Lukka

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 1

Bwe baali abangi abaatandika okuwandiika amakulu g'ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe,
2 nga bwe baabitubuulira, abo abaasooka okuva ku lubereberye okuba abajulirwa era abaweereza b'ekigambo,
3 awo bwe nnaliraanyiza ddala byonna okuva ku lubereberye, era nange nnalaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe, Teefiro omulungi ennyo, nga bwe byaliraana;
4 olyoke omanye amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa.
5 Awo mu mirembe gya Kerode, kabaka We Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zaakaliya, wa mu lulyo lwa Abiya: era yalina omukazi ow'omu bawala ba Alooni, erinnya lye Erisabesi.
6 N'abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonna ne mu by'obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi.
7 So tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba, nabo bombi baali bakaddiye mu myaka gyabwe.
8 Awo olwatuuka, bwe yali ng'akola omulimu ogw'obwa kabona mu maaso ga Katonda ng'oluwalo lwe bwe lwaliraana,
9 awo akalulu ne kamugwako ng'empisa ez'obwa kabona bwe zaali okuyingira mu yeekaalu ya Mukama okwoteza obubaane.
10 Awo ekibiina kyonna eky'abantu kyali nga kisabira bweru mu kiseera eky'okwoterezaamu.
11 Awo malayika wa Mukama n'amulabikira ng'ayimiridde ku luuyi olwa ddyo olw'ekyoto eky'okwoterezaako.
12 Awo Zaakaliya bwe yamulaba ne yeeraliikirira, n'atya.
13 Naye malayika n'amugamba nti Totya, Zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, mukazi wo Erisabesi alikuzaalira omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yokaana.
14 Olisanyuka, era olijaguza, era bangi abalisanyukira okuzaalibwa kwe.
15 Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama, so talinywa mwenge newakubadde ekitamiiza; era alijjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, okuva mu lubuto lwa nnyina.
16 Era bangi mu baana ba Isiraeri alibakomyawo eri Mukama Katonda waabwe.
17 Alikulembera mu maaso ge: mu mwoyo n'amaanyi ga Eriya okukomyawo emitima gya bajjajja eri abaana, n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu abateekebwateekebwa.
18 Awo Zaakaliya n'agamba malayika nti Nnaakimanya ntya ekyo? kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange akaddiye mu myaka gye.
19 Awo malayika n'addamu n'amugamba nti Nze Gabulyeri, ayimirira mu maaso ga Katonda; era nnatumibwa okwogera naawe n'okukubuulira ebigambo ebyo ebirungi.
20 Kale, laba, olisirika era nga toyinza kwogera, okutuusa ku lunaku lwe biribaawo ebyo, kubanga tokkirizza bigambo byange, ebirituukirizibwa mu ntuuko zaabyo.
21 Awo abantu baali balindirira Zaakaliya, ne beewuunya bw'aludde mu yeekaalu.
22 Awo bwe yafuluma n'atayinza kwogera nabo: ne bategeera nti alabye okwolesebwa mu yeekaalu: n'alwawo ng'abawenya n'omukono ng'akyasiruwadde.
23 Awo olwatuuka, ennaku ez'okuweereza kwe bwe zaggwaayo, n'addayo eka ewuwe.
24 Awo ennaku ezo bwe zaayitawo mukazi we Erisabesi n'aba olubuto: ne yeekwekera emyezi etaano, ng'agamba nti
25 Bw'atyo Mukama bw'ankoze mu nnaku ze yantunuuliriramu okunzigyako ensonyi mu bantu.
26 Awo mu mwezi ogw'omukaaga malayika Gabulyeri n'atumibwa Katonda mu kibuga eky'e Ggaliraaya erinnya lyakyo Nazaaleesi,
27 eri omuwala atamanyi musajja eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu ow'omu nnyumba ya Dawudi; n'erinnya ly'omuwala Malyamu.
28 Awo n'ayingira omumwe, n'agamba nti Mirembe ggwe aweereddwa ennyo ekisa, Mukama ali naawe.
29 Naye ye ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n'alowooza okulamusa okwo bwe kuli.
30 Awo malayika n'amugamba nti Totya, Malyamu; kubanga olabye ekisa eri Katonda.
31 Era, laba, oliba olubuto, olizaala omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu.
32 Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w'Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe:
33 era anaafuganga ennyumba ya Yakobo emirembe n'emirembe, so obwakabaka bwe tebuliggwaawo.
34 Awo Malyamu n'agamba malayika nti Kiriba kitya ekyo, kubanga simanyi musajja?
35 Ne malayika n'addamu n'amugamba nti Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n'amaanyi g'Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kiyitibwa ekitukuvu, omwana wa Katonda.
36 Laba, Erisabesi muganda wo, era ye ali lubuto lwa mwana wa bulenzi mu bukadde bwe; guno gwe mwezi gwe ogw'omukaaga eyayitibwanga omugumba.
