; naye genda, weerage eri kabona, oweeyo eby'okulongooka kwo, nga Musa bwe yalagira, okuba omujulirwa gye bali.
15 Naye ebigambo bye ne byeyongera bweyongezi okubuna, ebibiina bingi ne bikuŋŋaana okuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe.
16 Naye ye ne yeeyawula n'agenda mu malungu n'asaba.
17 Awo olwatuuka ku lunaku lumu mu ezo, yali ng'ayigiriza; n'Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka baali batudde awo, abaali bavudde mu buli kibuga eky'e Ggaliraaya, n'e Buyudaaya n'e Yerusaalemi: n'amaanyi ga Mukama gaali naye okuwonya.
18 Laba, abantu ne baleetera omuntu ku kitanda eyali akoozimbye: ne basala amagezi okumuyingiza, n'okumuteeka mu maaso ge.
19 Bwe bataalaba wa kumuyingiriza olw'ekibiina, ne balinnya waggulu ku nju, ne bamuyisa mu matoffaali ne bamussiza ku kitanda kye wakati mu maaso ga Yesu.
20 Awo bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba nti Omuntu, ebibi byo bikuggiddwako.
21 Abawandiisi n'Abafalisaayo ne batanula okuwakana, nga bagamba nti Ani ono ayogera eby'okuvvoola? Ani ayinza okuggyako ebibi, wabula Katonda yekka?
22 Naye Yesu bwe yategeera okuwakana kwabwe n'addamu n'abagamba nti Muwakana ki mu mitima gyammwe?
23 Ekyangu kiruwa, okugamba nti Ebibi byo bikuggiddwako; oba okugamba nti Golokoka, otambule?
24 Naye mutegeere nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi (n'agamba oyo eyali akoozimbye), Nkugamba nti Yimuka, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.
25 Amangu ago n'ayimuka mu maaso gaabwe, n'asitula ekyo kye yali agalamiddeko, n'agenda ewuwe, ng'agulumiza Katonda.
26 Okuwuniikirira ne kubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; ne batya nnyo, nga bagamba nti Tulabye eby'ekitalo leero.
27 Awo oluvannyuma lw'ebyo n'avaayo n'alaba omuwooza erinnya lye Leevi, ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti Yita nange.
28 N'aleka byonna, n'agolokoka, n'ayita naye.
29 Leevi n'amufumbira embaga nnene mu nnyumba ye: era waaliwo ekibiina kinene eky'abawooza n'eky'abalala abaali batudde nabo ku mmere.
30 Abafalisaayo n'abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be, nga bagamba nti Kiki ekibaliisa n'okunywera awamu n'abawooza n'abantu abalina ebibi?
31 Yesu n'addamu n'abagamba nti Abalamu tebeetaaga musawo; wabula abalwadde.
32 Nze sajja kuyita batuukirivu wabula abantu abalina ebibi okwenenya.
33 Nabo ne bamugamba nti Abayigirizwa ba Yokaana basiiba emirundi mingi, era basaba; era n'ab'Abafalisaayo bwe batyo; naye ababo balya, banywa.
34 Yesu n'abagamba nti Kale muyinza okusiibya abaana b'obugole, awasizza omugole bw'aba ng'ali nabo?
35 Naye ennaku zirijja; awo awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba mu nnaku ezo.
36 Era n'abagerera olugero nti Tewali muntu ayuza ku lugoye oluggya ekiwero n'akitunga mu lugoye olukadde; kuba bw'akola atyo, ekiggya kiyuza olukadde era n'ekiwero ky'ayuza ku luggya tekifaanana na lukadde.
37 So tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde; kubanga omwenge omusu gwabya ensawo ez'amaliba, ne guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana.
38 Naye kigwana omwenge omusu okugufuka mu nsawo ez'amaliba empya.
39 So tewali muntu anywedde ku mwenge omukulu ayagala omuto; kubanga agamba nti Omukulu gwe mulungi.