Lukka

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 17

N'agamba abayigirizwa be nti Tekiyinzika ebisittaza obutajja; naye zimusanze oyo abireeta!
2 Waakiri oyo okusibwa olubengo mu bulago bwe, okusuulibwa mu nnyanja, okusinga okusittaza omu ku abo abato.
3 Mwekuumenga: muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga.
4 Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga.
5 Abatume ne bagamba Mukama waffe nti Otwongereko okukkiriza.
6 Mukama waffe n'agamba nti Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde.
7 Naye ani ku mmwe, alina omuddu ng'alima oba ng'alunda endiga, bw'ayingira ng'ava mu lusuku, alimugamba nti Jjangu mangu ago otuule olye;
8 naye atamugamba nti Jjula emmere ndye, weesibe, ompeereze, mmale okulya n'okunywa; naawe olyoke olye era onywe?
9 Amwebaza omuddu oyo olw'okukola by'alagiddwa?
10 Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.
11 Awo olwatuuka bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi yali ng'ayita wakati wa Samaliya ne Ggaliraaya.
12 Awo bwe yayingira mu mbuga emu ne bamusisinkana abantu kkumi abagenge, abaayimirira ewala;
13 ne boogerera waggulu ne bagamba nti Yesu, Mukama waffe, otusaasire.
14 Bwe yabalaba n'abagamba nti Mugende mwerage eri bakabona. Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa.
15 Awo omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo n'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene;
16 n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebaza: era oyo yali Musamaliya.
17 Yesu n'addamu nagamba nti Ekkumi bonna tebalongoosebbwa? naye bali omwenda bali ludda wa?
18 Tebalabise abakomawo okutendereza Katonda, wabula omugenyi ono?
19 N'amugamba nti Yimuka, ogende: okukkiriza kwo kukuwonyezza.
20 Bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bujja ddi? n'abaddamu n'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese:
21 so tebaligamba nti Laba, buli wano! Oba nti Buli wali! Kubanga, laba, obwakabaka bwa Katonda buli munda yammwe!
22 N'agamba abayigirizwa be nti Ennaku zigenda okujja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'omuntu, so temulirulaba.
23 Kale balibagamba nti Laba, wali! Laba, wano! temugendanga, so temugobereranga;
24 kubanga okumyansa bwe kumyansiza ku luuyi olumu olw'eggulu, nga bwe kumasamasiza ne ku luuyi olulala olw'eggulu, bw'atyo Omwana w'omuntu bw'aliba ku lunaku lwe.
25 Naye okusooka kimugwanira okubonyaabonyezebwa ebingi n'okugaanibwa ab'emirembe gino.
26 Era nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa, bwe bityo bwe biriba ne mu nnaku z’Omwana, w'omuntu.
27 Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna.
28 Era nga bwe byali mu nnaku za Lutti; baali nga balya, nga banywa, nga bagula nga batunda, nga basiga, nga bazimba;
29 naye ku lunaku luli Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n'ekibiriiti ne bitonnya okuva mu ggulu ne bibazikiriza bonna:
30 bwe bityo bwe biriba ku lunaku Omwana w'omuntu lw'alibikkulibwa.
31 Ku lunaku olwo, alibeera waggulu ku nnyumba, n'ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu; n'ali mu lusuku bw'atyo taddanga nnyuma.
32 Mujjukire mukazi wa Lutti.
33 Buli anoonya okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli abubuza alibuwonya.
34 Mbagamba nti Mu kiro ekyo babiri baliba ku kitanda kimu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
35 Abakazi babiri baliba nga baseera wamu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
36 Ababiri baliba mu lusuku; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
37 Ne baddamu ne bamugamba nti Wa, Mukama waffe? N'abagamba nti Awaba omulambo eyo n'ensega we zirikuŋŋaanira.