37 Kubanga tewali kigambo ekiva eri Katonda kiribulwa maanyi.
38 Malyamu n'agamba nti Laba, nze ndi muzaana wa Mukama; kibe ku nze nga bw'ogambye. Awo malayika n'ava gy'ali.
39 Awo mu nnaku ezo Malyamu n'ayimuka n'agenda mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga kya Yuda;
40 n'ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n'alamusa Erisabesi.
41 Awo olwatuuka Erisabesi bwe yawulira okulamusa kwa Malyamu, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwe; Erisabesi n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu;
42 n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'agamba nti Oweereddwa omukisa ggwe mu bakazi, n'ekibala eky'omu lubuto lwo kiweereddwa omukisa.
43 Nange nno, ekigambo kino kivudde wa, nnyina Mukama wange okujja gye ndi?
44 Kubanga laba, eddoboozi ly'okulamusa kwo bwe liyingidde mu matu gange, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwange, olw'essanyu.
45 Aweereddwa omukisa eyakkiriza; kubanga birituukirizibwa ebyo bye wagambibwa Mukama.
46 Malyamu n'agamba nti Emmeeme yange etendereza Mukama,
47 N'omwoyo gwange gusanyukidde Katonda Omulokozi wange.
48 Kubanga alabye obunaku bw’omuzaana we: Kubanga, laba, okusooka leero ab’emirembe gyonna banampitanga aweeredawa omukisa.
49 Kubanga Omuyinza ankoledde ebikulu; N'erinnya ly'ettukuvu.
50 N'ekisa kye kiri mu bamutya; Emirembe n'emirembe.
51 Alaze amaanyi n'omukono gwe; Asaasaanyizza abalina amalala mu kuteerera kw'omu mitima gyabwe.
52 Agobye abafuzi abeekulumbaza ku ntebe zaabwe, Agulumizizza abeetoowaze.
53 Abalina enjala abakkusizza ebirungi; N'abagagga abagobye nga tebalina kintu.
54 Abedde Isiraeri omuddu we Ajjukire ekisa kye.
55 (Nga bwe yagamba bajjajjaffe) Eri Ibulayimu n'ezzadde lye, emirembe gyonna.
56 Awo Malyamu n'amalayo emyezi ng'esatu, n'akomawo ewuwe.
57 Awo ebiro bya Erisabesi ne bituuka okuzaala: n'azaala omwana wa bulenzi.
58 Baliraanwa be n'ab'ekika kye ne bawulira nga Mukama amugulumiririzza ekisa kye, ne basanyukira wamu naye.
59 Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana; baali baagala okumutuuma erinnya lya kitaawe Zaakaliya.
60 Nnyina n'addamu nagamba nti Nedda, naye anaatuumibwa Yokaana.
61 Ne bamugamba nti Tewali wa mu kika kyo ayitibwa linnya eryo.
62 Ne bawenya kitaawe, bw'ayagala okumutuuma.
63 N'ayagala ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika, n'agamba nti Erinnya lye Yokaana. Ne beewuunya bonna.
64 Amangu ago akamwa ke ne kazibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera nga yeebaza Katonda.
65 Bonna abaali baliraanyeewo ne batya. N'ebigambo ebyo byonna ne bibuna mu nsi yonna ey'ensozi ey'e Buyudaaya.
66 Ne bonna abaabiwulira ne babissa mu mitima gyabwe, ne bagamba nti Kale omwana oyo aliba ki? kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
67 Kitaawe Zaakaliya n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, n'alagula, ng'agamba nti
68 Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri; Kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde,
69 Era atuyimusirizza ejjembe ery'obulokozi Mu nnyumba y'omuddu we Dawudi.
70 (Nga bwe yayogerera mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu, abaaliwo kasookedde ensi ebaawo),
71 Okulokolebwa mu balabe baffe; ne mu mikono gy'abo bonna abatukyawa;
72 Okutuukiriza ekisa kye yasuubiza bajjajjaffe, N'okujjukira endagaano ye entukuvu.
73 Okutuukiriza ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 Okukituwa ffe; ffe bwe tulokolebwa mu mikono gy'abalabe baffe, Tulyoke tumuweereze nga tetuliko kye tutya,
75 Mu butukuvu ne mu butuukirivu mu maaso ge ennaku zaffe zonna.
76 Naawe, omwana, oliyitibwa nnabbi w'Oyo Ali waggulu ennyo: Kubanga olikulembera Mukama okulongoosa amakubo ge;
77 Okumanyisa abantu be obulokozi, Ebibi byabwe bibaggibweko,
78 Olw'ekisa kya Katonda waffe ekirungi, Emmambya kyevudde etusalira eva mu ggulu,
79 Okwakira abatuula mu nzikiza, ne mu kisiikirize ky'olumbe, Okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe.
80 Omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi mu mwoyo; n'abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isiraeri.